1 Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo Nabosi Omuyezuleeri yalina olusuku olw'emizabbibu olwali mu Yezuleeri kumpi n'olubiri lya Akabu kabaka w'e Samaliya.
2 Awo Akabu n'agamba Nabosi nti Mpa olusuku lwo olw'emizabbibu mbeere nalwo okuba olusuku lw'enva, kubanga luli kumpi n'ennyumba yange; nange ndikuwa mu kifo kyalwo olusuku olw'emizabbibu olusinga obulungi: oba bw'onoosiima, ndikuwa ebintu ng'omuwendo gwalwo bwe guli.
3 Awo Nabosi n'agamba Akabu nti Mukama akiddize eri gye ndi nkuwe obusika bwa bajjajjange.
4 Awo Akabu n'ayingira mu nnyumba ye, ng'anyiikadde era ng'anyiize olw'ekigambo Nabosi Omuyezuleeri ky'amugambye: kubanga ayogedde nti Sijja kukuwa busika bwa bajjajjange. N'agalamira ku kitanda kye n'akyusa amaaso ge n'atakkiriza kulya ku mmere.
5 Naye Yezeberi mukazi we n'ajja gy'ali, n'amugamba nti Kiki ekinakuwazizza omwoyo gwo obwenkanidde awo, n'okulya n'otolya ku mmere?
6 N'amugamba nti Kubanga njogedde ne Nabosi Omuyezuleeri ne mmugamba nti Mpa olusuku lwo olw'emizabbibu olw'ebintu; oba bw'onoosiima, ndikuwa olusuku olw'emizabbibu olulala mu kifo kyalwo: n'addamu nti Sijj kukuwa lusuku lwange olw'emizabbibu.
7 Yezeberi mukazi we n'amugamba nti Ggwe ofuga nno obwakabaka bwa Isiraeri? golokoka olye ku mmere, omutima gwo gusanyuke: nze ndikuwa olusuku olw'emizabbibu olwa Nabosi Omuyezuleeri.
8 Awo n'a wandiika ebbaluwa mu linnya lya Akabu, n'azissaako akabonero ke, n'aweereza ebbaluwa abakadde n'abakungu abaali mu kibuga kye era abaatuula awali Nabosi.
9 N'awandiika mu bbaluwa ng'ayogera nti Mulangire okusiiba, mumuteeke Nabosi waggulu mu bantu
10 muteeke abasajja babiri aba Beriali mu maaso ge, bamulumirize nga boogera nti Wakolimira Katonda ne kabaka. Mulyoke mumuggyewo, mumukasuukirire amayinja afe.
11 Awo abasajja ab'omu kibuga kye abakadde n'abakungu abaabeera mu kibuga kye ne bakola nga Yezeberi bw'abatumidde, nga bwe kyawandiikibwa mu bbaluwa ze yabaweereza.
12 Awo ne balangira okusiiba, ne bamuteeka waggulu Nabosi mu bantu.
13 Abasajja babiri abaana ba Beriali ne bayingira ne batuula mu maaso ge: abasajja ba Beriali ne bamulumiriza, nga balumiriza Nabosi mu maaso g'abantu, nga boogera nti Nabosi yakolimira Katonda ne kabaka. Awo ne bamuggya mu kibuga, ne bamukasuukirira amayinja n'afa.
14 Awo ne batumira Yezeberi nga boogera nti Nabosi akasuukiriddwa amayinja afudde.
15 Awo olwatuuka Yezeberi bwe yawulira Nabosi ng'akasuukiriddwa amayinja era ng'afudde, Yezeberi n'agamba Akabu nti Golokoka olye olusuku olw'emizabbibu olwa Nabosi Omuyezuleeri lwe yagaana okukuwa olw'ebintu kubanga Nabosi takyali mulamu naye afudde.
16 Awo olwatuuka Akabu bwe yawtilira Nabosi ng'afudde, awo Akabu n'agolokoka okuserengeta mu lusuku olw'emizabbibu olwa Nabosi Omuyezuleeri okululya.
17 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Eriya Omutisubi nga kyogera nti
18 Golokoka oserengete okusisinkana ne Akabu kabaka wa Isiraeri atuula mu Samaliya laba, ali mu lusuku olw'emizabbibu olwa Nabosi gy'aserengese okululya.
19 Era onoomugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Osse era olidde? era onoomugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Mu kifo embwa mwe zaakombera omusaayi gwa Nabosi, embwa mwe zirikombera omusaayi gwo, weewaawo, ogugwo.
20 Awo Akabu n'agamba Eriya nti Ondabye, ggwe omulabe wange? N'addamu nti Nkulabye: kubanga weetunze okukola ebiri mu maaso ga Mukama ebibi.
21 Laba, adikuleetako akabi, era ndikwerera ddala, era ndimalawo eri Akabu buli mwana ow'obulenzi n'oyo asibiddwa n'atasibiddwa mu Isiraeri:
22 era ndifuula ennyumba yo okufaanana ennyumba ya Yerubowaamu mutabani wa Nebati n'okufaanana ennyumba ya Baasa mutabani wa Akiya olw'okusunguwaza kwe wansunguwaza n'oyonoonyesa Isiraeri.
23 Era Mukama n'ayogera ne ku Yezeberi nti Embwa ziririira Yezeberi awali ekigo eky'e Yezuleeri.
24 Owa Akabu anaa&iranga mu kibuga embwa zinaamulyanga; n’yo anaafiiranga ku ttale ennyonyi ez'omu bbanga zianamulyanga,
25 (Naye tewali eyafaanana Akabu eyeetunda okukola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi Yezeberi mukazi we gwe yapikiriza.
26 N'akolanga eby'emizizo ennyo ng'agoberera ebifaananyi nga byonna bwe byali Abamoli bye baakolanga Mukama be yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri.)
27 Awo olwatuuka Akabu bwe yawulira ebigambo ebyo, n'ayuza ebyambalo bye n'ayambala ebibukutu ku mubiri gwe n'asiiba n'agalamira ng'ayambadde ebibukutu n'atambula mpola.
28 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Eriya Omutisubi nga kyogera nti
29 Olaba Akabu bwe yeetoowaza mu maaso gange? kubanga yeetoowaza mu maaso gaage, sirireeta kabi ako ku mirembe gye: naye ku mirembe ya mutabani we bwe ndireeta akabi ako ku nnyumba ye.