1 Oba temumanyi, ab'oluganda (kubanga ŋŋamba abategeera amateeka), ng'amateeka gafuga omuntu ng'akyali mulamu?
2 Kubanga omukazi afugibwa bba ng'akyali mulamu; naye bba bw'afa, ng'asumuluddwa mu mateeka ga bba.
3 Kale bwe kityo bba: bw'aba ng'akyali mulamu bw'anaabanga n'omusajja omulala, anaayitibwanga mwenzi: naye bba bw'afa, nga wabusa eri amateeka, obutaba mwenzi bw'aba n'omusajja omulala.
4 Bwe kityo, baganda bange, era nammwe mwafa ku mateeka olw'omubiri gwa Kristo, mubeere n'omulala, ye oyo eyazuukizibwa mu bafu, tulyoke tubalirenga Katonda ebibala.
5 Kubanga bwe twabanga mu mubiri, okwegomba okubi, okuliwo olw'amateeka, kwakolanga mu bitundu byaffe okubaliranga okufa ebibala.
6 Naye kaakano twasumululwa mu mateeka, bwe twafa ku ekyo ekyabanga kitufuga, ffe tubeerenga abaddu mu buggya obw'omwoyo, so si mu nnukuta ez'edda.
7 Kale tunaayogera tutya? Amateeka kye kibi? Kitalo. Naye ssanditegedde kibi, wabula mu mateeka: kubanga ssaadimanye kwegomba, singa amateeka tegaayogera nti Teweegombanga:
8 naye ekibi bwe kyalaba we kiyima, ne kikolanga mu nze olw'amateeka okwegomba kwonna: kubanga awataba mateeka ekibi nga kifudde.
9 Nange edda nnabanga mulamu awatali mateeka: naye ekiragiro bwe kyajja, ekibi ne kizuukira, nange ne nfa;
10 n'ekiragiro ekyali eky'okuleeta obulamu, ekyo ne kirabika gye ndi eky'okuleeta okufa:
11 kubanga ekibi, bwe kyalaba we kiyima olw'ekiragiro, ne kinnimba, ne kinzita olw'ekyo.
12 Bwe kityo amateeka matukuvu, n'ekiragiro kitukuvu, kituukirivu, kirungi.
13 Kale ekirungi kyafuuka kufa gye ndi? Kitalo. Naye ekibi kirabike okuba ekibi, kubanga kye kyandeetera okufa olw'ekirungi; ekibi kiryoke kyeyongerenga okubeera ekibi olw'eki ragiro.
14 Kubanga tumanyi ng'amateeka ge g'omwoyo: naye nze ndi wa mubiri, natundibwa okufugibwanga ekibi.
15 Kubanga kye nkola, ssikimanyi; kubanga kye njagala si kye nkola; naye kye nkyawa kye nkola.
16 Naye oba nga kye ssaagala kye nkola, nzikiriza amateeka nga malungi.
17 Kale kaakano ai nze nkikola nate, wabula ekibi ekituula mu nze.
18 Kubanga mmanyi nga mu nze, gwe mubiri gwange, temutuula kirungi: kubanga okwagala kumbeera kumpi, naye okukola ekirungi tewali.
19 Kubanga kye njagala ekirungi ssikikola: naye kye ssaagala ekibi kye nkola.
20 Naye oba nga kye ssaagala kye nkola, si nze nkikola nate, wabula ekibi ekituula mu nze.
21 Bwe kityo ndaba etteeka nti nze bwe njagala okukola ekirungi, ekibi kimbeera kumpi.
22 Kubanga nsanyukira amateeka ga Katonda mu muntu ow'omunda:
23 naye ndaba etteeka eddala mu bitundu byange nga lirwana n'etteeka ly'amagezi gange, era nga lindeeta mu bufuge wansi w'etteeka ly'ekibi eriri mu bitundu byange:
24 Nze nga ndi muritu munaku! ani alindokola mu mubiri ogw'okufa kuno?
25 Nneebaza Katonda ku bwa Yesu Kristo Mukama waffe. Kale bwe kityo nze nzekka mu magezi ndi muddu wa mateeka ga Katonda, naye mu mubiri wa tteeka lya kibi.