Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Yoswa Joshua

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24
1 Naye abaana ba Isiraeri ne bauga Akani, omwana wa Kalumi, omwana wa Zabudi, omwana wa Zeera, ow'ekika kya Yuda, n'atwala ku biterekeddwa: obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku baana ba Isiraeri.
2 Yoswa n'atuma abantu okuva mu Yeriko okugenda e Ayi ekiriraanye Besaveni, ku luuyi olw'ebuvanjuba olwa Beseri, n'abagamba nti Mulinnye mukette ensi. Abantu, ne balinnya, ne baketta Ayi.
3 Ne bakomawo eri Yoswa, ne bamugamba nti Abantu bonna tebagendayo; naye abantu ng'enkumi bbiri oba ssatu balinnye bakube Ayi; toteganya abantu bonna okugendayo; kubanga abaayo batono.
4 Awo ne balinnyayo ku bantu abasajja ag'enkumi ssatu; ne badduka mu maaso g'ab'e Ayi.
5 N'ab'e Ayi ne bakuba mu bo abantu ng'amakumi asatu mu mukaaga: ne babagoba okubaggya ku wankaaki okubatuusa ku Sebalimu, ne babakubira awaserengeterwa: emitima, gy'abantu ne gisaanuuka, ne giba ng'amazzi.
6 Yoswa n'ayuza engoye ze, n'agwa ne yeevuunika awali essanduuko ya Mukama n'atuusa olweggulo, ye n’abakadde ba Isiraeri; ne beesiiga enfuufu ku mitwe gyabwe:
7 Yoswa n'ayogera nti Woowe, ai Mukama Katonda, okusomosa kiki ekyakusomosa abantu bano Yoludaani, okutuwaayo mu mikono egy'Abamoli, okutuzikiriza? singa twakkiriza okutuula emitala wa Yoludaani
8 Ai Mukama, naayogera ntya, Abaisiraeri bwe bamaze okubakuba amabega abalabe baabwe?
9 Kubanga Abakanani n'abali mu nsi boana baliwulira, balituzingiza baliggya erinnya lyaffe ku nsi: naawe olirokola otya.erinnya lyo ekkulu?
10 Mukama n'agamba Yoswa nti Golokoka; kiki ekikugwisizza bw'otyo okwevuunika?
11 Abaisiraeri hoonoonye; era bamenye endagaano yange gye nnabalagira; era n'okutwala batutte ku biterekeddwa; era babbye, era bakusizza, era babiyingizizza mu bintu byabwe.
12 Ekyo kye kibalobera abaana ba Isiraeri okuyimirira mu maaso g'abalabe baabwe, ne bakuba amabega abalabe baabwe, kubanga bafuuse abakolimiddwa, sijja kuddayo kubeera nammwe wabula nga muzikirizza ekyo kye mugugubiddeko.
13 Mukale, mutukuze abantu, mwogere nti Mwetukulize olunaku olw'enkya: kubanga Mukama, Katonda wa Isiraeri, bw'ayogera bw'ati nti Waliwo ekiterekeddwa wakati mu ggwe; Isiraeri: toyinza kuyimirira mu maaso g'abalabe bo; nga temunnakiggyawo ekiterekeddwa mu mmwe.
14 Kale enkya munaasemberezebwa mu bika byammwe: awo, ekika Mukama ky'anaalondamu kinaasembera ng'enda zaakyo bwe ziri; n'enda Mukama gy'anaalondamu eneesembera mu nnyumba zaayo; n'ennyumba Mukama gy'anaalondamu eneesembera buli muntu buli muntu
15 Awo olunaatuuka anaalondebwa ng'alina ekiterekeddwa anaayokebwa omuliro, ne by'alina byonna; kubanga amenye endagaano ya Mukama, era kubanga akoze obusirusiru mu Isiraeri.
16 Awo Yoswa n'akeera enkya, n'agolokoka, n'asembeza Isiraeri ng'ebika byabwe bwe byali; n'ekika kya Yuda ne kirondebwa:
17 n'asembeza enda ya Yuda; n'alonda enda eya Bazera: n’asembeza enda eya Bazera buli muntu buli muntu; Zabudi n'alondebwa:
18 n'asembeza ennyumba ye buli muntu buli mnntu; Akani; omwana wa Kalumi, omwana wa Zabudi, omwana wa Zeera, ow'ekika kya Yuda, n'alondebwa.
19 Yoswa n’agamba Akani nti Mwana wange, nkwegayiridde, omuwe ekitiibwa Mukama, Katonda wa Isiraeri; omwatulire; era oŋŋambe kaakano ky'okoze; tokinkisa.
20 Akani n'addamu Yoswa n'ayogera nti Mazima nnyonoonye eri Mukama, Katonda wa Isiraeri, ne nkola bwe nti ne bwe nti
21 bwe nnalaba mu munyago ekyambalo ekirungi ekya Sinaali, n'esekeri ez'effeeza ebikumi bibiri, n'olulimi olwa zaabu ekigero kyalwo esekeri amakumi ataano, ne ndyoka mbiyaayaanira, ne mbitwala; era, laba, bikwekeddwa mu ttaka wakati mu weema yange, ne ffeeza wansi waakyo:
22 Awo Yoswa n'atuma ababaka, ne bagenda mbiro mu weema ye; era, laba; nga kikwekeddwa mu weema ye, n'effeeza wansi waakyo.
23 Nabo ne babiggya wakati mu weema; ne babireetera Yoswa n'abaana ba Isiraeri bonna; ne babissa wansi mu maaso ga Mukama.
24 Ne Yoswa; n'Abaisiraeri bonna awamu naye; ne batwala Akani, omwana wa Zeera, n'effeeza, ne ekyambalo, n'olulimu olwa zaabu; n'abaana be ab'obulenzi n'ab'obuwala, n'ente ze, n'endogoyi ze; n'endiga ze, n'eweema ye ne byonna bye yalina: ne babalinnyisa mu kiwonvu Akoli:
25 Yoswa n'ayogela nti Kiki ekyakutweraliikirizisa? Mukama anaakweraliikiiiza ggwe leero, Abaisiraeri bonna ne bamukuba amayinja; ne babookya omuliro, ne babakuba amayinja.
26 Ne bamutuumako entuumu ennene ey’amayinja ne kaakano; Mukama n'akyuka okuleka obusungu bwe obukabwe. Erinnya ery'ekiwonvu kiri kyeryava liyitibwa ekiwonvu Akoli, ne leero.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]