Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Yoswa Joshua

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24
1 Ne kano ke kaali akalulu ak'ekika kya Manase kubanga oyo ye yali omubereberye wa Yusufu. Makiri, omubereberye wa Manase, era jjajja wa Gireyaadi, kubanga yali mulwanyi, kyeyava alya Gireyaadi ne Basani:
2 N'akalulu ak'abaana ba Manase abalala kaali ng'enda zaabwe bwe zaali; ak'abaana ba Abiezeri, n'ak'abaana ba Kereki, n'ak'abaana ba Asuliyeri, n'ak'abaana ba Sekemu, n'ak'abaana ba Keferi, n'ak'abaana ba Semida: abo be baana ab'obulenzi aba Manase omwana wa Yusufu ng'enda zaabwe bwe zaali.
3 Naye Zerofekadi, omwana wa Keferi, omwana wa Gireyaadi, omwana wa Makiri, omwana wa Manase, teyazaala ba bulenzi, wabula ab'obuwala: na gano ge mannya ag'abaana be ab'obuwala, Maala, ne Noowa, Kogula, Mirika, ne Tiruza
4 Ne basemberera Eriyazaali kabona; ne Yoswa omwana wa Nuni, n'abakulu; nga boogera nti Mukama yalagira Musa okutuwa obusika mu baganda baffe: kyeyava abawa, nga Mukama bwe yalagira, obusika mu baganda ba kitaabwe.
5 Ebitundu kkumi ne bituuka ku Manase, obutassaako nsi ya Gireyaadi ne Basani, eri emitala wa Yoludaani;
6 kutianga abaana ba Manase abawala baalya obusika mu baana be ab'obulenai: n'ensi ya Gireyaadi abaana abalala aba Manase ne bagirya.
7 N'ensalo ya Manase yava mu Aseri n'etuuka ku Mikumesasi, Sekemu gye kiraba; ensalo n'eyita ku mukono ogwa ddyo, n'etuuka ku abo abaali mu Entappua.
8 Ensi ya Tappua Manase n'agirya: naye Tappua (ekyali) mu nsalo ya Manase abaana ba Efulayimu ne bakirya.
9 Ensalo n'ekka n'etuuka ku mugga Kana, ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo olw'omugga: ebibuga ebyo Efulayimu n'abirya mu bibuga bya Manase: n'ensalo ya Manase yali ku luuyi olw'obukiika obwa kkono olw'omugga, n'enkomerero zaayo zaali ku nnyanja:
10 oluuyi olw'obukiika obwa ddyo Efulayimu n'alulya, n'oluuyi olw'obukiika obwa kkono Manase n'alulya, n'ennyanja yali nsalo ye; ne batuuka ku Aseri ku luuyi olw'obukiika obwa kkono, ne ku Isakaali ku luuyi olw'ebuvanjuba.
11 Manase n'alya mu (nsi) ya Isakaali n'eya Aseri, Besuseani 'n'ebibuga byakyo, ne Ibuleamu n'ebibuga byakyo, n'abali mu Doli n'ebibuga byakyo, n'abali mu Endoli n'ebibuga byakyo, n'abali mu Taanaki n'ebibuga byakyo, n'abali mu Megiddo n'ebibuga byakyo, ze nsozi essatu.
12 Naye abaana ba Manase ne batayinza kugobamu (abaali mu) bibuga ebyo; naye Abakanani ne baagala okubeera mu nsi eyo.
13 Awo, abaana ba Isiiraeri bwe baafuna amaanyi, ne bakoza Abakanani emirimu emiragire, ne batabagobera ddala.
14 Abaana ba Yiisufu ne bagamba Yoswa, nga boogera nti Kiki ekikumpeesezza akalulu akamu kokka n'ekitundu ekimu okuba obusika, kuba ndi ggwanga ddene, kuba okutuuka leero Mukama yampanga omukisa?
15 Yoswa n'abagamba nti Oba oli ggwanga ddene, golokoka ogende mu kibira, weesaayire omwo mu nsi ey'Abaperizi n'ey'Abalefa; kubanga ensi ey'ensozi ya Efulayimu ekufunza.
16 Abaana ba Yusufu ne boogera nti Ensi ey'ensozi tetumala: n'Abakanani bonna abali mu nsi ey'ekiwonvu balina amagaali ag'ebyuma, abo abali mu Besuseani n'ebibuga byakyo era n'abo abali mu kiwonvu eky'e Yezureeri.
17 Yoswa n'agamba ennyumba ya Yusufu, ye Efulayimu ne Manase, ng'ayogera nti Oli ggwanga ddene, era olina n'amaanyi mangi: toliba na kalulu kamu kokka:
18 naye ensi ey'ensozi eribeera yiyo; kuba newakubadde nga kibira, olikisaawa, n'amakubo agavaamu galiba gago: kubanga Abakanani olibagobamu, newakubadde nga balina amagaali ag'ebyuma, era newakubadde nga ba maanyi.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]