1 Awo ab'e Zifu ne bajja eri Sawulo e Gibeya nga boogera nti Dawudi teyeekweka ku lusozi Kakira olwolekera eddungu?
2 Awo Sawulo n'agolokoka n'aserengeta n'agenda mu ddungu ery'e Zifu, ng'alina abasajja abalonde aba Isiraeri enkumi ssatu wamu naye, okunoonya Dawudi mu ddungu ery'e Zifu.
3 Sawulo n'asiisira ku lusozi Kakira, olwolekera eddungu, mu kkubo. Naye Dawudi n'abeera mu ddungu n'alaba nga Sawulo atuuse mu ddungu ng'amugoberera.
4 Dawudi kyeyava atuma abakessi n'ategeera nga Sawulo atuukidde ddala:
5 Dawudi n'agolokoka n'ajja mu kifo Sawulo we yali asiisidde: Dawudi n'alaba ekifo Sawulo we yagalamira, ne Abuneeri mutabani wa Neeri, omukulu w'eggye lye: era Sawulo yali agalamidde munda w'ekifo eky'amagaali, abantu ne basiisira okumwetooloola.
6 Awo Dawudi n'addamu n'agamba Akimereki Omukiiti ne Abisaayi mutabani wa Zeruyiya, muganda wa Yowaabu, ng'ayogera nti Ani anaaserengeta nange n'agenda eri Sawulo mu lusiisira? Abisaayi n'ayogera nti Nze naaserengeta naawe.
7 Awo Dawudi ne Abisaayi ne bajja eri abantu ekiro: awo, laba, Sawulo ng'agalamidde nga yeebase munda w'ekifo eky'amagaali, effumu lye nga lisimbiddwa mu ttaka ku mutwe gwe: ne Abuneeri n'abantu nga bagalamidde okumwetooloola.
8 Awo Abisaayi n'agamba Dawudi nti Katonda agabulidde ddala omulabe wo mu mukono gwo leero: kale nno, nkwegayiridde, mmufumite n'effumu okukwasa n'ettaka omulundi gumu so siimufumite gwa kubiri.
9 Dawudi n'agamba Abisaayi nti Tomuzikiriza: kubanga ani ayinza okugolola omukono gwe ku loyo Mukama gwe yafukako amafuta n'aba nga taliiko musango?
10 Dawudi n'ayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu Mukama ye alimutta oba olunaku lwe lulituuka okufa; oba aliserengeta mu lutalo nsazikirira.
11 Mukama akiddize eri nze okugolola omukono gwange ku oyo Mukama gwe yafukako amafuta: naye nno twala, nkwegayiridde, effumu eriri ku mutwe gwe n'ensumbi y'amazzi tugende.
12 Awo Dawudi n'atwala effumu n'ensumbi y'amazzi ng'abiggya ku mutwe gwa Sawulo; ne beddirayo so nga tewali muntu akirabye newakubadde akimanyi, so nga tewali azuukuse: kubanga bonna nga beebase; kubanga otulo tungi otwava eri Mukama twali tubaguddeko.
13 Awo Dawudi n'agenda emitala w'eri, n'ayimirira wala ku ntikko y'olusozi; nga yeesuddeko nabo ebbanga ddene:
14 Dawudi n'alangiriza abantu ne Abuneeri mutabani wa Neeri ng'ayogera nti Toddamu, Abuneeri? Awo Abuneeri n'addamu n’ayogera nti Ggwe ani akoowoola kabaka?
15 Dawudi n'agamba Abuneeri nti Toli muzira? era ani akwenkana mu Isiraeri? kale kiki ekikulobedde okukuuma mukama wo kabaka? kubanga muyingidde omu ku bantu okuzikiriza kabaka mukama wo.
16 Ekigambo kino ky'okoze si kirungi. Nga Mukama bw'ali omulamu, musaanidde okufa, kubanga temukuumye mukama wammwe, Mukama gwe yafukako amafuta. Era nno mulabe effumu lya kabaka gye liri n'ensumbi y'amazzi ebadde ku kigugu kye eky'emitwetwe.
17 Sawulo n'amanya eddoboozi lya Dawudi n'ayogera nti Lino lye ddoboozi lyo, mwana wange Dawudi? Dawudi n'ayogera nti Lye ddoboozi lyange, mukama wange; ai kabaka.
18 N'ayogera nti Mukama wange ayigganyiza ki omuddu we? kubanga nkoze ki? oba kibi ki ekiri mu mukono gwange?
19 Kale nno, nkwegayiridde, mukama wange kabaka awulire ebigambo by'omuddu we. Mukama oba nga ye yaku mpeerera, akkirize ekiweebwayo: naye oba nga be baana b'abantu, bakolimirwe mu maaso ga Mukama; kubanga bangobye leero nneme okwegatta n'obusika bwa Mukama nga boogera nti Genda oweereze bakatonda abalala.
20 Kale nno omusaayi gwange guleme okutonnya wansi Mukama gy'atabeera: kubanga kabaka wa Isiraeri atabadde oknnoonya enkukunyi, ng'omuntu bw'ayiggira enkwale ku nsozi:
21 Awo Sawulo n'ayogera nti Nnyonoonye: komawo, mwana wange Dawudi: kubanga siryeyongera kukukola kabi nate, kubanga obulamu bwange bubadde bwa muwendo mungi mu maaso go leero: laba, nasiruwala ne nkyama nnyo nnyini.
22 Dawudi n'addamu n'ayogera nti Laba effumu, ai kabaka! kale omu ku balenzi ajje aliddukire.
23 Era Mukama alisasula buli muntu obutuukirivu bwe n'obwesigwa bwe: kubanga Mukama akugabudde mu mukono gwange leero, ne ssikkiriza kugolola mukono gwange ku oyo Mukama gwe yafukako amafuta.
24 Era, laba, ng'obulamu bwo bwe bubadde obw'omuwendo omungi mu maaso gange leero, obulamu bwange bubeere bwa muwendo mungi mu maaso ga Mukama, andakole mu kulaba ennaku kwonna.
25 Awo Sawulo n'agamba Dawudi nti Oweebwe omukisa, mwana waage Dawudi: olikola eby'amaanyi era tolirema kuwangula. Awo Dawudi n'agenda, Sawulo n'addayo mu kifo kye.