1 Awo olunaku lwali lumu Yonasaani mutabani wa Sawulo n'agamba omulenzi eyatwalanga ebyokulwanyisa bye, nti Jjangu tusomoke tugende eri ekigo eky'Abafirisuuti ekiri emitala w'eri. Naye n'atabuulira kitaawe.
2 Sawulo n'abeera mu kitundu eky'e Gibea eky'enkomerero munda w'omukomamawanga oguli e Miguloni: n'abantu abaali naye baali abasajja nga lukaaga;
3 ne Akiya, mutabani wa Akitubu, muganda wa Ikabodi, mutabani wa Finekaasi, mutabani wa Eri, kabona wa Mukama mu Siiro, ng'ayambadde ekkanzu. Abantu ne batamanya nga Yonasaani agenze.
4 Awo wakati awayitibwa Yonasaani we yali ayagala okufuluma okutuuka mu kigo eky'Abafirisuuti, waaliwo ejjinja essongovu eruuyi n'ejjinja essongovu eruuyi: n'erimu erinnya lyalyo Bozezi, n'eddala erinnya lyalyo Sene.
5 Ejjinja erimu lyali liyimiridde ku luuyi olw'obukiika obwa kkono okwolekera Mikumasi, n'eddala ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo okwolekera Gibea.
6 Awo Yonasaani n'agamba omulenzi eyatwalanga ebyokulwanyisa bye nti Jjangu tusomoke tugende eri ekigo eky'abatali bakomole bano: mpozzi Mukama anaatukolera omulimu: kubanga Mukama tewali kimuziyiza okulokola n'abangi oba n'abatono.
7 Eyatwalanga ebyokuIwanyisa bye n'amugmaba nti Kola byonna ebiri mu mutima gwo; kyuka, laba, nze ndi wamu naawe ng'omutima gwo bwe guli.
8 Awo Yonasaani n'ayogera nti Laba, tunaasomoka ne tugenda eri abasajja ne tweyerula gye bali.
9 Bwe banaatugamba nti Mubeere eyo okutuusa bwe tunajja gye muli; awo tunaayimirira buyimirizi mu kifo kyaffe ne tutayambuka gye bali.
10 Naye bwe banaayogera nti Mujje gye tuli; awo tunaayambuka: kubanga Mukama abagabudde mu mukono gwaffe: era ako ke kanaabeera akabonero gye tuli.
11 Awo bombi ne beeyerula eri ekigo eky'Abafirisuuti: Abafirisuuti ne boogera nti Laba, Abaebbulaniya bafuluma mu bunnya mwe baali beekwese.
12 Abasajja ab'omu kigo ne baddamu Yonasaani n'oyo eyatwalanga ebyokulwanyisa bye ne boogera nti Mwambuke gye tuli tubalage ekigambo. Awo Yonasaani n'agamba eyatwalanga ebyokulwanyisa bye nti Yambuka ongoberere: kubanga Mukama abagabudde mu mukono gwa Isiraeri.
13 Awo Yonasaani n'alinnya ng'ayavula n'engalo n'ebigere n'eyatwalanga ebyokulwanyisa bye ng'amugoberera: ne bagwa mu maaso ga Yonasaani; n'eyatwalanga ebyokulwanyisa bye n'abatta ng'amuvaako nnyuma.
14 Era olutta olwo olw'olubereberye Yonasaani n'eyatwalanga ebyokulwanyisa bye lwe batta lwali lwa basajja ng'amakumi abiri, n'ebbanga lyali nga kitundu kya lubimbi mu musiri gw'ettaka.
15 Ne wabaawo okukankana mu lusiisira ne mu nnimiro ne mu bantu bonna; ab'omu kigo n'abakwekwesi ne bakankana nabo: ensi n’ekankana awo ne wabaawo okukankana okunene enyo.
16 N'abakuumi ba Sawulo abaali e Gibea ekya Benyamini ne batunula; awo, laba, ekibiina ne kisereba, ne bagenda eruuyi n'eruuyi.
