1 Awo, laba, ne wajja omusajja wa Katonda ng'ava mu Yuda olw'ekigambo kya Mukama n'ajja e Beseri: awo Yerobowaamu yali ng'ayimiridde awali ekyoto okwoteza obunaane.
2 Awo n'ayogerera waggulu ku kyoto olw'ekigambo kya Mukama n'ayogera nti Ai ekyoto, ekyoto, bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Laba, omwana alizaalirwa ennyumba ya Dawudi, erinnya lye Yosiya; era ku ggwe kw'aliweerayo bakabona b'ebifo ebigulumivu abootereza obubaane ku ggwe, era baliweerayo ku ggwe amagumba g'abantu.
3 N'awa akabonero ku lunaku olwo ng'ayogera nti Kano ke kabonero Mukama k'ayogedde: laba, ekyoto kiryatika n'evvu erikiriko liriyiika.
4 Awo olwatuuka kabaka bwe yawulira ekigambo eky'omusajja wa Katonda kye yayogerera waggulu ku kyoto mu Beseri, awo Yerobowaamu n'agolola omukono gwe ng'ayima awali ekyoto ng'ayogera nti Mumukwate: N'omukono gwe gw'amugololedde ne gukala n'okuyinza n'atayinza kuguzza nate.
5 Ekyoto nakyo ne kyatika n'evvu ne liyiika okuva ku kyoto ng'akabonero bwe kaali omusajja wa Katonda ke yawa olw'ekigambo kya Mukama.
6 Awo kabaka n'addamu n'agamba omusajja wa Katonda nti Weegayirire nno ekisa kya Mukama Katonda wo onsabire omukono gwange gumponyezebwe nate: Omusajja wa Katonda ne yeegayirira Mukama, omukono gwa kabaka ne gumuwonyezebwa nate ne gufuuka nga bwe gwali olubereberye.
7 Kabaka n'agamba omusajja wa Katonda nti Tuddeyo nange eka oweereweere, nange naakuwa empeera.
8 Omusajja wa Katonda n'agamba kabaka nti Newakubadde ng'onompa ekitundu ky'ennyumba yo, siyingire wamu naawe so siiriire mmere so sinywere mazzi mu kifo kino:
9 kubanga bwe nkuutiddwa bwe ntyo n'ekigambo kya Mukama nga kyogera nti Tolya mmere so tonywa mazzi so toddayo mu kkubo ly'ofulumyemu.
10 Awo n'addayo mu kkubo eddala, n'ataddayo mu kkubo ly'afulumyemu ng'ajja e Beseri.
11 Awo waaliwo nnabbi omukadde eyabeeranga mu Beseri; omu ku batabani be n'ajja n'amubuulira ebikolwa byonna omusajja wa Katonda bye yali akoledde mu Beseri ku lunaku olwo: ebigambo by'agambye kabaka nabyo ne babibuulira kitaabwe.
12 Kitaabwe n'abagamba nti Kkubo ki mw'afulumidde? Awo batabani be nga balabye ekkubo ly'afulumiddemu omusajja wa Katonda eyava mu Yuda.
13 N'agamba batabani be nti Munteekere amatanduko ku ndogoyi. Awo ne bamuteekera amatandiiko ku ndogoyi: n'agyebagala.
14 N'agoberera omusajja wa Katonda n'amusanga ng'atudde wansi w'omwera: n'amugamba nti Ggwe musajja wa Katonda eyava mu Yuda? N'ayogera nti Nze nzuuyo.
15 Awo n'amugamba nti Tuddeyo nange eka tulye ku mmere.
16 N'ayogera nti Siyinza kuddayo naawe newakubadde okuyingira naawe: so siiriire mmere so sinywere mazzi wamu naawe mu kifo kino:
17 kubanga nabuulirwa n'ekigambo kya Mukama nti Tolya ku mmere so tonywerayo mazzi so tokyuka nate okudda mu kkubo mw'ofulumidde.
