1 Era kabaka Sulemaani n'ayagala abakazi bangi bannaggwa nga wamu ne muwala wa Falaawo, abakazi ab'oku Bamowaabu n'Abamoni n'Abaedomu n'Abasidoni n'Abakiiti;
2 ku mawanga Mukama ge yagambako abaana ba Isiraeri nti Temugendanga mu bo so tebajjanga bo mu mmwe: kubanga tebalirema kukyusa mitima gyammwe okugoberera bakatonda baabwe: Sulemaani ne yeegatta nabb ng'abaagala.
3 Era yalina abakazi lusanvu, abambejja, n'abazaana ebikumi bisatu: bakazi be ne bakyusa omutima gwe.
4 Kubanga olwatuuka Sulemaani ng'akaddiye bakazi be ne bakyusa omutima gwe okugoberera bakatonda abalala: omutima gwe ne gutatuukirira eri Mukama Katonda we nga bwe gwali omutima gwa Dawudi kitaawe.
5 Kubanga SuIemaani n'agoberera Asutaloosi, katonda omukazi ow'Abasidoni, ne Mirukomu omuzizo gw'Abamoni.
6 Era Sulemaani n'akola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi, n'atagobererera ddala Mukama, nga Dawudi kitaawe bwe yakola.
7 Awo Sulemaani n'azimbira Kemosi ekifo ekigulumivu, gwe muzizo gwa Mowaabu, ku lusozi olwolekera Yerusaalemi, ne Moleki omuzizo gw'a baana ba Amoni.
8 Era bwe yakolera bw'atyo bakazi be bonna bannaggwanga abaayotezanga obubaane ne bawaayo ssaddaaka eri bakatonda baabwe.
9 Mukama n'asunguwalira Sulemaani kubanga omutima gwe gwakyuka okuva ku Mukama Katonda wa Isiraeri eyali yaakamulabikira emirundi ebiri,
10 era eyamulagira olw'ekigambo ekyo aleme okugoberera bakatonda abalala, naye n'atakwata ekyo Mukama kye yalagira.
11 Mukama kyeyava agamba Sulemaani nti Kubanga okoze kino so tokutte ndagaano yange n'amateeka gange bye nnakulagira, sirirema kukuyuzaako obwakabaka ne mbuwa omuddu wo.
12 Naye sirikola bwe ntyo ku mirembe gyo ku lwa Dawudi kitaawo: naye ndibuyuza okubuggya mu mukono gw'omwana wo.
13 Naye siriyuzaako bwakabaka bwonna, naye ndimuwa omwana wo ekika kimu ku lwa Dawudi omuddu wange era ku lwa Yerusaalemi kye nneeroboza.
14 Awo Mukama n'ayimusiza Sulemaani omulabe, Kadadi Omwedomu: yali wa ku zzadde lya kabaka mu Edomu.
15 Kubanga olwatuuka Dawudi bwe yali mu Edomu ne Yowaabu omukulu w'eggye ng'ayambuse okuziika abafu era ng'asse buli musajja mu Edomu;
16 (kubanga Yowaabu ne Isiraeri yenna baamalayo emyezi mukaaga okutuusa lwe yamalawo buli musajja mu Edomu;)
17 awo Kadadi n'adduka, ye n'Abaedomu abamu ab'oku baddu ba kitaawe wamu naye okugenda mu Misiri: Kadadi ng'akyali mwana muto.
18 Ne bagolokoka okuva mu Midiyaani ne bajja e Palani: ne batwala wamu nabo abasajja nga babaggya e Palani ne bajja e Misiri eri Falaawo kabaka We Misiri; oyo n'amuwa ennyumba n'amulagira ebyokulya n'amuwa ensi.
19 Awo Kadadi n'aganja nnyo mu maaso ga Falaawo n'okumuwa n'amuwa okuwasa muganda wa mukazi we ye, muganda wa Tapenesi kaddulubaale.
20 Awo muganda wa Tapenesi n'amuzaalira Genubasi mutabani we Tapenesi gwe yaggira ku mabeere mu nnyumba ya Falaawo: Genubasi n'abeera mu nnyumba ya Falaawo mu batabani ba Fa:aawo.
21 Awo Kadadi bwe yawulirira mu Misiri nga Dawudi yeebakidde wamu ne bajjajjaabe, era nga Yowaabu omukulu w'eggye ng'afudde, Kadadi n'agamba Falaawo nti Ka tlnende ntuuke mu nsi y'ewaffe.
22 Awo Falaawo n'amugamba nti Naye kiki ekyakubula ng'oli nange n'okwagala n'oyagala, laba, okugenda mu nsi y'ewammwe? N'addamu nti Tewali kintu: naye leka mmale gagenda.
