Home |  | Audio |  | Index |  | Verses


Yokaana John

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21
1 Oluvannyuma lw'ebyo ne waba embaga y'Abayudaaya; Yesu n'ayambuka ku Yerusaalemi.
2 Naye mu Yerusaalemi awali omulyango gw'endiga waaliwo ekidiba, kye baayita mu Lwebbulaniya Besesuda, nga kiriko ebigango bitaano.
3 Mu ebyo mwagalamirangamu ekibiina ky'abalwadde, abazibe b'amaaso, abalema, abakoozimbye, nga balindirira amazzi okubimba:
4 kubanga malayika yakkanga mu kidiba mu biseera ebimu n'abimbisa amazzi: oyo eyasookanga okugendamu, ng'amazzi gamaze okubimba, yawonanga obulwadde bwe bwe yabanga nabwo.
5 Ne wabaawo omuntu eyali n'endwadde nga yaakamala emyaka amakumi asatu mu munaana.
6 Yesu bwe yalaba oyo ng'agalamidde, n'ategeera nga yaakamala ennaku nnyingi, n'amugamba nti Oyagala okuba omulamu?
7 Omulwadde n'amuddamu nti Ssebo, sirina muutu ansuula mu kidiba amazzi we geeserera: nze we njijira, omulala ng'ansoose okukkamu.
8 Yesu n'amugamba nti Golokoka, weetikke ekitanda kyo, otambule.
9 Amangu ago omuntu n'aba mulamu ne yeetikka ekitanda kye, n'atambula. Naye olunaku olwo lwali lwa ssabbiiti.
10 Awo Abayudaaya ne bamugamba oyo awonyezebbwa nti Leero ssabbiiti, muzizo ggwe okwetikka ekitanda kyo.
11 Naye n'abaddamu nti Oli amponyezza ye yaŋŋambye nti Weetikke ekitanda kyo otambule.
12 Ne bamubuuza nti Omuntu oyo ye ani eyakugambye nti Weetikke otambule?
13 Naye eyawonye nga tamanyi bw'ali: kubanga Yesu yali amaze okugenda, abantu abaali mu kifo kiri nga bangi.
14 Oluvannyuma lw'ebyo Yesu n'amulaba mu yeekaalu, n'amugamba nti Laba, oli mulamu: toyonoonanga nate, ekigambo ekisinga obubi kireme okukubaako.
15 Omuntu oyo n'agenda n'abuulira Abayudaaya nti Yesu ye yamponya.
16 Awo Abayudaaya kyebaava bayigganya Yesu kubanga yakolera ebyo ku ssabbiiti.
17 Naye Yesu n'abaddamu nti Kitange akola okutuusa kaakano, nange nkola.
18 Awo Abayudaaya kyebaava beeyongera okusala amagezi okumutta kubanga tasobezza ssabbiiti yokka, era naye yayita Katonda kitaawe ye, nga yeefuula eyenkanankana ne Katonda.
19 Awo Yesu n'addamu n'abagamba nti Ddala ddala mbagamba nti Omwana tayinza yekka kukola kintu, bw'atalabira ku Kitaawe ng'akola: kubanga ye by'akola byonna, n'Omwana by'akola bw'atyo.
20 Kubanga Kitange ayagala Omwana, amulaga byonna by'akola yennyini; era alimulaga emirimu eminene egisinga egyo mmwe mwe wuunye.
21 Kubanga Kitange bw'azuukiza abafu n'abawa obulamu, bw'atyo n'Omwana abawa obulamu bonna b'ayagala okuwa.
22 Kubanga Kitange n'okusala tasalira muntu musango, naye yawa Omwana okusala omusango gwonna;
23 bonna bassengamu Omwana ekitiibwa, nga bwe bassaamu Kitange ekitiibwa. Atassaamu Mwana kitiibwa, nga tassaamu kitiibwa Kitaawe eyamutuma.
24 Ddala ddala mbaganiba nti Awulira ekigambo kyange, n'akkiriza oyo eyantuma, alina obulamu obutaggwaawo, so talijja mu musango, naye ng'avudde mu kufa okutuuka mu bulamu.
25 Ddala ddala mbagamba nti Ekiseera kijja era weekiri kaakano abafu 1we baliwulira eddoboozi ly'Omwana wa Katoada, n'abo abaliwulira baliba balamu.
26 Kubanga Kitange bw'alina obulamu mu ye, bw'atyo bwe yawa Omwana okuba n'obulamu mu ye;
27 era yamuwa obuyinza okusala omusango, kubanga ye Mwana w'omuntu.
28 Temwewuunya ekyo: kubanga ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye,
29 ne bavaamu; abo abaakolanga ebirungi balizuukirira obulamu; n'abo abaakolanga ebitasaana balizuukirira omusango.
30 Nze siyinza kukola kintu ku bwange: nga bwe mpulira, bwe nsala: n'omusango gwe nsala gwa nsonga; kubanga sinoonya bye njagala nze, wabula eyantuma by'ayagala.
31 Bwe nneetegeeza ebyange nze, okutegeeza kwange si kwa mazima.
32 Waliwo omulala ategeeza ebyange; nange mmanyi nti ebyange by'ategeeza bya mazima.
33 Mmwe mwatumira Yokaana naye n'ategeeza amazima.
34 Naye okutegeeza kw'omuntu sikukkiriza nze: naye njogera ebyo mmwe mulokoke.
35 Oyo yali ttabaaza eyaka, emasamasa, nammwe mwayagala ekiseera kitono okusanyukira okutangaala kwe.
36 Naye okutegeeza kwe nnina kwe kukulu okusinga okwa Yokaana: kubanga emirimu Kitange gye yampa okutuukiriza, emirimu gyennyini gye nkola, gye gitegeeza ebyange nga Kitange ye yantuma.
37 Era Kitange eyantuma oyo ye yategeeza ebyange. Temwawulira ddoboozi lye n'akatono, newakubadde okulaba ekifaananyi kye.
38 So temulina kigambo kye nga kibeera mu mmwe: kubanga oyo gwe yatuma temumukkiriza.
39 Munoonya mu byawandiikibwa, kubanga mmwe mulowooza nti mu byo mulina obulamu obutaggwaawo; n'ebyo bye bitegeeza ebyange;
40 era temwagala kujja gye ndi okubeera n'obulamu.
41 Siweebwa bantu kitiibwa.
42 Naye mbategedde mmwe ng'okwagala kwa Katonda tekubaliimu.
43 Nze najja mu linnya lya Kitange, naye temunsembezza; omulala bw'alijja mu linnya lye ku bubwe muli musembeza.
44 Mmwe muyinza mutya okukkiriza bwe mwagala okuweebwa '-ekitiibwa mwekka na mwekka ne mutanoonya kitiibwa ekiva eri Katonda ali omu yekka?
45 Temulowooza nti nze ndibaloopa eri Kitange: gyali abaloopa, ye Musa gwe musuubira.
46 Kuba sings mukkiriza Musa, nange mwandinzikirizza; kubanga yampandiikako nze.
47 Naye bwe mutakkiriza oyo bye yawandiika, mulikkiriza mutya ebigambo byange?

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]