1 Awo olwatuuka mu Ikonio ne bayingirira wamumukkuŋŋaaniro ly'Abayudaaya, ne boogera bwe batyo ekibiina kinene n'okukkiriza ne bakkiriza, Abayudaaya n'Abayonaani.
2 Naye Abayudaaya abataagonda ne baweerera ab'amawanga ne bafuula emmeeme zaabwe okuba embi eri ab'oluganda.
3 Awo ne bamala ebiro bingi nga babuulira n'obuvumu mu Mukama waffe, eyategeeza ekigambo eky'ekisa kye, ng'abawa obubonero n'eby'amagero okukolebwanga mu mikono gyabwe.
4 Naye ekibiina eky'omu kibuga ne kyawukanamu; abamu ne babeera ku ludda lw'Abayudaaya abamu ku ludda lw'abatume.
5 Ab'amawanga n'Abayudaaya awamu n'abakulu baabwe bwe baabalumba okubagirira ekyejo, okubakuba amayinja,
6 bwe baategeera ne baddukira mu bibuga eby'e Lukaoniya, Lusitula ne Derube n'ensi eriraanyeewo:
7 ne babeera eyo nga babuulira enjiri.
8 Mu Lusitula yaliyo omlmtu nga talina maanyi mu bigere n'abeeranga awo, mulema okuva mu lubuto lwa nnyina nga tatambulangako n'akatono.
9 Oyo n'awulira Pawulo ng'ayogera: naye n'amwekaliriza amaaso n'alaba ng'alina okukkiriza okulokoka,
10 n'ayogera n'eddoboozi ddene nti Yimirira ku bigere byo, weegolole. N'abuuka n'atambula.
11 Ebibiina bwe baalaba Pawulo ky'akoze, ne bayimusa amaloboozi gaabwe, nga boogera mu lulimi Olulukaoniya nti Bakatonda basse gye tuli nga bafaanana abantu.
12 Balunabba ne bamuyita Zewu; ne Pawulo ne bamuyita Kerume, kubaaga ye yasinga okwogera.
13 Kabona wa Zewu, eyali mu maaso g'ekibuga, n'aleeta ente n'engule ez'ebimuli okutuuka ku luggi ng'ayagala okuwaayo ssaddaaka n'ebibiina.
14 Naye abatume Balunabba ne Pawulo bwe baawulira, ne bayuza engoye zaabwe ne bafubutuka ne bagenda mu kibiina, nga boogerera waggulu
15 nga bagamba nti Abasajja, kiki ekibakoza ebyo? Naffe tuli bantu abakwatibwa byonna nga mmwe, era tubabuulira ebigambo ebirungi muleke ebyo ebitaliimu mukyukire Katonda omulamu, eyakola eggulu n'ensi n'ennyanja n'ebintu byonna ebirimu:
16 mu mirembe egyayita yaleka amawanga gonna okutambuliranga mu makubo gaago:
17 naye teyeemalaayo nga talina mujulirwa, kubanga yakolanga bulungi, ng'abatonnyesezanga enkuba okuva mu ggulu n’abiro eby'okubalirangamu emmere, ng'ajjuzanga emitima gyammwe emmere n'essanyu.
18 Bwe baayogera ebyo, ne baziyiza ebibiina lwa mpaka okubawa ssaddaaka.
19 Naye Abayudaaya ne bava mu Antiyokiya ne Ikonio, ne baweerera ebibiina ne bakuba amayinja Pawulo, ne bamuwalulira ebweru w'ekibuga, nga balowooza nti afudde.
20 Naye abayigirizwa bwe baamwetoolola n'ayimirira n'ayingira mu kibuga: ku lutlaku olw'okubiri n'agenda ne Balunabba okutuuka e Derube.
21 Bwe baamala okubuulira enjiri mu kibuga ekyo n'okufuula abayigirizwa abangi, ne bakomawo mu Lusitula ne Ikonio ne Antiyokiya,
22 nga banyweza emmeeme z'abayigirizwa, nga bababuulirira okunyiikiriranga mu kukkiriza, era nti olw'okulaba ennaku ennyingi kitugwanidde okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.
23 Bwe baamala okulondera abakadde mu buli kkanisa n'okusaba n'okusiiba, ne babasigira Mukama waffe gwe bakkiriza.
24 Ne bayita mu Pisidiya ne batuuka e Panfuliya.
25 Bwe baamala okubuulira ekigambo mu Peruga ne baserengeta mu Ataliya;
26 ne bavaayo ne bawanika amatanga okuruuka e Antiyokiya; abaayo be baabasigira ekisa kya Katonda olw'omulimu gwe baatuukiriza.
27 Bwe baatuuka ne bakuŋŋaanya ekkanisa, ne bababuulira byonna Katonda bye yakoleranga awamu nabo, era nti yaggulirawo ab'amawanga oluggi olw'okukkiriza.
28 Ne bamalayo ebiro bingi wamu n'abayigirizwa.