Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

1 Abakkolinso 1 Corinthians

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16
1 Omuntu atulowoozenga bw'ati, nga tuli baweereza ba Kristo era abawanika b'ebyama bya Katonda:
2 Era wano kigwanira abawanika, omuntu okulabikanga nga mwesigwa.
3 Naye ku nze kigambo kitoao nnyo mmwe okunsalira omusango, oba omuntu yenna: era nange azekka sseesalira musango:
4 Kubanga sseemanyiiko kigambo; naye ekyo tekimpeesa butuukirivu: naye ansalira omusango ye Mukama waffe.
5 Kale temusalanga musango gwa kigambo kyonna, ebiro nga tebinnatuuka, okutuusa Mukama waffe lw'alijja, alimulisa ebikwekebwa eby'omu kizikiza, era alirabisa okuteesa okw'omu mitima; buli muntu n'alyoka aweebwa ettendo lye eri Katonda.
6 Naye ebyo, ab'oluganda, mbigeredde ku nze ne Apolo ku lwammwe; mulyoke muyigire ku ffe obutasukkanga ku byawandiikibwa; omuntu yenna alemenga okwegulumiza olw'omu okusinga omulala.
7 Kubanga akwawula ye ani? era olina ki ky'otaaweebwa? naye okuweebwa oba nga waweebwa, kiki ekikwenyumirizisa ng'ataaweebwa?
8 Mumaze okukkuta, mumaze okugaggawala, mwafuga nga bakabaka awatali ffe: era mubeera kufuga nandyagadde, era naffe tulyoke tufugire wamu nammwe.
9 Kubanga ndowooza nga Katonda ffe abatume yatwolesa. enkomerero ng'abataaleme kufa: kubanga twafuuka ekyerolerwa ensi ne bamalayika n'abantu.
10 Ffe tuli basirusiru ku bwa Kristo, naye mmwe muli bagezigezi mu Kristo; ffe tuli banafu, naye mmwe muli ba maanyi; mmwe muli ba kitiibwa, ffe tuli ba kunyoomebwa:
11 Era n'okutuusa ekiseera kino, tulumwa enjala era n'ennyonta, era tuba bwereere, era tukubibwa ebikonde, era tetuliiko waffe;
12 era tukola emirimu nga tutegana n'emikono gyaffe: bwe tuvumibwa, tubasabira omukisa; bwe tuyigganyizibwa; tugumiikiriza;
13 bwe tuwaayirizibwa, twegayirira: twafuuka ng'ebisasiro eby'ensi; empitambi eza byonna, okutuusa kaakano.
14 Ebyo ssibiwandiika kubakwasa nsonyi, wabula okubabuutirira ng'abaana bange abaagalwa.
15 Kuba newakubadde nga mulina abayigiriza kakumi mu Kristo, naye temulina bakitammwe bangi; kubanga nze nabazaaza enjiri mu Kristo Yesu:
16 Kyenva mbeegayirira okungohereranga:
17 Kyenva ntuma Timoseewo gye muli ye mwana wange omwagalwa omwesi.gwa mu Mukama waffe, alibajjukiza amakubo gange agali mu Kristo, nga bwe njigiriza yonna yonna mu buli kkanisa:
18 Naye waliwo abalala abeegulumiza nga balowooza nga nze sigenda kujja gye muli.
19 Naye ndijja gye muli mangu, Mukama waffe bw'alyagala; era ndimanya amaanyi gaabwe abeegulumiza so si kigambo kyabwe.
20 Kubanga obwakabaka bwa Katonda tebuli mu kigambo, wabula mu maanyi:
21 Mwagalako ki? njije gye muli n'omuggo, oba mu kwagala ne mu mwoyo ogw'obuwombeefu?

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]