Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

1 Samwiri 1 Samuel

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31
1 Awo Dawudi n'atuuka e Nobu eri Akimereki kabona: Akimereki n'ajja okusisinkana Dawudi ng'akankana n'amugamba nti Obeeredde ki omu, so tewali muntu naawe?
2 Dawudi n'agamba Akimereki kabona nti Kabaka yantuma omulimu n'aŋŋamba ati Tewaba muntu anaamanya ekigambo kyonna eky'omulimu gwe nkutuma newakubadde bye nkulagidde: era n'abalagira abalenzi egindi n'egindi.
3 Kale nno kiki ekiri wansi w'omukono gwo? mpa emigaati etaano mu mukono gwange oba kyonna ekiriwo.
4 Awo kabona n'addamu Dawudi n'ayogera nti Tewali mugaati bugaati wansi w'omukono gwange, naye omugaati omutukuvu gwe guliwo; kyokka abalenzi oba nga beekuumye obutakwata ku bakazi.
5 Dawudi n'addamu kabona n'amugamba nti Mazima twaziyizibwa okuba n'abakazi ennaku nga ssatu; bwe nnavaayo, ebintu by'abalenzi byali bitukuvu, newakubadde nga lugendo bugendo; kale leero ebintu byabwe tebirisinga nnyo kuba bitukuvu?
6 Awo kabona n'amuwa emigaati emitukuvu: kubanga teyaliiyo mugaati wabula emigaati egy'okuiaga, egyaggibwanga mu maaso ga Mukama, okussaawo emigaati egibuguma ku lunaku kwe gyaggirwawo.
7 Era omuntu ow'oku baddu ba Sawulo yaliyo ku lunaku olwo, ng'aziyizibwa mu maaso ga Mukama; n'erinnya lye yali Dowegi Omwedomu, omukulu w'abasumba ba Sawulo.
8 Dawudi n'agamba Akimereki nti Era tewali wano ffumu newakubadde ekitala wansi w'omukono gwo? kubanga saaleeta wamu mange kitala kyange newakubadde ebyokulwanyisa byange, kubanga omulimu gwa kabaka gwali gwa kwanguwa.
9 Kabona n'ayogera nti Ekitala kya Goliyaasi Omufirisuuti gwe wattira mu kiwonvu Era, laba, kiri wano nga kizingiddwa mu kiwero ennyuma w'ekkanzu: oba oyagala okutwala ekyo, kitwale; kubanga tewali kirala wano wabula ekyo. Dawudi n'ayogera nti Tewali kikyenkana ekyo; kimpe.
10 Awo Dawudi n'agolokoka n'adduka ku lunaku olwo olw'okutya Sawulo, n'agenda eri Akisi kabaka w'e Gaasi.
11 Abaddu ba Akisi ne bamugamba nti Dawudi oyo si ye kabaka w'ensi? tebaayimbiragana ku ye nga bazina, nga boogera nti Sawulo asse enkumi ze, Ne Dawudi obukumi bwe?
12 Dawudi n'atereka ebigambo ebyo mu mutima gwe, n'atya nnyo Akisi kabaka w'e Gaasi.
13 Awo n'awaanyisa empisa ze mu maaso gaabwe, ne yeeralusalalusa mu mikono gyabwe, n’ayagulayagula ku nzigi eza wankaaki, n'akulukusa amalusu mu birevu bye.
14 Awo Akisi n'alyoka agamba abaddu be nti Abaffe, mulabye omusajja ng'aguddemu eddalu: kale mumuleetedde ki gye ndi?
15 Mbulitidwa abalalu n'okuleeta ne muleeta olusajja luno okulalukira mu maaso gange? olusajja luno lunaayingira mu nnyumba yange?

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]