1 N'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne bakuŋŋaanira mu Siiro, ne basimba eyo eweema ey'okusisinkanirangamu: ensi n'ejeemulukuka mu maaso gaabwe.
2 Era waasigalawo mu baana ba Isiraeri ebika musanvu, ebitannagabana busika bwabyo.
3 Yoswa n'agamba abaana ba Isiraeri nti Mulituusa wa okugayaala okuyingira okulya ensi, Mukama Katonda wa bajjajjammwe gye yabawa?
4 Mwerondere abantu basaru buli kika: nange ndibatuma, nabo baligolokoka ne batambula mu nsi yonaa, ne bagiwandiika bw'efaanana ng'obusika bwabwe bwe buli; ne balyoka bajja gye ndi.
5 Era baligigaba ebitundu musanvu; Yuda alibeera mu nsalo ye ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo, n'ennyumba ya Yusufu eribeera mu nsalo yaabwe ku luuyi olw'obukiika obwa kkono.
6 Era muliwandiika ensi mu bitundu musanvu, ne muleeta gye ndi (bye muwandiise): nange ndibakubira obululu wano mu maaso ga Mukama Katonda waffe.
7 Kubanga Abaleevi tebalina mugabo mu mmwe; kubanga obwakabona bwa Mukama bwe busika bwabwe: ne Gaadi ne Lewubeeni n'ekitundu eky'ekika kya Manase baamala okuweebwa obusika bwabwe emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba, Musa omuweereza wa Mukama bwe yabawa.
8 Abantu ne bagolokoka ne bagenda: Yoswa n'alagira abo abaagenda okuwandiika ensi, ng'ayogera nti Mugende mutambule mu nsi yonna, mugiwandiike, mukomewo gye ndi, aange ndibakubira obululu wano mu maaso ga Mukama mu Siiro:
9 Abantu ne bagenda ne bayita mu nsi, lie bagiwandiika buli kibuga mu bitundu musanvu mu kitabo, ne bajja eri Yoswa mu lusiisira mu Siiro.
10 Yoswa n'abakubira obululu mu Siiro mu maaso ga Mukama: Yoswa n'abagabira eyo ensi abaana ba Isiraeri ng'emigabo gyabwe bwe gyali.
11 Akalulu ak'ekika eky'abaana ba Benyanini ne kajja ng'enda zaabwe bwe, zaali; n'ensalo ey'akalulu kaabwe ne kasookera wakati mu baana ba Yuda n'abaana ba Yusufu.
12 N'ensalo yaabwe ey'obukiika obwa kkono yava ku Yoludaani: ensalo n'erinnya ku muyegooyego ogw'e Yeriko ku luuyi oiw'obukiika obwa kkono, n'erinnya mu nsi ey'ensozi ku luuyi olw'ebugwanjuba; n'enkomerero zaayo zaali ku lukoola olw'e Besaveni.
13 Ensalo n'eva eyo n'eyita n'etuuka ku Luzi, ku muyegooyego ogw'e Luzi (ye Beseri), ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo; ensalo n'ekka ku Atalosuaddali kumpi n'olusozi oluli ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo olw'e Besukolooni eky'emmanga.
14 Ensalo n'ereetebwa ne yeetooloola ku luuyi olw'ebugwanjuba (n'egenda) obukiika obwa ddyo ng'eva ku lusozi Besukolooni gye kiraba obukiika obwa ddyo; n'enkomerero zaayo zaali ku Kiriasubaali (ye Kiriyasuyalimu), ekibuga eky'abaana ba Yuda olwo luuyi olw'ebugwanjuba.
15 N'oluuyi olw'obukiika obwa ddyo lwava Kiriyasuyalimu gye kikoma, ensalo n'ebuna ebugavanjuba, n'ebuna oluzzi olw'amazzi ga Nefutoa:
16 ensalo n'ekka olusozi gye lusimba oluliraanye ekiwonvu eky'omwana wa Kinomu, ekyali mu kiwonvu kya Lefa ku luuyi olw'obukiika obwa kkono; n'ekka mu kiwonvu kya Kinomu, ku bbalama ery'omu Yebusi ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo, n'ekka ku Enerogeri;
17 n'ereetebwa ku bukiika obwa kkono, n'ekoma mu Ensemesi, n'ebuna Gerirosi, ekiri emitala w'ekkubo eririnnya okugenda Adummimu; n'eyita n'etuuka ku jjinja lya Bokani omwana wa Lewubeeni;
18 n'eyita ku bbali okwolekera Alaba ku luuyi olw'obukiika obwa kkono, n'ekka mu Alaba:
19 ensalo n'eyita n'etuuka ku mabbali ag'e Besukogula ku luuyi olw'obukiika obwa- kkono : n'enkomerero z'ensalo zaali ku kikono eky'obukiika obwa kkono eky'ennyanja ey'omunnyo, Yoludaani we gnfukira: eyo ye nsalo ey'obukiika obwa ddyo.
20 Ne Yoludaani gwali nsalo yaayo ku luuyi olw'ebuvanjuba. Obwo bwe bwali obusika obw'abaana ba Benyamini, mu nsalo zaabwo ezeetoolodde ng'enda zaabwe bwe zaali.
21 Era ebibuga eby'ekika eky'abaana ba Benyamini ag'enda zaabwe bwe zaali byali Yeriko, ne Besukogula, ne Emekkezizi;
22 ne Besualaba, ne Zemalaimu, ne Beseri;
23 ne Avvimu; ne Pala, ne Ofula;
24 ne Kefalamoni, ne Ofuni, ne Geba; ebibuga kkumi na bibiri n’ebyalo byabyo;
25 Gibyoni, ne Laama, ne Beerosi;
26 ne Mizupe, ne Kefira, ne Moza;
27 ne Lekemu, ne Irupeeri, ne Talala;
28 ne Zeera, Erefu, n'Omuyebusi (ye Yerusaalemi), Gibeasi, (ne) Kiriasi; ebibuga kkumi na bina n'ebyalo liyabyo. Obwo bwe busika obw'abaana ba Benyamini ng'enda zaabwe bwe zaali.