1 Kyenvudde mbeegayirira, ab'oluganda, olw'okusaayi: kwa Katonda, okuwangayo emibiri gyammwe, ssaddaaka ennamu, entukuvu, esanyusa Katonda, kwe kuweereza kwammwe okw'amagezi.
2 So temufaananyizibwanga ng'emirembe gino: naye mukyusibwe nga olw'okufuula amagezi gammwe amaggya, mulyoke mukemenga bwe biri Katonda by'ayagala, ebirungi ebisanyusa, ebituufu.
3 Kubanga njogera, olw'ekisa kye nnaweebwa, eri buli muntu ali mu mmwe, alemenga okwerowooza oku singa bwe kimugwanidde okulo wooza; naye okulowoozanga ng yeegendereza, nga Katonda bwe yagabira buli muntu ekigera ky'o kukkiriza.
4 Kubanga bwe tulina ebitundu ebingi mu mubiri ogumu naye ebitundu byonna tebirina mu limu gumu:
5 bwe kityo ffe abangi tuli omubiri gumu mu Kristo, na buli muntu tuli ebitundu bya baana ffe fekka na fekka.
6 Era nga bwe tulina ebitenkanankana ng'ekisa kyetwawebwa bwe kiri, oba bunabbi (tubuulirenga) mu kigera kyokukiriza kwaffe;
7 oba ku weereza, tunyiikirenga mu kuweereza kwaffe;
8 oba ayigiriza, anyiikirenga mu kuyigiriza kwe; oba abuulirira, mu kubuulirira kwe: agaba, agabenga awatali bukuusa; afuga afugenga n'okunyiikira; asaasira asaasirenga n'essanyu.
9 Okwagala kubeerenga kw’amazima. Mukyawenga obubi, mwegattenga n'obulungi.
10 Mu kwagala kw'ab'oluganda mwagalanenga mwekka ne mwekka; mu kitiibwa buli muntu agulumizenga munne;
11 mu kunyiikira si bagayaavu; abasanyufi mu mwoyo; nga mubeeranga baddu ba Mukama waffe;
12 musanyukenga mu kusuubira; mugumiikirizenga mu bunaku; munyiikirenga mu kusaba;
13 mugabirenga abatukuvu bye beetaaga; mwanirizenga abageayi.
14 Musabirenga ababayigganya; musabirenga, so temukolimanga.
15 Musanyukirenga wamu n'abo abasanyuka; mukaabirenga wamu n'abo abakaaba.
16 Mulowoozenga bumu mwekka na mwekka. Temwegulumizanga, naye mugendenga n'abo abatalina bukulu. Temubanga ba magezi mu naaso gammwe mwekka.
17 Tenuwalananga muntu kibi olw'ekibi. Awetegekenga ebirungi mu maaso g’abantu bonna.
18 Oba nga kiyinzika, ku luuyi lwammwe, mutabaganenga n'abantu bonna.
19 Temuwalananga mwekka ggwanga, baagalwa, naye waakiri musegulienga obusungu: kubanga kyawandiikibwa nti Okuwalana kwange; nze ndisasula, bw'ayogera Mukama.
20 Naye omulabe wo bw'alumwanga enjala, muliisenga; bw'alumwanga ennyonta, munywesenga kubanga bw'okola bw'otyo, olinukumira amanda g'omuliro ku mutwe gwe.
21 Towangulwanga bubi, naye wangulanga obubi olw'obulungi.