1 Awo Dawudi n'adduka okuva e Nayosi mu Laama n'ajja n'ayogerera mu maaso ga Yonasaani nti Nkoze ki? buluwa obutali butuukirivu bwange? era kiruwa ekibi kyange mu maaso ga kitaawo n'anoonya obulamu bwange?
2 N'amugamba nti Kiddire eri; tojja kufa: laba, kitange tabaako ky'akola oba kikulu oba kitono ky'atambikkulira: era kitange yandinkwekedde ki ekigambo ekyo? si bwe kiri.
3 N'okulayira Dawudi n'aIayira n'ayogera nti Kitaawo amanyidde ddala nga bwe ŋŋanze mu maaso go; n'ayogera nti Yonasaani tamanyanga kino, aleme okunakuwala: naye mazima nga Mukama bw'ali omulamu, era nga naawe bw'oli omulamu, wakati wange n'okufa wasigadde kata buta.
4 Awo Yonasaani n'alyoka agamba Dawudi nti Buli kintu emmeeme yo ky'eyagala kyonna okukola ndikukolera.
5 Awo Dawudi n'agamba Yonasaani nti Laba, enkya omwezi gunaaboneka, nange sandiremye kutuula ne kabaka ng'alya: naye ka ŋŋende neekweke mu nsiko okutuusa ku lunaku olw'okusatu akawungeezi.
6 Kitaawo bw'anambuuza, n'olyoka oyogera nti Dawudi andaze n'anneegayirira nnyo leero agende mangu e Besirekemu ekyalo kye: kubanga ssaddaaka gy'eri eya buli mwaka ey'ennyumba ye yonna.
7 Awo bw'anaayogera nti Bulungi; omuddu wo anaaba n'emirembe: naye bw'anaasunguwala, kale tegeera ng'ateesezza kabi.
8 Kale kola omuddu wo obulungi: kubanga wayingiza omuddu wo mu ndagaano ya Mukama naawe: naye oba ng'obutali butuukirivu buli mu nze, nzita wekka; kubanga wandindeetedde ki eri kitaawo?
9 Yonasaani n'ayogera nti Kireme okukubaako n'akatono: kubanga mbeera kumanya n'akatono nga kitange ateesezza akabi okukujjako, kale sandikubuulidde?
10 Awo Dawudi n'agamba Yonasaani nti Kitaawo bw'anaaba ng'akuzzeemu n'ebboggo alimbuulira ani?
11 Yonasaani n'agamba Dawudi nti Jjangu tufulume tugende mu nsiko. Ne bafuluma bombi ne bagenda mu nsiko.
12 Awo Yonasaani n'agamba Dawudi nti Mukama, Katonda wa Isiraeri, abeere mujulirwa; bwe nnaaba nga mmaze okukemekkereza kitange nga mu kiseera kino enkya oba ku lw'okusatu, Iaba, bwe waliba obulungi eri Dawudi, kale sirikuttunira ne nkikubikkulira?
13 Mukama akole bw'atyo Yonasaani n'okukirawo, kitange bw'aliba ng'asiimye okukukola obubi, ne sikikubikkulira ne nkusindika ogende mirembe: era Mukama abeere naawe nga bwe yabanga ne kitange.
14 Naawe olindaga ekisa kya Mukama nga nkyali mulamu, nneme okufa;
15 so si kukoma ku ekyo kyokka, era naye n'ennaku zonna tolisalako kisa kyo ku nnyumba yange weewaawo, okutuusa Mukama lw'alimala okusalako abalabe ba Dawudi buli omu ku nsi yonna.
16 Awo Yonasaani n'alagaana endagaano n'ennyumba ya Dawudi nti Ne Mukama aligivunaana mu mukono gw'abalabe ba Dawudi.
17 Yonasaani n'alayiza Dawudi nate, o1w'okwagala kwe yamwagala: kubanga yamwagala nga bwe yayagala emmeeme ye ye.
18 Awo Yonasaani n'alyoka amugamba nti Enkya omwezi gunaaboneka: era banaakumagamaga, kubanga entebe yo eneeba njereere.
19 Awo bw'olimala ennaku ssatu, n'oserengeta mangu n'ojja mu kifo mwe weekwekera ekigambo ekyo bwe kyaliwo, n'obeera awali ejjinja Ezeri:
20 Nange ndirasa obusaale busatu ku mabbali gaalyo, nga nteeba sabbaawa.
21 Kale, laba, ndituma omwana nga njogera nti Genda onoonye obusaale. Bwe ndigamba omwana nti Laba, obusaale buli ku luuyi Iuno gye ndi: kale n'obutwala n'ojja; kubanga waliwo emirembe gy'oli so tewali kabi, nga Mukama bw'ali omulamu.
