1 Awo Kiramu kabaka w'e Tuulo n'atuma abaddu be eri Sulemaani; kubanga yawulira nga bamufuseeko amafuta okuba kabaka mu kifo kya kitaawe: kubanga Kiramu obw'edda yayagalanga Dawudi.
2 Sulemaani n'atumira Kiramu ng'ayogera nti
3 Omanyi Dawudi kitange nga teyayinza kuzimbira linnya lya Mukama Katonda we ennyumba olw'entalo ezaamwetooloola enjuyi zonna, okutuusa Mukama lwe yabateeka wansi w'ebigere bye.
4 Naye kaakano Mukama Katonda wange ampadde emirembe enjuyi zonna; tewali mulabe newakubadde akabi akajja.
5 Era, laba, nteesezza okuzimbira erinnya lya Mukama Katonda wange ennyumba, nga Mukama bwe yagamba Dawudi kitange nti Mutabani wo gwe nditeeka ku ntebe yo ng'adda mu bigere byo ye alizimbira erinnya lyange ennyumba.
6 Kale nno lagira bantemere emivule ku Lebanooni; n'abaddu bange banaabanga wamu n'abaddu bo era ndikuwa empeera olw'abaddu bo nga byonna bwe biriba by'oligamba: kubanga omanyi nga ku ffe tekuli n'omu alina amagezi okutema emiti okwenkana ab'e Sidoni.
7 Awo olwatuuka Kiramu bwe yawulira ebigambo bya Sulemaani, n'asanyuka nnyo n'ayogera nti Mukama yeebazibwe leero awadde Dawudi omwana ow'amagezi okufuga eggwanga lino ekkulu.
8 Awo Kiramu n'atumira Sulemaani ng'ayogera nti Mpulidde by'ontumidde: naakolanga byonna by'oyagala eby'emiti egy'emivule n'emiti egy'emiberosi.
9 Abaddu bange baligiggya ku Lebanooni ne bagiserengesa ku nnyanja: era ndigisengeka okuba ebitindiro okuyita ku nnyanja okugenda mu kifo ky'olindaga, era ndiragira okugisumululira eyo, naawe oligiweebwa: era olikola kye njagala bw'onoowanga emmere ey'ab'omu nnyumba yange.
10 Awo Kiramu n'awa Sulemaani emiti egy'emivule n'emiti egy'emiberosi nga byonna bwe byali bye yayagala.
11 Sulemaani n'awa Kiramu ebigero by'eŋŋaano obukumi bubiri okuba emmere ey'ab'omu nnyumba ye, n'amafuta amalongoofu ebigero amakumi abiri: bw'atyo Sulemaani bwe yawanga Kiramu buli mwaka.
12 Mukama n'awa Sulemaani amagezi, nga bwe yamusuubiza; ne waba emirembe eri Kiramu ne Sulemaani; ne balagaana endagaano bombi.
13 Awo kabaka Sulemaani n'asolooza abantu mu Isiraeri yenna; abaasoloozebwa ne baba abasajja obukumi busatu.
14 N'abasindikanga e Lebanooni, buli mwezi kakumi mu mpalo: baamalanga omwezi ku Lebanooni, n'emyezi ebiri ewaabwe: era Adoniraamu ye yali omugabe w'abo abaasoloozebwa.
15 Era Sulemaani yalina obukumi musanvu abaasitulanga emigugu, n'obukumi munaana abaatemeranga ku nsozi;
16 obutassaako baami ba Sulemaani abakulu abaalabirira omulimu, enkumi ssatu mu ebikumi bisatu, abaafuga abantu abaakola omulimu.
17 Kabaka n'alagira ne batema ne baggyayo amayinja amanene, amayinja ag'omuwendo omungi, okussaawo emisingi gy'ennyumba n'amayinja amabajje.
18 Abazimbi ba Sulemaani n'abazimbi ba Kiramu n'Abagebali ne bagalongoosa, ne bategeka emiti n'amayinja okuzimba ennyumba.