Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Abaruumi Romans

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16
1 Njogera amazima mu Kristo sirimba, omwoyo gwange nga guntegeereza mu Mwoyo Omutuukuvu,
2 nga nnina ennaku nnyingi n'okulumwa okutamala mu mutim gwange.
3 Kubanga nandyagadde nze mwene okukolimirwa Kristo olwa baganda bange, ab'ekika kyange mu mubiri:
4 be Baisiraeri abaweebwa okufuuka abaana, n'ekitiibwa, n'endagaano, n'okuteekerwa amateeka, n'okuweerezanga Katonda, n'ebyasuubizibwa;
5 abalina bajjajja abo, era omwava Kristo mu mubiri, afuga byonna, Katonda atenderezebwa emirembe gyonna Amiina.
6 Naye si kubanga ekigambo kya Katonda kyavaawo Kubanga abava mu Isiraeri, si ba Baisiraeri bonna:
7 so si kubanga lye zzadde lya Ibulayimu, kyebav babeera abaana bonna: naye, mu Isaaka ezzadde lyo mwe linaayitirwanga.
8 Kwe kugamba nti abaana ab'omubiri, abo si be baana ba Katonda; naye abaana b'okusuubiza be babalibwa okuba ezzadde.
9 Kubanga ekigambo kino kye ky'okusuubiza, nti Ng'ebiro ebyo bwe biri ndijja, ne Saala aliba n'omwana.
10 Naye si ekyo kyokka; era naye ne Lebbeeka bwe yalina olubuto olw'omu, Isaaka jjajjaffe
11 kubanga nga teba nnazaalibwa, so nga tebannakola kirungi oba kibi, okuteesa kwa Katonda mu kulonda kulyoke kunywere, si lwa bikolwa, wabula ku bw'oyo ayita,
12 n'agambibwa nti Omukulu aliba muddu wa muto.
13 Nga bwe kyawandiikibwa ne Yakobo n'amwagala, naye Essawa n'amukyawa.
14 Kale tunaayogera tutya? Obi tali butuukirivu buli eri Katonda Kitalo.
15 Kubanga agamba Musa nti Ndisaasira gwe ndisaasira, gwe ndikwatirwa ekisa gwe ndikwatirwa ekisa.
16 Kale bwe kityo si ky'oyo ayagala newakubadde addukana, wabula kya Katonda asaasira.
17 Kubanga ebyawandiikibwa bigamba Falaawo nti Kyennava nkuyimiriza, ndyoke njoleseze amaanyi gange mu ggwe, era erinnya lyange liryoke libuulirwe mu nsi zonna.
18 Kale bwe kityo asaasira gw'ayagala okusaasira, era akakanyaza gw'ayagala okukakanyaza.
19 Kale onoŋŋamba nti Kiki ekinunenyesa nate? Kubanga ani aziyiza by'ayagala?
20 Naye ekisinga, ggwe omuntu, ggwe ani awatana ne Katonda? Ekibumbe kirigamba eyakibumba nti Kiki ekyakunkoza bw'oti?
21 Oba omubumbi talina buyinza ku bbumba, mu kitole kimu okukola ekibya kimu eky'ekitiibwa, n'ekirala eky'ensoiyi?
22 Kiki, oba nga Katonda me yayagala okulaga obusungu bwe, n'okumanyisa obuyinza bwe, yagumiikiriza n'okulindirira ennyo ebibya eby'obusungu ebyateekerwateekerwa okuzikirira:
23 alyoke manyise obugagga obw'ekitiibwa ye ku bibya eby'okusaasirwa, bye uteekerateekera edda ekitubwa,
24 ye ffe, n'okuyita be yayita, si mu Bayudaaya bokka, era naye ne mu y'amawanga?
25 Era nga bw'ayogera mu Koseya nti Ndibayita abantu bange, abatali bantu bange; Era ataayagalwa, ayagaliddwa.
26 Awo mu kifo kye baagambirwamu nti Mmwe temuli bantu bange, Mwe baliyitirwa abaana ba Katonda omulamu:
27 Era Isaaya ayogerera waggulu bya Isiraeri nti Omuwendo gw'abaana ba Isiraeri oba guliba ng'omusenyu gw'ennyanja, ekitundu ekirisigalawo kye kirirokoka:
28 kubanga Mukama alikola ekigambo ye ku nsi, ng'akituukiriza era g'akisalako.
29 Era nga Isaaya we yasooka okwogera nti Singa Mukama Ow'eggye teyatulekerawo zzadde, Twandifuuse nga Sodomu, era twandifaanayizibbwa nga Ggomola.
30 Kale tunaayogera tutya? Nti b'amawanga, abataagobereranga butuukirivu, baatuuka ku butuukivu, bwe butuukirivu obuva mu ukkiriza;
31 naye Isiraeri, mu ugobereranga amateeka ag'obutuukirivu, teyatuuka ku mateeka gali.
32 Lwaki? Kubanga tebaabugobereranga nga bayima mu kukkiriza, wabula nga mu bikolwa. Beesittala ku jjinja eryo eryesittalwako:
33 nga bwe kyawandiikibwa nti Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja eryesittalwako n'olwazi olugwisa: Era akkiriza oyo talikwasibwa nsonyi.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]