Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Abaruumi Romans

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16
1 Kale tunaayogeza tutya? Tunyiikirenga okukola ekibi ekisa kyeyongerenga?
2 Kitalo Abafa ku kibi, tunaabeeranga tutya abalamu mu kyo nate?
3 Oba temumanyi nga ffe fenna, abaabatizibwa okuyingira mu Kristo Yesu nga twabatizibwa kuyingira mu kufa kwe?
4 Kyetwava tuziikibwa awamu naye mu kubatizibwa okuyingira mu kufa: nga Kristo bwe yaztialazibwa mu bafu olw'ekitii bwa kya Kitaawe, bwe tutyo naffe tutambulirenga mu bulamu obuggya.
5 Kuba obanga twagattibwa wamu naye mu kifaananyi ky'okufa kwe, era tuligattibwa ne m kifaananyi ky'okuzuukira kwe
6 bwe tumanya kino ng'omuntu waffe ow'edda yakomererwa. wamu naye, omubiri gw'ekibi gulyoka guggibwewo, tuleme okubeeranga nate abaddu b'ekibi;
7 ubanga afa nga takyaliko musango eri ekibi.
8 Naye oba nga twafiira wamu ne Kristo, era tukkiriza nga tulibeera balamu wamu naye;
9 bwe tumanyi nga Kristo yamala okuzuukizibwa mu bafu takyafa nate; okui tekukyamufuga.
10 Kubanga okufa kwe yafa yafa ku kibi omulundi gumu: naye obulamu bw'alina, ali nabwo eri Katonda.
11 Bwe mutyo nammwe mwerowoozenga okubeera abafa ku kibi, naye abalam eri Katonda mu Kristo Yesu.
12 Kale ekibi kiremenga okufuga nu mubiri gwammwe ogufa, okuvuliranga okwegomba kwagwo:
13 so temuwangayo bitundu byanmwe eri ekibi okubanga eby'okukoza obutali butuukirivu; aaye nwewengayo eri Katonda, ng'abaamu abaava mu bafu, n'ebitundu byammwe okubanga eby'okukoza butuukirivu eri Katonda.
14 Kubanga ekibi tekiibenga mukama wammwe; kubanga amateeka si ge gabafuga, wabula ekisa.
15 Kale tukole tutya? tukolenga kibi, kubanga amateeka si ge atufuga, wabula ekisa? Kitalo.
16 Temumanyi nga gwe mwewa okuba abaddu b'okuwulira, muli baddu b'oyo gwe muwulira, oba ab'ekibi okuleeta okufa, oba ab'okuwulira okuleeta obutuukirivu?
17 Naye Katonda yeebale, kubanga mwavanga baddu ba kibi, naye mwawulira mu mutima engeri eyo y'okuyigirizibwa gye mwaweebwa;
18 kale bwe mwaweebwa eddembe kuva mu kibi, ne mufuuka abaddu bobutuukirivu.
19 Njogera mu buntu olw'obunafu bw'omubiri wammwe: kuba nga bwe mwawagayo ebitundu byammwe okuba baddu eri obugwagwa n'eri obujeemu okujeemanga, bwe mutyo kaakano muwengayo ebitundu byanmwe okubanga abaddu eri obuuukirivu okutukuzibwa.
20 Kubanga bwe mwabanga abaddu b'ekibi, mwabanga ba ddembe eri butuukirivu.
21 Kale bibala ki bye mwalina mu biro biri eby'ebigambo ebibakwasa ensonyi kaakano? kubanga enkomerero yaabyo kufa.
22 Naye kaakano bwe mwaveebwa eddembe okuva mu kibi, ne nufuuka abaddu ba Katonda, mulina ebibala byammwe olw'okutukuzibwa, n'enkomerero bulamu obuaggwaawo.
23 Kubanga empeera y'ekibi kwe kufa; naye ekirabo kya Katonda bwe bulamu obutaggwaavo mu Kristo Yesu Mukama waffe.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]