18 Awo n'amugamba nti Nange ndi nnabbi nga ggwe bw'oli; era malayika annambye n'ekigambo kya Mukama nti Mukomyewo mu nnyumba yo alye ku mmere anywe amazzi. Naye ng'amulimba.
19 Awo n'addayo naye n'aliira ku mmere mu nnyumba ye n'anywa amazzi.
20 Awo olwatuuka nga batudde ku mmeeza ekigambo kya Mukama ne kimujjira nnabbi amukomezzaawo:
21 n'ayogerera waggulu eri omusajja wa Katonda eyava mu Yuda ng'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Kubanga ogaanyi okuwulira akamwa ka Mukama so tokutte kiragiro Mukama Katonda wo ky'akulagidde,
22 naye n'okomawo, era oliiridde ku mmere n'onywera amazzi mu kifo ky'akugambyeko nti Toliirayo ku mmere so tonywa mazzi: omulambo gwo tegulituuka mu ntaana ya bajjajjaabo.
23 Awo olwatuuka bwe yamala okulya ku mmere era ng'anywedde n'ateeka amatandiiko ku ndogoyi ng'amuteekera nnabbi gw'akomezzaawo.
24 Awo ng'agenze empologoma n'emusanga mu kkubo n'emutta: omulambo gwe ne gusuulibwa mu kkubo, endogoyi n'eyimirira kumpi nagwo; era n'empologoma n'eyimirira kumpi n'omulambo.
25 Kale, laba, abantu ne bayitawo ne balaba omulambo nga gusuuliddwa mu kkubo n'empologoma ng'eyimiridde kumpi n'omulambo: ne bajja ne bakibuulira mu kibuga nnabbi omukadde mwe yabeeranga.
26 Awo nnabbi amukomezzaawo mu kkubo bwe yakiwulira, n'ayogera nti Ye musajja wa Katonda ataagondedde kamwa ka Mukama: Mukama kyavudde amugabula eri empologoma emutaagudde n'emutta ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali ky'amugambye.
27 Awo n'agamba batabani be nti Munteekere amatandiiko ku ndogoyi. Ne bagiteekako amatandiiko.
28 N'agenda n'asanga omulambo gwe nga gusuuliddwa mu kkubo n'endogoyi n'empologoma nga ziyimiridde kumpi n'omulambo: empologoma nga teridde mulambo so nga tetaagudde ndogoyi.
29 Nnabbi n'asitula omulambo gw'omusajja wa Katonda n'aguteeka ku ndogoyi n'aguzzaayo: nnabbi omukadde n'akomawo mu kibuga okukungubaga n'okumuziika.
30 N'ateeka omulambo gwe mu ntaana ye ye; ne bamukungubagira nga boogera nti Woowe, muganda wange!
31 Awo olwatuuka g'amaze okumuziika n'agamba batabani be nti Bwe ndimala okufa, munziikanga mu ntaana omusajja wa Katonda mw'aziikiddwa; muteekanga amagumba gange kumpi n'amagumba ge.
32 Kubanga ekigambo kye yayogerera waggulu olw'ekigambo kya Mukama ku kyoto ekiri mu Beseri ne ku nnyumba zonna ez'ebifo ebigulumivu ebirimu bibuga eby'e Samaliya telurirema kutuukirira.
33 Oluvannyuma lw'ekigambo ekyo Yerobowaamu n'atakyuka okuleka ekkubo lye ebbi, naye ne yeeyongera nate okussaawo bakabona ab'ebifo ebigulumivu ng'abaggya ku bantu bonna: buli eyayagalanga, n'amwawulanga wabeerewo bakabona b'ebifo ebigulumivu.
34 N'ekigambo ekyo ne kifuuka ekibi eri ennyumba ya Yerobowaamu okugimalawo n'okugizikiriza okuva ku nsi yonna.