1 Yoswa n'akeera enkya n'agolokoka; ne bava mu Sittimu, ne batuuka ku Yoludaani, ye n'abaana ba Isiraeri bonna; ne basulawo nga tebannasomoka.
2 Awo ennaku ssatu bwe zaayita abaami ne bayita wakati mu lusiisira;
3 ne balagira abantu, nga boogera nti Bwe munaalaba essanduuko ey'endagaano ya Mukama Katonda wammwe; ne bakabona Abaleevi nga bagyetisse, ne mulyoka muva mu kifo kyammwe, ne mugigoberera.
4 Naye wanaabaawo ebbanga wakati wammwe nayo; ng'emikono enkumi bbiri gigerebwa: temugisemberera, muyoke mumanye ekkubo eribagwanidde okuyitamu; kubanga okuuuka kaakano temunnayita mu kkubo lino.
5 Yoswa n'agamba abantu nti Mwetukuze kubanga enkya Mukama anaakola eby'amagero mu mmwe.
6 Yoswa n'agamba bakabona, ng'ayogera nti musitule essanduuko ey'endagaano, nusomoke mukulembere abantu. Ne basitula essanduuko ey'endagaano n'ebakulembera abantu.
7 Mukama n'agamba Yoswa nti Leero naatanula okukugulumiza mu maaso ga Baisiraeri bonna, bamanye nti, nga bwe nnali ne Musa, bwe ntyo bwe nnaabeeranga naawe.
8 Era onoolagira bakabona abasitula essanduuko ey'endagaano, ng'oyogera nti Bwe munaatuuka ku mabbali g'amazzi aga Yoludaani, munaayimirira mu Yoludaani.
9 Yoswa n'agamba abaana ba Isiraeri nti Mujje wano, muwulire ebigambo bya Mukama Katonda wammwe.
10 Yoswa n'ayogera nti Ku kino kwe munaamanyira nga Katonda omulamu ali mu mmwe, era nga talirema kugoba mu maaso gammwe Abakanani, n'Abakiiti, n'Abakiivi, n'Abaperizi, n'Abagirugaasi, n'Abamoli, n'Abayebusi.
11 Laba, essanduuko ey'endagaano ya Mukama w'ensi zonna, ebakulembera okusomoka Yoludaani.
12 Kale kaakano mwerondere abasajja kkumi na babiri mu bika bya Isiraeri, buli kika omu.
13 Owo, ebigere bya bakabona: abasitula essanduuko ya Mukama, Mukama w'ensi zonna bwe biribeera mu mazzi ga Yoludaani, amazzi ga Yoludaani ne galyoka gaggwaawo, ge mazzi agava engulu; ne gayimirira entuumu wamu.
14 Awo, abantu bwe baava mu weema zaabwe, okusomoka Yoludaani, bakabona abaasitula essanduuko ey'endagaano nga bakutembedde abantu;
15 era abaasitula essanduuko bwe baatuuka ku Yoludaani, ebigere bya bakabona abaasitula essanduuko ne byennyika ku mabbali g'amazzi (kubanga Yoludaani gwanjaala ku ttale lyagwo lyonna mu biro byonna eby'amakungula,)
16 amazzi agaava engulu ne galyoka gayimirira ne geekuma entuumu wamu, wala nnyo, ku Adamu, ekibuga ekiriraanye e Zalesani: n'ago agakka ku nnyanja eye Alaba, ye nnyanja ey'omunnyo, ne gaggweerawo ddala: abantu ne basomokera awaliraanye e Yeriko.
17 Bakabona abaasitula essanduuko ey'endagaano ya Mukama ne bayimirira ne banywera ku lukalu wakati mu Yoludaani, n'Abaisiraeri bonaa ne bayita awakalu, okutuusa eggwanga lyonna lwe lyayitira ddala mu Yoludaani.