1 Bwe baali nga boogera n'ekibiina, ne bajja gye baali bakebona n'omukulu wa yeekaalu n'Abasaddukaayo,
2 nga banakuwadde nnyo kubanga baayigiriza ekibiina era baabuulira ku bwa Yesu okuzuukira mu bafu.
3 Ne babassaako emikono ne babassa mu kkomera okutuusa enkya: kubanga bwali buwungedde.
4 Naye abamu bangi abaawulira ekigambo ne bakkiriza, omuwendo gw'abasajja ne baba ng'enkumi ttaano.
5 Awo bwe bwakya enkya abakulu n'abakadde n'abawandiisi ne bakuŋŋaanira mu Yerusaalemi:
6 ne Ana kabona asinga obukulu, ne Kayaafa ne Yokaana ne Alegeezanda, ne bonna ab'ekika kya kabona asinga obukulu:
7 ne babateeka wakati, ne babuuza nti Maanyi ki oba linnya ki eribakoza mmwe hyo?
8 Awo Peetero bwe yajjula Omwoyo Omutukuvu, n'abagamba nti Abakulu b'abantu n'abakadde,
9 bwe tubuulirizibwa leero olw'okukola obulungi omuntu omulwadde, ekimuwonyezza;
10 mutegeere mwenna n'ekibiina kyonna eky'Abaisiraeri nti mu linnya lya Yesu Kristo Omunazaaleesi, gwe mwakumerera mmwe, Katonda gwe azuukiza mu bafu, ku bw'oyo ono ayimiridde nga mulamu mu maaso gammwe.
11 Oyi lye jjinja eryanyoomebwa mmwe abazimbi, erifuuse ekkulu ery'oku nsonda.
12 So tewali mu mulala bulokozi, kubanga tewali na linnya ddala wansi w'eggulu eryaweebwa abantu eritugwanira okutulokola.
13 Awo bwe baalaba obugumu bwa Peetero ne Yokaana, ne babategeera okuba abantu abatamanyi kusoma era abataayigirizibwa nnyo, beewuunya, ne babeetegereza nga baali wamu ne Yesu.
14 Era bwe baalaba omuntu eyawoayezebwa ng'ayimiridde nabo, tebaalina kykuddamu.
15 Naye ne balagira bave mu lukiiko, ne basala amagezi bokka nga bagamba nti
16 Tunaakola tutya abantu bano? Kubanga bakoze akabonero akayatikiridde, ekigambo ekyo kimanyiddwa abantu bonna abatuula mu Yerusaalemi, so tetuyinza kukyegaana.
17 Naye kireme okwengeranga okubuna mu bantu, tubakange balemenga okwogera mu linnya eryo n'omuntu yenna yenna.
18 Ne babayita ne babalagira balemenga okwogera n'akatono newakubadde okuyigirizanga mu linnya lya Yesu.
19 Naye Peetero ne Yokaana ne baddamu ne babagamba nti Oba nga kirungi mu maaso ga Katonda okuwulira mmwe okusinga Katonda, mwogere;
20 kubanga ffe tetuyinza kulema kwogeranga bye twalaba bye twawulira.
21 Nabo, oluvannyuma lw'okwongera okubakanga, baabata, nga tebalaba kye banaabalanga okubabonereza, olw'ekibilina; kubanga bonna baali batendereza Katonda olw'ekyo ekikoleddwa.
22 Kubanga obukulu bwe yali ayise mu myaka amakumi ana omuntu eyakolerwa akabonero kano ak'okuwonyezebwa.
23 Bwe baateebwa ne bagenda mu kibiina kyabwe, ne bategeeza byonna bye bagambiddwa bakabona abakulu n'abakadde.
24 Nabo bwe baawulira ne bayimusa eddoboozi lyabwe n'omwoyo gumu eri Katonda, ne bagamba nti Mukama, ggwe eyakola eggulu n'ensi n'ennyanja n'ebirimu byonna,
25 ggwe eyayogerera ku bw'Omwoyo Omutukuvu mu kamwa ka jjajjaffe Rawudi mulenzi wo nti Ab'amawanga kiki ekibeesazizza akajegere, N'ebika birowoozezza ebitaliimu?
26 Bakabaka b'ensi baasimba ennyiriri, N'abakulu baakuŋŋaanira wamu Ku Mukama ne ku Kristo we:
27 Kubanga mazima baakuŋŋaanira mu kibuga muno ku Mulenzi wo omutukuvu Yesu, gwe wafukako amafuta, Kerode ne Pontio Piraato wamu n'ab'amawanga n'ebika bya Isiraeri,
28 bakole byonna omukono gwo n'okuteesa kwo bye byalagira edda okubaawo.
29 Kale kaakano, Mukama, laba okukanga kwabwe, owe abaddu bo bagume nnyo okwogeranga ekigambo kyo,
30 bw'ogolola omukono grovo owonye, n'obubonero n'amagero bikolebwenga mu linnya lya Mulenzi wo omutukuvu Yesu.
31 Bwe baamala okusaba, mu kifo we baakuŋŋaanira ne wakankana; bonna ne bajjula Omwoyo Omutukuvu, ne boogera ekigambo kya Katonda n'obuvumu.
32 N'ekibiina kyabwe abakkiriza baalina omutima gumu n'emmeeme emu; so tewaali n'omu eyoyogeranga nti ekintu ky'alina kye kikye yekka, naye byonna baabanga nabyo mu bumu.
33 N'amaanyi mangi abatume ne boogeranga okutegeeza kwabwe okw'okuzuukira kwa Mukama waffe Yesu. N'ekisa kingi ne kibeeranga ku bo bonna.
34 Kubanga tewaali mu bo eyeetaaganga; kubanga bonna abaalina ensuku oba ennyumba baazitundanga ne baleeta omuwendo gwazo ezaatundibwanga,
35 ne baguteeka ku bigere by'abatume: ne bagabiranga buli muntu nga bwe yeetaaganga.
36 Ne Yusufu abatume gwe baayita Bakunabba (okutegeezebwa kwalyo nti) Mwana wa ssannyu Omuleevi, eyazaalirwa e Kupulo,
37 yalina ennimiro, n'agitunda n'aleeta effeeza n'agiteeka ku bigere by'abatume.