1 Naye ku ebyo bye mwampandiikira; kirungi omusajja obutakwatanga ku mukazi.
2 Naye, olw'obwenzi, buli musajja abeerenga ne mukazi we ye, na buli mukazi abeerenga ne musajja we ye:
3 Omusajja asasulenga mukazi we ekyo ekimugwanira: era n'omukazi asasulenga bw'atyo omusajja.
4 Amukazi tafuga mubiri gwe ye, wabula musajja we: era n'omusajja bw'atyo tafuga mubiri gwe ye, wabula mukazi we.
5 Temumaŋŋananga, wabula mpozzi nga mulagaanye ekiseera, mulyoke mubeerenga n'ebbaaga ery'okusabiramu, ate mulyoke mubeerenga wamu, Setaani alemenga okubakema olw'obuteeziyiza bwammwe.
6 Naye ebyo mbyogera nga nzikiriza bukkiriza, so siteeka tteeka
7 Naye nandyagadde abantu bonna okubeeranga nga nze: Naye buli muntu alina ekirabo kye.ye, ekiva eri Katonda, omulala bw'ati, n'omulala bw'ati:
8 Naye abatannafumbiriganwa ne bannamwandu mbagamba nti Kirungi bo okubeeranga nga nze:
9 Naye oba nga tebayinza kweziyiza, bafumbiriganwenga: kubanga kye kirungi okufumbiriganwanga okuinga okwakanga.
10 Naye abaaiala okufuumbirwaganwa mbalagira, so si nze wabula Mukama waffe, mukazi obutanobanga ku musajja we
11 (naye okunoba bw'anobanga, beerenga awo obutafumbirwanga, ba atabaganenga ne musajja we); era n'omusajja obutalekangayo mukazi we.
12 Naye abalala mba amba nze, si Mukama waffe: w'oluganda yenna bw'abanga n'onukazi atakkiriza, omukazi bw'aabagananga naye okubeera naye, Bamulekangayo.
13 N'omukazi bw'abeeranga n'omusajja atakkiriza; aye: bw'atabagananga naye okubeea naye, tanobanga ku musajja we.
14 Kubanga omusajja atakkiriza atuuzibwa na mukazi, n'omukazi atakiriza atukuzibwa na wa luganda: inga tekiri bwe kityo, abaana basmwe tebandibadde balongoofu; naye kaakano batukuvu.
15 Naye atakkiriza bw'ayawukananga: ayawukane: ow'oluganda omusajja oba mkazi tali mu buddu mu bigambo biri bwe bityo: naye Katonda yaayitira mirembe.
16 Kubanga, gwe omukazi; omanyi otya nga tolirokola musajja wo? oba, ggwe musajja, omanyi otya nga toliroola mukazi wo?
17 Kino kyokka, buli muntu nga Mukama waffe bwe amugabira, buli muntu nga Katonda bwe yamuyita, atambulenga w'atyo. Era bwe ndagira bwe ntyo mu kkanisa zonna.
18 Omuntu ennayayitibwa nga mukomole? teyeggyangako bukomole bwe. Imuntu yenna yayitibwa nga si mkomole? Takomolebwanga.
19 Okukomolwa si kintu n'obuikomolwa si kintu wabula okukwatanga ebiragiro bya Katonda.
20 Buli muntu abeerenga mu kuyibwa kwe yayitirwamu:
21 Wayibwa ng'oli muddu? tokyeraliikiiranga: naye okuyinza bw'oyinzaga okuweebwa eddembe, waakiri beerenga nalyo.
22 Kubanga mu lukama waffe eyayitibwa nga mudu, aweebwa Mukama waffe eddeabe: bw'atyo eyayitibwa nga wa dembe ye muddu wa Kristo.
23 Mwagulibwa na muwendo; temufuukanga baddu ba bantu:
24 Ab'oluganda, okuyitibwa buli muntu kwe yayitirwamu, abeerenga mu okwo wamu ne Katanda.
25 Naye ku by'obatafumbiriganwa sirina kiragiro kya Mukama waffe: naye mbagamba nze ng'omuntu Mukama waffe gwe yasaasira okubeera omwesigwa.
26
27 Wasibibwa n'omukazi? tonoonyanga kusumululwa. Wasumululwa ku mukazi? tonoonyanga mukazi:
28 Naye okuwasa bw'owasanga, nga toyonoonye; n'omuwaia bw'afumbirwanga; nga tayonoonye. Naye abali bwe batyo banaabeeranga n'okubonaabona mu mubiri: nange mbasaasira.
29 Naye kino kye njogera, ab'oluganda, nti Ebiro biyimpawadde, okutanula kaakano abalina abakazi babe ng'abatalina:
30 era n'abo abakaaba babe ng'abatakaaba; n’abo abasanyuka babe ng'abatasanyuka; n'abo abagula babe ng'abatalina;
31 n'abo abakoza eby'omu nsi babe ng'abatabikoza bubi: kubanga engeri ey'omu nsi muno eggwaawo.
32 Naye njagala mmwe obuteeraliikiriranga. Atali mufumbo yeeraliikirira bya Mukama waffe, bw'anaasanyusanga Mukama waffe:
33 naye omufumbo yeeraliikirira bya mu nsi, bw'anaasanyusanga mukazi we.
34 Era waliwo enjawulo ku mufumbo n'omuwala. Atafiumbirwa yeeraliikirira bya Mukama waffe, abeerenga mutukuvu omubiri n'omwoyo: naye afumbirwa yeeraliikirira bya mu nsi, bw'anaasanyusanga musajja we.
35 Njogedde ekyo olw'okubagasa nunwe bennyini; si lwakuba nga kyambika, wabula olw'obulungi era mulyoke muweerezenga Mukama waffe obutategananga:
36 Naye omuntu bw'alowoozanga nga takola bulungi muwala we, oba nga ayitiridde obukulu, era oba nga kigwana okubeera bwe kityo, akolenga nga bw'ayagala; tayonoona; liafumbiriganwe.
37 Naye oyo anywera mu mutima gwe, nga tawalirizibwa, naye ng'ayinza okutuukiriza bw'ayagala ye, era nga yamalirira kino mu mutima gwe okukuumanga muwala we, alikola bulungi.
38 Kale afumbiza muwala we akola bulungi; era n'oyo atalifumbiza ye alisinga okukola obulungi.
39 Omukazi asibibwa musajja: we ng'akyali mulamu; naye musajja we bw'aba nga yeebase, nga wa busa afumbirwenga gw'ayagala; kyokka mu Mukama waffe.
40 Naye aba musanyufu okusigala nga bw'ali nga nze bwe ndowooza: era ndowooza nga nange nnina Omwoyo gwa Katonda.