Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Ezera Ezra

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10
1 Era bano be baana ab'omu ssaza, abaayambuka okuva mu busibe bw'abo abaatwalibwa, Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni be yatwala e Babulooni, era abaddayo e Yerusaalemi ne Yuda, buli muntu mu kibuga ky'ewaabwe;
2 abajja ne Zerubbaberi, Yesuwa, Nekkemiya, Seraya, Leeraya, MoluddeIkaayi, Birusani, Misupaali, Biguvayi Lekumu, Baana. Omuwendo gw'abasajja b'abantu ba Isiraeri:
3 abaana ba Palosi, enkumi bbiri mu kikumi mu nsanvu mu babiri.
4 Abaana ba Sefatiya, ebikumi bisatu mu nsanvu mu babiri.
5 Abaana ba Ala, lusanvu mu nsanvu mu bataano.
6 Abaana ba Pakasumowaabu, ab'oku baana ba Yesuwa ne Yowaabu, enkumi bbiri mu lunaana mu kkumi mu babiri.
7 Abaana ba Eramu, lukumi mu ebikumi bibiri mu ataano mu bana.
8 Abaana ba Zattu, lwenda mu ana mu bataano.
9 Abaana ba Zakkayi, lusanvu mu nkaaga.
10 Abaana ba Bani, lukaaga mu ana mu babiri.
11 Abaana ba Bebayi, lukaaga mu abiri mu basatu.
12 Abaana ba Azugaadi, lukumi mu ebikumi bibiri mu abiri mu babiri.
13 Abaana ba Adonikamu, lukaaga mu nltaaga mu mukaaga.
14 Abaana ba Biguvaayi, enkumi bbiri mu ataano mu mukaaga.
15 Abaana ba Adini, ebikumi bina mu ataano mu bana.
16 Abaana ba Ateri, aba Keezeekiya, kyenda mu munaana.
17 Abaana ba Bezayi, ebikumi bisatu mu abiri mu basatu.
18 Abaana ba Yola, kikumi mu kkumi mu babiri.
19 Abaana ba Kasumu, ebikumi bibiri mu abiri mu basatu.
20 Abaana ba Gibbali, kyenda mu bataano.
21 Abaana ba Besirekemu, kikumi mu abiri mu basatu.
22 Abasajja w’e Netofa, amakumi ataano mu mukaaga.
23 Abasajja b'e Anasosi, kikumi mu abiri mu munaana.
24 Abaana ba Azumavesi, amakumi ana mu babiri.
25 Abaana ba Kiriaswalimu, Kefira, ne Beerosi, lusanvu mu ana mu basatu.
26 Abaana ba Laama ne Geba, lukaaga mu abiri mu omu.
27 Abasajja w'e Mikumasi, kikumi mu abiri mu babiri.
28 Abasajja b'e Beseri ne Ayi, ebikumi bibiri mu abiri mu basatu.
29 Abaana ba Nebo, amakumi ataano mu babiri.
30 Abaana ba Magubisi, kikumi mu ataano mu mukaaga.
31 Abaana ba Eramu omulala, lukumi mu ebikumi bibiri mu ataano mu bana.
32 Abaana ba Kalimu, ebikumi bisatu mu abiri.
33 Abaana ba Loodi, Kadidi, ne Ono, lusanvu mu abiri mu bataano.
34 Abaana w'e Yeriko, ebikumi bisatu mu ana mu bataano.
35 Abaana ba Senaa, enkumi ssatu mu lukaaga mu asatu.
36 Bakabona: abaana ba Yedaya, ab'omu nnyumba ya Yesuwa, lwenda mu nsanvu mu basatu.
37 Abaana ba Immeri, lukumi mu ataano mu babiri.
38 Abaana ba Pasukuli, lukumi mu ebikumi bibiri mu ana mu musanvu.
39 Abaana ba Kalimu, lukumi mu kkumi mu musanvu.
40 Abaleevi: abaana ba Yesuwa ne Kadumyeri, ab'oku baana ba Kodaviya, nsanvu mu bana.
41 Abayimbi: abaana ba Asafu, kikumi mu abiri mu munaana.
42 Abaana b'abaggazi: abaana ba Sallumu, abaana ba Ateri, abaana ba Talumoni, abaana ba Akkubu, abaana ba Katita, abaana ba Sobayi, bonna kikumi mu asatu mu mwenda.