17 Awo Sawulo n'agamba abantu abaali naye nti Mubale kaakano, mulabe bw'ali atuvuddemu. Awo bwe baabala, laba, Yonasaani n'eyatwalanga ebyokulwaayisa bye nga tebaliiwo.
18 Sawulo n'agamba Akiya nti Leeta eno ssanduuko ya Katonda. Kubanga essanduuko ya Katonda yali eyo mu biro ebyo wamu n'abaana ba Isiraeri.
19 Awo olwatuuka, Sawulo ng'ayogera ne kabona, oluyoogaano olwali mu lusiisira olw'Abafirisuuti ne lubaawo ne lweyongera: Sawulo n'agamba kabona nti Zzaayo omukono gwo.
20 Awo Sawulo n'abantu bonna abaali naye ne bakuŋŋaana ne bajja okulwana: awo laba, ekitala kya buli muntu ne kirwana ne munne ne waba okukeŋŋentererwa okunene ennyo.
21 Awo Abaebbulaniya abaali n'Abafirisuuti ng'edda, abaayambuka nabo mu lusiisira okuva mu nsi eyeetooloola; era nabo ne bakyuka okuba n'Abaisiraeri abaali ne Sawulo ne Yonasaani.
22 Era bwe batyo n'abasajja bonna aba Isiraeri abaali beekwese mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, bwe baawulira Abafirisuuti nga badduse, era nabo ne babagobererera ddala mu lutalo.
23 Awo Mukama n'alokola bw'atyo Isiraeri ku lunaku olwo: olutalo ne luggukira e Besaveni.
24 Abantu ba Isiraeri ne balaba ennaku ku lunaku olwo: naye Sawulo n'alayiza abantu ng'ayogera nti Omuntu akolimirwe anaalya ku mmere yonna okutuusa akawungeezi, nange nga mmaze okuwalana eggwanga ku balabe bange: Awo abantu ne batalega ku mmere n'omu.
25 Abantu bonna ne batuuka mu kibira; era waaliwo omubisi gw'enjuki wansi.
26 Awo abantu bwe baali batuuse mu kibira, laba, omubisi gw'enjuki nga gutonnya: naye ne wataba muntu eyateeka engalo ze ku mumwa; kubanga abantu baatya ekirayiro.
27 Naye Yonasaani teyawulira kitaawe bwe yalayiza abantu ekirayiro: kyeyava agolola omusa gw'omuggo ogwali mu mukono gwe, n'agunnyika mu bisenge by'enjuki, n’ateeka engalo ze ku mumwa; amaaso ge ne galaba bulungi.
28 Awo omu ku bantu n'addamu n'ayogera nti Kitaawo yakuutira abantu ng'abalayiza ekirayiro ng'ayogera nti Akolimirwe omuntu anaalya ku mmere leero. Abantu ne bayongobera.
29 Awo Yonasaani n'ayogera nti Kitange anakuwazizza ensi: laba, nkwegayiridde, amaaso gange bwe galabye obulungi, kubanga ndezeeko katono ku mubisi guno ogw'enjuki.
30 Tebandisinze nnyo abantu singa balidde leero ku munyago ogw'abalabe baabwe gwe balabye ne bakkuta? kubanga kaakano tewabadde lutta lunene mu Bafirisuuti.
31 Ne batta ku Bafirisuuti ku lunaku olwo okuva e Mikumasi okutuuka ku Ayalooni: abantu ne bayongobera nnyo.
32 Awo abantu ne bagwa ku munyago, ne banyaga endiga n'ente n'ennyana ne bazittira awo: abantu ne bazirya awamu n'omusaayi.
33 Awo ne bamubuulira Sawulo nga boogera nti Laba, abantu basobya ku Mukama kubanga balya wamu n'omusaayi. N'ayogera nti Mukuusizza: munjiringisize ejjinja eddene leero.
34 Sawulo n'ayogera nti Musaasaane mu bantu, mubagambe nti Mundeetere wano buli muntu ente ye na buli muntu endiga ye, muzittire wano mulye: so temusobya ku Mukama nga mulya omusaayi. Abantu bonna ne baleeta buli muntu ente ye wamu naye ekiro ekyo ne bazittira eyo.
