1 N'okugamba bagamba nga mu mmwe mulimu obwenzi, era obwenzi bwe butyo obutali ne mu b'amawaaga, omuntu okubeera ne mukazi wa kifaawe.
2 Nammwe mwegulumizizza; so femwanakuwala bunakuwazi, oyo eyakola ekikolwa ekyo alyoke aggibwe wakati mu mmwe.
3 Kubanga nze bwe ssibaayo mu mubiri naye nga ndiyo mu mwoyo; mmaze okusalira omusango oyo eyayonoona ekyo bw'atyo,
4 mu linnya lya Mukama waffe Yesu, mmwe nga mukuŋŋaanye n'omwoyo gwange awamu n'amaanyi ga Mukama waffe Yesu,
5 okuwaayo ali bw'atyo eri Setaani omubiri okuzikirizibwa, omwoyo gulyoke gutokoke ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu.
6 Okwenyumiriza kwammwe si kulungi: Tetumanyi ng'ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna?
7 Muggyeemu ekizimbulukusa eky'edda, mulyoke mubeere ekitole ekiggya, nga temuliimu kizimbulukusa. Kubaaga era n'Okuyitako kwaffe kwattibwa, ye Kristo:
8 kale tufumbe embaga, si na kizimbulukusa eky'edda, newakubadde n'ekizimbulukusa eky'ettima n'obubi, wabula n'ebitazimbulukuswa eby'obutali bukuusa n'amazima.
9 Nnabawandiikira mu bbaluwa yange obuteegattanga na benzi;
10 so si kwewalira ddala abenzi ab'omu nsi muno, oba abeegombi n'abanyazi, oba abasinza ebifaananyi: kubanga bwe kiba kityo kyandibagwanidde okuva mu nsi:
11 naye kaakano mbawandiikira obuteegattanga naye, omuntu yenaa ayitibwa ow'oluganda bw'aba nga azwenzi, oba mwegombi, oba: asinza ebifaananyi, oba muvumi, oba mutamiivu, oba munyazi; ali bw'atyo n'okulya temulyanga naye:
12 Kubanga nfaayo ki okusalira omusango abali ebweru? Mmwe temusalira musango ba munju?
13 Naye ab'ebweru Katonda ye abasalira omusango. Omubi oyo mumuggye mu mmwe.