Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

1 Abakkolinso 1 Corinthians

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16
1 Mugobererenga okwagala; naye mwegombenga ebirabo eby'omwoyo, naye ekisinga mubuulirenga.
2 Kubanga ayogera oiulimi tayogera eri bantu, wabula Katonda; kubanga siwali awulira; naye mu mwoyo ayogera byama.
3 Naye abuulira ayogera eri abantu ebizimba, n'ebisanyusa, n'ebigumya.
4 Ayogera olulimi yeezimba yekka; naye abuulira azimba ekkanisa.
5 Kale mbaagala mwenna mwogerenga ennimi, naye waakiri mubuulirenga: era abuulira ye asinga obukulu ayogera ennimi, wabula ng'ategeeza, ekkanisa eryoke ezimbibwe.
6 Naye kaakano; ab'oluganda, oba nga ndijja gye muli nga njogera ennimi, ndibagasa ntya; bwe ssiryogera nammwe oba mu kubikkula, oba mu kutegeera, oba mu kubuulira, oba mu kuyigiriza?
7 Era n'ebitali biramu, ebireeta, eddoboozi; oba ndere, oba nnanga, bwe bitaleeta kwawula mu kuvuga, kitegeerwa kitya ekifuuyibwa oba ekikubibwa?
8 Kubanga n'akagombe bwe kavuga eddoboozi eritategeerekeka, ani alyeteekateeka okulwana?
9 Bwe mutyo nammwe bwe mutaaleetenga mu lulimi eddoboozi eriwulikika amangu, ekyogerwa kinaategeerwanga kitya? kuanga mulyogerera mu bbanga.
10 Mpozzi waliwo mu nsi engeri 'ennimi bwe ziti, so siwali ngeri terina makulu.
11 Kale bwe ssiianya makulu ga ddoboozi, ndibeera g'ajoboja eri oyo ayogera, n'oyo yogera alibeera ng'ajoboja eri nze.
12 Bwe mutyo nammwe, kubanga awegomba eby'omwoyo, mwagalenga okweyongera olw'okuzimba kkanisa.
13 Kale ayogera olulimi sabenga ategeezenga:
14 Kubanga bwe nsaba mu lulimi, omwoyo wange gusaba, naye amagezi gange egabala bibala.
15 Kale kiki? nnaaabyanga omwoyo, era nnaasabyaga n'amagezi, nnaayimbyanga mwoyo, era nnaayimbyanga n'amagezi.
16 Kubanga bw'osaba omukisa mu mwoyo, abeera mu kifo y'oyo atamanyi anaddangamu atya tti Amiina olw'okwebaza kwo, bw'atategeera ky'oyogedde?
17 Kubanga ggwe weebaza bulungi, naye mulala tazimbibwa.
18 Nneebaza Katonda; mbasinga mwenna okwoera ennimi;
19 naye mu kkanisa njagala okwogeranga ebigambo bitano n'amagezi gange, ndyoke njiirizenga n'abalala, okusinga ebiambo akakumi mu lulimi obulimi.
20 Ab'oluganda, temubanga baana bato mu magezi: naye mu ttima mbeerenga baana bawere, naye mu magezi mubeerenga bakulu.
21 Kyawandiikibwa mu mateeka nti Ndyogera n'abantu bano mu bantu ab'ennimi endala ne mu mimwa gya bannaggwanga; era ewakubadde bwe kityo tebalimpura, bw'ayogera Mukama:
22 Ennimi kyeziva zibeera akaonero, si eri abo abakkiriza, waula eri abatakkiriza: naye okubuulira tekubeera kabonero eri abatalariza wabula eri abakkiriza.
23 Kale ekkanisa yonna bw'eba g'ekuŋŋaanidde wamu, bonna ne oagera ennimi, ne wayingira abamumanyi oba abatakkiriza, tebaliamba nti mulaluse?
24 Naye bona bwe babuulira, ne wayingira takkiriza oba atamanyi, anenyeebwa bonna, asalirwa bonna omuango;
25 ebyama eby'omu mutima gwe birabisibwa; era bw'atyo livuunama amaaso, n'asinza Katonda, ng'ayogera nga Katonda ali mu mmwe ddala.
26 Kale kiri kitya, ab'oluganda? Bwe mukuŋŋaana, buli muntu alina oluyimba, alina okuyigiriza, alina ekimubikkuliddwa, alina olulimi, alina okutegeeza. Byonna bikolebwenga olw'okuzimba.
27 Omuntu bw'ayogeranga olulimi, boogerenga babiri oba nga bangi, basatu, era mu mpalo, era omu avvuunulenga:
28 naye oba nga tewali avvuunula, asirikenga mu kkanisa; ayogererenga mu mmeeme ye era ne Katonda.
29 Ne bannabbi boogerenga babiri oba basatu, n'abalala baawulenga.
30 Naye omulala atudde bw'abikkulirwanga, eyasoose asirikenga.
31 Kubanga mwenna muyinza okubuuliranga kinnoomu, bonna bayigenga, era bonna basanyusibwenga;
32 n'emyoyo gya bannabbi gifugibwa bannabbi;
33 kubanga Katonda si wa kuyoogaana, naye wa mirembe; nga mu kkanisa zonna ez'abatukuvu.
34 Abakazi basirikenga mu kkanisa: kubanga tebalagirwa kwogera; naye ba bafugubwenga, era nga n'amateeka bwe googera.
35 Era bwe baagalanga okuiyiga ekigambo, babuulizenga babbaabwe eka: kubanga kya nsonyi omukazi okwogeranga mu kkanisa.
36 Oba gye muli ekigambo kya Katonda gye kyava? oba kyatuuka eri mmwe mwekka?
37 Omuntu yenna bwe yeerowoozanga okuba nnabbi oba wa mwoyo, ategeerenga bye mbawandiikira, nga kye kiragiro kya Mukama waffe:
38 Naye omuntu yenna bw'atategeera, aleme okutegeera.
39 Kale baganda bange, mwegombenga okubuuliranga, so temuziyizanga kwogeranga nnimi:
40 Naye byonna bikolebwenga nga bwe kisaana era mu mpisa ennungi.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]