1 Awo Eriya Omutisubi, eyali ku abo abaatuula e Gireyaadi, n'agamba Akabu nti Mukama Katonda wa Isiraeri nga bw'ali omulamu gwe nnyimiririra mu maaso ge, tewaabenga musulo newakubadde enkuba mu myaka gino, wabula ng'ekigambo kyange bwe kiri.
2 Awo ekigambo kya Mukama ne kimujjira nga kyogera nti
3 Va wano okyuke ogende ebuvanjuba weekweke awali akagga Kerisi akoolekera Yoludaani.
4 Awo olulituuka onoonyweranga mu kagga; era ndagidde bannamuŋŋoona okukuliisiza eyo.
5 Awo n'agenda n'akola ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali: kubanga yagenda n'abeera awali akagga Kerisi akoolekera Yoludaani.
6 Awo bannamunnoona ne bamuleeteranga emmere n'ennyama enkya, n'emmere n'ennyama akawungeezi; n'anywanga mu kagga.
7 Awo olwatuuka ddaaki akagga ne kakala olw'obutaba nkuba mu nsi.
8 Awo ekigambo kya Mukama ne kimujjira nga kyogera nti
9 Golokoka ogende e Zalefaasi ekya Sidoni, obeere eyo: laba, ndagidde omukazi nnamwandu ali eyo okukuliisanga.
10 Awo n'agolokoka n'agenda e Zalefaasi: awo bwe yatuuka ku wankaaki w'ekibuga, laba, omukazi nnamwandu ng'ali eyo ng'alonda enku: n'amuyita n'ayogera nti Nkwegayiridde, nkimira otuzzi mu kibya, nnywe.
11 Awo ng'agenda okugakima, n'amuyita n'ayogera nti Nkwegayiridde, ndeetera akamere mu mukono gwo.
12 N'ayogera nti Nga Mukama Katonda wo bw'ali omulamu, sirina mugaati, wabula olubatu lw'obutta mu ppipa n'otufuta mu kasumbi: era, laba, nsennya enku bbiri nnyingire neefumbire nze n'omwana wange, tubulye tufe.
13 Awo Eriya n'amugamba nti Totya; genda okole nga bw'oyogedde: naye sooka obunfumbiremu akagaati, okaleete gye ndi, oluvannyuma weefumbire wekka n'omwana wo.
14 Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Eppipa ey'obutta terikendeera so n'akasumbi k'amafuta tekaliggwaawo, okutuusa ku lunaku Mukama lw'alitonnyesa enkuba ku nsi.
15 Awo n'agenda n'akola nga Eriya bw'ayogedde: omukazi naye n'ennyumba ye ne baliira ennaku nnyingi.
16 Eppipa ey'obutta teyakendeera so n'akasumbi k'amafuta tekaggwaawo ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yayogerera mu Eriya.
17 Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo omwana w'omukazi oyo nnyini nnyumba n'alwala; n'endwadde ye n'enyiikira bw'eti n'atabaamu nate na mukka.
18 Awo n'agamba Eriya nti Nfaayo ki eri ggwe, ggwe omusajja wa Katonda? wajja gye ndi okunjijukiza ekibi kyange n'okutta omwana wange!
19 N'amugamba nti Mpa omwana wo. N'amuggya mu kifuba kye n'amusitula n'amulinnyisa mu nju gye yabeerangamu n'amuteeka ku kitanda kye ye.
20 N'akaabira Mukama, n'ayogera nti Ai Mukama Katonda wange, oleese ekibi ne ku nnamwandu ansuza ng'otta omwana we?
21 Ne yeegolola ku mwana emirundi esatu, z'akaabira Mukama n'ayogera nti Ai Mukama Katonda wange, nkwegayiridde, obulamu bw'omwana ono bumuddemu nate.
22 Mukama n'awulira eddoboozi lya Eriya; obulamu bw'omwana ne bumuddamu nate, n'alama.
23 Awo Eriya n'addira omwana n'amuserengesa ng'amuggya mu kisenge n'amuleeta mu nnyumba n'amuwa nnyina: Eriya n'ayogera nti Laba, omwana wo mulamu.
24 Awo omukazi n'agamba Eriya nti Kaakano mmanyi ng'oli musajja wa Katonda, era ng'ekigambo kya Mukama mu kamwa ko ge mazima.