Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Yoswa Joshua

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24
1 Awo bakabaka bonna ab'Abamoli, abaali emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebugwanjuba; ne bakabona ab'Abakanani, abaali ku nnyanja, bwe baawulira Mukama bwe yakaliza amazzi ga Yoludaani mu maaso g'abaana ba Isiraeri, okutuuka bwe twamala okusomoka, omutima gwabwe ne gusaanuuka, so nga tewakyali alina omwoyo mu bo; olw'abaana ba Isiraeri.
2 Mu biro ebyo Mukama n'agamba Yoswa nti Weekolere obwambe obw'amayinja, okomole nate abaana ba Isiraeri omulundi ogw'okubiri.
3 Yoswa ne yeekolera obwambe obw'amayinja, n'akomolera abaana ba Isiraeri ku lusozi olw'ebikuta.
4 Era eno ye nsonga eyabakomoza Yoswa: abasajja bonna abaava mu Misiri, abalwanyi bonna, ne bafiira mu ddungu mu kkubo, bwe baamala okuva mu Misiri:
5 Kubanga abantu bonna abaavaayo ne bakomolwa: naye abantu bonna abaazaalirwa mu ddungu mu kkubo nga bava mu Misiri nga tebakomo lwanga.
6 Kubanga abaana ba Isiraeri baatambulira emyaka amakumi ana mu ddungu, okutuusa eggwanga lyonna, be balwanyi abaava mu Misiri; lwe lyaggwaawo, kubanga tebaawulira ddoboozi lya Mukama: Mukama be yalayirira obutabaganya kulaba nsi Mukama gye yalayirira bajjajja baabwe okutuwa, ensi ekulukuta amata n'omubisi. gw'enjuki.
7 N'abaana baabwe be yazza mu kifo kyabwe, abo Yoswa be yakomola: kubanga baali si bakomole, kubanga tebaabakomolera mu kkubo:
8 Awo, bwe baamala okukomola eggwanga lyonna, ne babeera mu bifo byabwe mu lusiisira ne bamala okuwona.
9 Mukama n'agamba Yoswa nti Leero njiringisizza ekivume eky'e Misiri okukibaggyako. Erinnya ery'ekifo kiri kyeryava liyitibwa Girugaali ne kaakano.
10 Abaana ba Isiraeri ne basula mu Girugaali; ne balya Okuyitako ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'oinwezi olweggulo mu lusenyi olw'e Yeriko.
11 Okuyitako ng'eweddeko ku lunaku olw'enkya ne balya emmere enkalu ey'omwaka ogwaggwaako, emigaati egitazimbulukuswa ne kasooli omusiike, ku lunaku olwo.
12 N'emmaanu n'eggwaawo enkya, bwe baamala okulya emmere ey'ensi ey'omwaka ogwaggwaako; abaana ba Isiraeri nebataba na mmaanu nate; naye ne balya ku mmere ey'ensi eya Kanani omwaka ogwo.
13 Awo, Yoswa bwe yali ng'asembedde e Yeriko, n'ayimusa amaaso ge n'atunula, era, laba, nga wayimiridde omuntu okumwolekera eyalina ekitala ekisowole mu mukono gwe; Yoswa n'amusemberera, n'amugamba nti Oli ku lwaffe, oba oli ku lwa balabe baffe?
14 N'ayogera nti Nedda; naye omukulu ow'eggye lya Mukama ntuuse kaakano. Yoswa n'amufukaamirira mu maaso ge, n'asinza, n'amugamba nti Mukama wange agamba atya omuddu we?
15 Omukulu ow'eggye lya Mukama n'agamba Yoswa nti Yambula engatto yo mu kigere kyo; kubanga ekifo mw'oyimiridde kitukuvu. Yoswa n'akola bw'atyo.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]