35 Sawulo n'azimbira Mukama ekyoto: ekyo kye kyali ekyoto eky'olubereberye kye yazimbira Mukama.
36 Awo Sawulo n'ayogera nti Tuserengete tugoberere Abafirisuuti ekiro, tubanyage okutuusa emmambya lw'eneesala, tuleme okusigaza omuntu ku bo. Ne boogera nti Kola kyonna kyonna ky'osiima. Awo kabona n'ayogera nti Tusemberere Katonda wano.
37 Sawulo n'abuuza Katonda amagezi nti Nserengete okugoberera Abafirisuuti? onoobagabula mu mukono gwa Isiraeri? Naye n'atamuddamu ku lunaku olwo.
38 Sawulo n'ayogera nti Musembere wano, mmwe mwenna abakulu b'abantu: mutegeere mulabe ekibi kino mwe kibadde leero.
39 Kubanga Mukama alokola Isiraeri nga bw'ali omulamu, newakubadde nga kibadde mu Yonasaani mutabani wange, taaleme kufa. Naye ne wataba muntu n'omu mu bantu bonna eyamuddamu.
40 Awo n'agamba Isiraeri yenna nti Mmwe mubeere ku luuyi lumu, nange ne Yonasaani mutabani wange tunaaba ku luuyi olulala. Abantu ne bagamba Sawulo nti Kola nga bw'osiima.
41 Sawulo kyeyava agamba Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Laga eby'ensonga. Awo akalulu ne kabagwako Sawulo ne Yonasaani; naye abantu ne bawona.
42 Sawulo n'ayogera nti Mukubire nze ne Yonasaani mutabani wange. Ne kamugwako Yonasaani.
43 Awo Sawulo n'agamba Yonasaani nti Mbuulira by'okoze. Yonasaani n'amubuulira n'ayogera nti Okulega naleze ku tubisi tw'enjuki n'omusa gw'omuggo ogubadde mu mukono gwange; kale, laba, kiŋŋwanidde okufa.
44 Sawulo n'ayogera nti Katonda akole bw'atyo n'okukirawo: kubanga tooleme kufa, Yonasaani.
45 Abantu ne bagamba Sawulo nti Yonasaani anaafa akoze obulokozi buno obukulu mu Isiraeri? Kiddire eri: nga Mukama bw'ali omulamu, tewaliba ku nviiri ze na lumu olunaagwa wansi: kubanga akoledde wamu ne Katonda leero. Awo abantu ne banunula bwe batyo Yonasaani, n'atafa.
46 Awo Sawulo n'aleka okugoberera Abafirisuuti n'ayambuka: Abafirisuuti ne baddayo ewaabwe.
47 Awo Sawulo bwe yamala okulya obwakabaka bwa Isiraeri, n'alwana n'abalabe be bonna enjuyi zonna, Mowaabu n'abaana ba Amoni ne Edomu ne bakabaka ba Zoba n'Abafirisuuti: awo n'abeeraliikirizanga buli gye yakyukanga yonna.
48 N'akola eby'obuzira n'akuba Abamaleki, n'alokola Isiraeri mu mikono gy'abo abaabanyaganga.
49 Ne batabani ba Sawulo baali Yonasaani ne Isuvi ne Malukisuwa: n'amannya ga bawala be ababiri gaagano; omubereberye eritmya lye Merabu, n'omuto erinnya lye Mikali:
50 ne mukazi wa Sawulo erinnya lye yali Akinoamu omwana wa Akimaazi: n'omukulu w'eggye lye erinnya lye yali Abuneeri mutabani wa Neeri muganda wa kitaawe wa Sawulo.
51 Ne Kiisi yali kitaawe wa Sawulo; ne Neeri kitaawe wa Abuneeri yali mutabani wa Abiyeeri.
52 Awo ne balwana nnyo nnyini n'Abafirisuuti ennaku zonna eza Sawulo: awo Sawulo bwe yalabanga omuntu yenna ow'amaanyi oba omuzira yenna, n'amwesenzezanga.