Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

1 Samwiri 1 Samuel

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31
1 Awo omwana Samwiri n'aweererezanga Mukama mu maaso ga Eri. N'ekigambo kya Mukama kyali kya muwendo mungi mu nnaku ezo; tewaabaagawo kwolesebwa kwa lwatu.
2 Awo olwatuuka mu biro ebyo, Eri ng'agalamidde mu kifo kye, (n’amaaso ge gaali gatanudde okuyimbaala n'atayinza kulaba,)
3 n'ettabaaza ya Katonda nga tennazikira, ne Samwiri ng'agalamidde okwebaka mu yeekaalu ya Mukama omwali ssanduuko ya Katonda;
4 awo Mukama n'ayita Samwiri: n'ayogera nti Nze nzuuno.
5 N'addukana mbiro n'ajja eri Eri n'ayogera nti Nze nzuuno; kubanga ompise. N'ayogera nti Sikuyise; galamira nate. N'agenda, n'agalamira.
6 Mukama n'amuyita nate olw'okubiri nti Samwiri. Samwiri n’agolokoka n'agenda eri Eri n'ayogera nti Nze nzuuno; kubanga ompise. N'addamu nti Sikuyise, mwana wange; galamira nate.
7 Era Samwiri yali tannamanya Mukama, so n'ekigambo kya Mukama kyali tekinnamubikkulirwa.
8 Mukama n'ayita Samwiri nate omulundi ogw'okusatu. N'agolokoka n'agenda eri Eri n'ayogera nti Nze nzuuno; kubanga ompise. Awo Eri n'ategeera nga Mukama ye ayise omwana.
9 Eri kyeyava agamba Samwiri nti Genda ogalamire: awo olunaatuuka, bw'anaaba ng'akuyise, n'oyogera nti Yogera, Mukama wange; kubanga omuddu wo awulira. Awo Samwiri n’agenda n'agalamira mu kifo kye.
10 Mukama n'ajja n'ayimirira n'ayita ng'olulala nti Samwiri, Samwiri. Awo Samwiri n'ayogera nti Yogera; kubanga omuddu wo awulira.
11 Mukama n'agamba Samwiri nti Laba, ndikola ekigambo mu Isiraeri ekiryamiriza amatu gombi aga buli muntu alikiwulira.
12 Ku lunaku olwo adituukiriza ku Eri byonna bye anaakayogera ku nnyumba ye, okuva ku lubereberye okutuusa ku nkomeraro.
13 Kubanga namugamba nga ndisalira ennyumba ye omusango ogw'ennaku zonna, olw'obutali butuukirivu bwe yamanya, kubanga batabani be beereetako ekikolimo, ye n'atabaziyiza.
14 Kyenvudde ndayirira ennyumba ya Eri ng'obutali butuukirivu obw'ennyumba ya Eri tebugenda kulongoosebwa na ssaddaaka newakubadde ebiweebwayo enaaku zonna.
15 Samwiri n'agalamira n'akeesa obudde, n'alyoka aggulawo enzigi z'ennyumba ya Mukama. Samwiri n'atya okubuulira Eri bye yayolesebwa.
16 Awo Eri n'ayita Samwiri n'ayogera nti Samwiri, mwana wange. N'ayogera nti Nze nzuuno.
17 N'ayogera nti Kigambo ki Mukama ky'akugambye? nkwegayiridde, tokinlasa: Katonda akukole bw'atyo n'okukirawo, bw'ononkisa ekigambo kyonna ku ebyo byonna by'akugambye.
18 Awo Samwiri n'amubuulira buli kigambo n'atamukisa kigambo kyonna. N'ayogera nti Ye Mukama: akole nga bw'asiima.
19 Samwiri n'akula, Mukama n'aba naye, n'ataganya bigambo bye kugwa wansi na kimu.
20 Abaisiraeri bonna okuva eri Ddaani okutuuka e Beeruseba ne bamanya nga Samwiri ateekeddwawo okuba nnabbi wa Mukama.
21 Mukama n'alabikira nate mu Siiro: kubanga Mukama yeebikkulira Samwiri mu Siiro n'ekigambo kya Mukama.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]