43 Abanesinimu: abaana ba Zika, abaana ba Kasufa, abaana ba Tabbawoosi:
44 abaana ba Kerosi, abaana ba Siyaka, abaana ba Padoni:
45 abaana ba Lebana,abaana ba Kagaba, abaana ba Akkabu;
46 abaana ba Kagabu, abaana ba Samulaayi, abaana ba Kanani;
47 abaana ba Gidderi, abaana ba Gakali,abaana ba Leyaya;
48 abaana ba Lezini, abaana ba Nekoda, abaana ba Gazzamu;
49 abaana ba Uzza, abaana ba Paseya, abaana ba Besayi;
50 abaana ba Asuna,abaana ba Meyunimu, abaana ba Nefisimu;
51 abaana ba Bakubuki, abaana ba Kakufa, abaana ba Kalukuli;
52 abaana ba Bazulusi, abaana ba Mekida, abaana ba Kalusa
53 abaana ba Balukosi, abaana ba Sisera, abaana ba Tema;
54 abaana ba Neziya, abaana ba Katifa.
55 Abaana b'abaddu ba Sulemaani: abaana ba Sotayi, abaana ba Kassoferesi, abaana ba Peruda;
56 abaana ba Yaala, abaana ba Dalukoni, abaana ba Gidderi;
57 abaana ba Sefatiya, abaana ba Kattiri, abaana ba Pokeresukazzebayimu, abaana ba Ami.
58 Abanesinimu bonna n'abaana b'abaddu ba Sulemaani baali ebikumi bisatu mu kyenda mu babiri.
59 Era bano be, baayambuka okuva e Terumeera, e Terukalusa, e Kerubu, e Yaddani n'e Immeri: naye ne batayinza kulaga nnyumba za bakitaabwe n'okuzaalibwa kwabwe oba nga ba Isiraeri:
60 abaana ba Deraya, abaana ba Tobiya, abaana ba Nekoda, lukaaga mu ataano mu babiri.
61 Ne ku baana ba bakabona: abaana ba Kabaya, abaana ba Kakkozi, abaana ba Baluzirayi eyawasa omukazi ku bawala ba Baluzirayi Omugireyaadi, n'atuumibwa ng'erinnya lyabwe bwe lyali.
62 Abo ne banoonya amannya gaabwe mu abo abaabalibwa ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, naye ne batalabika: kyebaava bababoola ne babagoba mu bwakabona.
63 Tirusaasa n'abagamba balemenga okulya ku bintu ebitukuvu ennyo okutuusa lwe walibaawo kabona alina Ulimu ne Sumimu.
64 Ekibiina kyonna okugatta kyali obukumi buna mu enkumi bbiri mu ebikumi bisatu mu nkaaga,
65 obutassaako baddu baabwe n'abazaana baabwe, omuwendo gwabwe kasanvu mu ebikumi bisatu mu asatu mu musanvu: era baalina abasajja abayimbi n'abakazi abayimbi ebikumi bibiri.
66 Embalaasi zaabwe zaali lusanvu mu asatu mu mukaaga; ennyumbu zaabwe ebikumi bibiri mu ana mu ttaano;
67 eŋŋamira zaabwe ebikumi bina mu asatu mu ttaano; endogoyi zaabwe kakaaga mu lusanvu mu abiri.
68 Awo abamu ku mitwe gy'ennyuniba za bakitaabwe bwe bajja mu nnyumba ya Mukama eri mu Yerusaalemi ne bawaayo ku bwabwe olw'ennyumba ya Katonda okugisimba mu kifo kyayo:
69 ne bawa ng'obuyinza bwabwe bwe bwali mu ggwanika ery'omulimu daliki obukumi mukaaga mu lukumi eza zaabu, ne laateri eza ffeeza enkumi ttaano, n'ebyambalo bya bakabona kikumi.
70 Awo bakabona n'Abaleevi n'abamu ku bantu n'abayimbi n'abaggazi n'Abanesinimu ne babeeranga mu bibuga byabwe ne Isiraeri yenna mu bibuga byabwe.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]