23 Awo Katonda n'amuyimusizaako omulabe omulala, Lezoni mutabani wa Eriyadda eyali adduse mukama we Kadadezeri kabaka We Zoba:
24 n'akuŋŋaanya abantu gy'ali, n'afuuka omukulu w'ekibiina Dawudi bwe yatta ab'e Zoba: ne bagenda e Ddamasiko ne babeera omwo, ne bafugira mu Ddamasiko.
25 N'aba mulabe eri Isiraeri emirembe gyonna egya Sulemaani obutassaako bubi Kadadi bwe yakola: n'akyawa Isiraeri n'afuga Obusuuli.
26 Awo Yerobowaamu mutabani wa Nebati, Omwefulayimu ow'e Zereda, omuddu wa Sulemaani, nnyina erinnya lye Zeruwa namwandu, era naye n'ayimusiza kabaka omukono.
27 Era eno ye yali ensonga kyeyava ayimusiza kabaka omukono; Sulemaani yazimba Miiro n'aziba ekituli eky'omu kibuga kya Dawudi kitaawe.
28 Era omusajja oyo Yerobowaamu yali musajja wa maanyi omuzira: Sulemaani n'alaba omulenzi oyo nga munyiikivu, n'amutikkira emirunu gyonna egy'e nnyumba ya Yusufu.
29 Awo olwatuuka mu biro ebyo Yerobo waamu bwe yava mu Yerusaalemi, nnabbi Akiya Omusiiro n'amusanga mu kkubo; era Akiya yali ayunbadde ekyambalo ekiggya; awo bombi ne baba bokka ku ttale.
30 Akiya n'akwata ku kyambalo ekiggya kye yali ayambadde n'akiyuzaamu ebitundu kkumi na bibiri.
31 N'agamba Yerobowaamu nti Weetwalire ebitundu kkumi: kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Laba, ndiyuza mu bwakabaka ne mbuggya mu mukono gwa Sulemaani ne nkuwa ggwe ebika kkumi:
32 (naye aliba n'ekika kimu ku lw'omuddu wange Dawudi ne ku lwa Yerusaalemi ekibuga kye nneeroboza mu bika byonna ebya Isiraeri:)
33 kubanga bandese ne basinza Asutaloosi katonda omukazi ow'Abasidoni ne Kemosi katonda wa Mowaabu ne Mirukomu katonda w'abaana ba Amoni; so tebatambulidiie mu makubo gange okukola ebiri mu maaso gange ebirungi n'okukwata amateeka gange n'emisango gyange nga bwe yakolanga Dawudi kitaawe.
34 Naye siriggya bwakabaka bwonna mu mukono gwe: naye ndimufuula omukulu ennaku zonna ez'obulamu bwe ku lwa Dawudi omuddu wange gwe nnalonda kubanga yakwata ebiragiro byange n'amateeka gange:
35 naye ndiggya obwakabaka mu mukono gwa mutabani we ne mbuwa ggwe, ebika kkumi.
36 Ne mutabani we ndimuwa ekika kimu, Dawudi omuddu wange abeerenga n'ettabaaza ennaku zonna mu maaso gange mu Yerusaalemi ekibuga kye nneeroboza okuteeka omwo erinnya lyange.
37 Era ndikutwala, naawe olifuga nga byonna bwe biriba emmeeme yo by'eryagala, era oliba kabaka wa Isiraeri.
38 Awo olulituuka bw'onoowuliranga byonna bye nkulagira n'otambuliranga mu makubo gange n'okolanga ebyo ebiri mu maaso gange ebirungi, okukwatanga amateeka gange n'ebiragiro byange nga Dawudi omuddu wange bwe yakolanga; kale naabeeranga wamu naawe, era ndikuzimbira ennyumba ey'enkalakkalira nga bwe nnazimbira Dawudi, era ndikuwa Isiraeri.
39 Era kyendiva mbonyabonya ezzadde lya Dawudi naye siribabonyezabonyeza emirembe gyonna.
40 Sulemaani kyeyava asala amagezi okutta Yerobowaamu; naye Yerobowaamu n'agolokoka n'addukira mu Misiri eri Sisaki kabaka w'e Misiri, n'abeera mu Misiri okutuusa Sulemaani lwe yafa.
41 Era ebikolwa byonna ebirala ebya Sulemaani ne byonna bye yakola n'amagezi ge tebyawandiikibwa mu kitabo ky'ebikolwa bya Sulemaani?
42 N'ebiro Sulemaani bye yafugira Isiraeri yenna mu Yerusaalemi byali emyaka ana.
43 Awo Sulemaani ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa mu kibuga kya Dawudi kitaawe: awo Lekobowaamu mutabani we n'afuga mu kifo kye.