1 Ennaku bwe zaayitawo ettaano, kabona asinga obukulu Ananiya n'aserengeta n'abakadde abamu n'omuntu omwogezi Terutuulo: abo ne babuulira owessaza ebigambo Pawulo bye yaloopebwa.
2 Bwe yayitibwa, Terutuulo n'atanula okumuloopa ng'agamba nti Kubanga twali tufunye emirembo mingi eri ggwe, n'ebigambo ebibi nga birongoosebbwa mu ggwanga lino olw'okulabirira kwo,
3 tubikkiriza ennaku zonna ne mu bifo byonna, Ferikisi omulungi ennyo, n'okwebaza kwonna.
4 Naye nneme okwongera okukukooya, nkwegayiridde otuwulire mu bigambo bitono olw'obulungi bwo.
5 Kubanga twalaba omuntu ono nga mubi nnyo, ajeemesa Abayudaaya bonna abali mu nsi zonna, era ye mukulu w'ekitundu ky'Abanazaaleesi:
6 yagezaako okwonoona yeekaalu: ne tumukwata, ne twagala okumusalira omusango ng'amateeka gaffe bwe gali:
7 naye omwami omukulu Lusiya n'ajja n'atumuggyako mu mikono gyaffe n'amaanyi mangi,
8 bwe yalagira abamuvunaana okujja gy'oli: bw'onoomwebuuliza wekka onooyinza okutegeera bino byonna bye tumuvunaana.
9 Era n'Abayudaaya ne bamuloopa bumu nga bagamba nti bwe bityo bwe biri.
10 Awo owessaza bwe yamuwenya okwogera, Pawulo n'addamu nti Kubanga mmanyi ng'oli mulamuzi wa ggwanga lino okuva mu myaka mingi, nkuwoleza ebigambo byange n'omwoyo omugumu;
11 kubanga oyinza okutegeera ng'ennaku tezinnayita kkumi na bbiri! kasookedde nninnya e Yerusaalerni okusinza:
12 so tebansanganga mu yeekaalu nga mpakana n'omuntu oba nga njeemesa ekibiina newakubadde mu kkuŋŋaaniro newakubadde mu kibuga.
13 So tebayinza kukakasa; w'oli ebigambo bye banvunaana; kaakano.
14 Naye kino nkyatula w'oli nti Ekkubo nga bwe liri lye bayita enzikiriza, bwe ntyo bwe mpeereza Katonda wa bajjajjaffe, nga nzikiriza byonna ebyawandiikibwa mu mateeka ne mu bya bannabbi;
15 nga nnina essuubi Katonda, era nabo bennyini lye basuubira, nti walibaawo okuzuukira kw'abatuukirivu era n'abatali batuukirivu.
16 Era nnyiikira mu kigambo ekyo okubeeranga n'omwoyo ogutalina musango eri Katonda n'eri abantu ennaku zonna.
17 Awo emyaka mingi bwe gyayitawo ne njija okuleeta eby'abaavu eri eggwanga lyaffe n'ebiweebwayo:
18 bwe nnali mu ebyo Abayudaaya abamu abaava mu Asiya ne bansanga mu yeekaalu nga ntukuzibwa, nga sirina kibiina newakubadde oluyoogaano;
19 abagwanidde okubeera w'oli n'okunnumiriza oba nga balina ekigambo ku nze
20 Oba bano bayogere bennyini ekibi kye baalaba bwe nnayimirira mu lukiilro
21 wabula olw'eddoboozi lino erimu lye nnayogerera waggulu, nga nnyimiridde mu bo, nti Olw'okuzuukira kw'abafu nsalirwa omusango gye muli ku lunaku luno.
22 Naye Ferikisi, kubanga ye yali abasinga okumanya ebigambo eby’ekkubo, n’abalwisaawo ng’agamba okumanya ebigambo eby'Ekkubo, n'abalwisaawa ng'agamba nti bw'aliserengeta Lusiya omwami omukulu, ndisala omusango gw'ebigambo byammwe.
23 N'alagira omwami okumukuuma (n'okumuwa ebbanga; n'obutaziyiza muntu yonna ku mikwano gye, okumuweereza.
24 Naye ennaku bwe zaayitawo Ferikisi n'ajja ne mukazi we Dulusira, Omuyudaaya, n'ayita Pawulo n'amuwuliriza ku bigambo eby'okukkiriza Kristo Yesu.
25 Bwe yali ng'ateeza eby’obubutuukinvu, n'eby'okwegendereza, n'eby'omusango ogugenda okujja, Ferikisi n'atya n'addamu nti Genda kaakano; bwe ndiba n’abbanga, ndikuyita.
26 Era n'asuubira Pawulo okumuwa ebintu: kyeyava yeeyongeranga okumutumiranga okunyumyanga naye.
27 Naye bwe waayitiwo emkyaka ebiri, obwa Ferikisi ne buweebwa Polukiyo Fesuto; Ferikisi bwe yayagala Abayudaaya okumusiima, n’aleka Pawulo nga musibe.