22 Naye bwe ndigamba omwana bwe ntyo nti Laba, obusaale buli ku luuyi olw'omumaaso go: kale ne weddukira: kubanga Mukama ng'akusindise.
23 Era ekigambo ekyo kye twayogerako ggwe nange, laba, Mukama ali wakati wo nange ennaku zonna.
24 Awo Dawudi ne yeekweka mu nsiko: awo omwezi bwe gwaboneka, kabaka ne yeeruulira okulya ku mmere.
25 Kabaka n'atuula ku ntebe ye ng'olulala, ye ntebe eriraanye ekisenge; Yonasaani n'ayimirira. Abuneeri n'atuula ku lubiriizi lwa Sawulo: naye entebe ya Dawudi yali njereere.
26 Naye Sawulo teyaliiko kye yayogera ku lunaku olwo: kubanga yalowooza nti Aliko ky'abadde, si mulongoofu; mazima si mulongoofu.
27 Awo olwatuuka enkya omwezi nga gumaze okuboneka, lwe lunaku olw'okubiri, entebe ya Dawudi n'eba njereere: Sawulo n'agamba Yonasaani mutabani we nti Kiki ekirobera mutabani wa Yese okujja ku mmere newakubadde jjo newakubadde leero?
28 Yonasaani n'addamu Sawulo nti Dawudi yandaga ng'anneegayirira nnyo okugenda e Besirekemu:
29 n'ayogera nti Leka ŋŋende, nkwegayiridde; kubanga ennyumba yaffe balina ssaddaaka mu kyalo; ne muganda wange yandagira okubaawo: kale nno oba nga nnanze mu maaso go, leka ŋŋende, nkwegayiridde, ndabe baganda bange. Kyeyava alema okujja ku mmeeza ya kabaka.
30 Awo obusungu ne bukwata Sawulo eri Yonasaani n'amugamba nti Ggwe omwana w'omukazi omukakaayavu omujeemu, simanyi nga walonda mutabani wa Yese okwekwasa ensonyi, n'okukwasa ensonyi obwereere bwa nnyoko?
31 Kuba mutabani wa Yese ng'akyali mulamu ku ttaka, tolinywezebwa ggwe newakubadde obwakabaka bwo. Kale nno kaakano tuma omunkimire, kubanga taaleme kufa.
32 Yonasaani n'addamu Sawulo kitaawe n'amugamba nti Ekinaaba kimussa kiki? akoze ki? Sawulo n'akasuka effumu lye okumnfumita: Yonasaani kwe yategeerera kitaawe ng'amaliridde okutta Dawudi.
33 Sawulo n'akasuka effumu lye okumnfumita: Yonasaani kwe yategeerera kitaawe ng'amaliridde okutta Dawudi.
34 Awo Yonasaani. n'agolokoka ku mmeeza ng'aliko ekiruyi kingi, n'atalya ku mmere yonna ku lunaku olw'okubiri olw'omwezi: kubanga yanakuwala olwa Dawudi, kubanga kitaawe yali amuwemukidde.
35 Awo olwatuuka enkya Yonasaani n'afuluma n'agenda mu nsiko mu kiseera kye yalagaana ne Dawudi, n'omulenzi omuto ng'ali naye.
36 N'agamba omulenzi we nti Dduka onoonye nno obusaale bwe ndasa. Omulenzi ng'adduka n'alasa akasaale ku luuyi olw'omu maaso ge.
37 Awo omulenzi bwe yatuuka mu kifo eky'akasaale Yonasaani ky'alasizza, Yonasaani n’akoowoola omulenzi n'ayogera nti Akasaale tekali ku luuyi olw'omu maaso go?
38 Yonasaani n'akoowoola omulenzi nti Dduka, yanguwa, tolwawo. Omulenzi wa Yonasaani n'alonda obusaale, n'ajja eri mukama we.
39 Naye omulenzi teyaliiko kye yategeera: Yonasaani ne Dawudi bokka be baamanya ekigambo.
40 Awo Yonasaani n'awa omulenzi we ebintu bye, n'amugamba nti Genda ozitwale mu kibuga.
41 Awo omulenzi ng'agenze Dawudi n'agolokoka mu kifo ekyali ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo, n'avuunama amaaso ge n'akutama eaurundi esatu: ne banywegeragana ne bakaaba bokka na bokka okutuusa Dawudi lwe yayingiriza,
42 Yonasaani n'agamba Dawudi nti Genda mirembe kubanga tulayidde fembi mu linnya lya Mukama nga twogera nti Mukama anaabanga wakati wange naawe era wakati w'ezzadde lyange n'ezzadde lyo, ennaku zonna. N'agolokoka n'agenda: Yonasaani n'ayiagira mu kibuga.