1 Awo omwezi ogw'omusanvu bwe gwatuuka, abaana ba Isiraeri nga bali mu bibuga, abantu ne bakugnaanira e Yerusaalemi ng'omuntu omu.
2 Awo Yesuwa mutabani wa Yozadaki n'ayimirira, ne baganda be bakabona, ne Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri,, ne baganda be, ne bazimba ekyoto kya Katonda wa Isiraeri okuweerangayo okwo ebiweebwayo ebyokebwa, nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa omusajja wa Katonda.
3 Ne basimba ekyoto ku ntebe yaakyo; kubanga entiisa yabaliko olw'abantu ab'omu nsi: ne baweerayo okwo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama, ebiweebwayo ebyokebwa enkya n'akawungeezi.
4 Ne bakwatanga embaga ey'ensiisira nga bwe kyawandiikibwa ne bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa ebya buli lunaku ng'omuwendo gwabyo bwe gwali, ng'ekiragiro bwe kyali, ng'ebyagwanira buli lunaku bwe byali;
5 n'oluvannyuma ekiweebwayo ekyokebwa eky'emirembe gyonna, n'ebiweebwayo eby'emyezi egyakaboneka n'eby'embaga zonna eza Mukama ezaalagirwa, n'ebya buli muntu eyawaayo ng'ayagadde ekiweebwayo ku bubwe eri Mukama.
6 Ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogw'omusanvu kwe baasookera okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama: naye emisingi gya yeekaalu ya Mukama nga teginnaba kussibwawo.
7 Era ne bawa abazimbi n'ababazzi effeeza; n'ebyokulya n'ebyokunywa n'amafuta ne babiwa w'e Sidoni n’ab'e Ttuulo, okuggya emivule ku Lebanooni okugireta ku nnyanja e Yopa nga Kuulo kabaka w'e Buperusi bwe yabalagira.
8 Awo mu mwaka ogw'okubiri kasookedde bajja eri ennyumba ya Katonda e Yerusaalemi, mu mwezi ogw'okubiri, Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri mwe yasookera ne Yesuwa mutabani wa Yozadaki ne baganda baabwe abalala bakabona n'Abaleevi n'abo abaali bavudde mu busibe obwo ne bajja e Yerusaalemi; ne balagira Abaleevi abaakamaze emyaka amakumi asatu n'okukirawo okulabirira omulimu ogw'omu nnyumba ya Mukama.
9 Awo Yesuwa n'ayimirira ne batabani be ne baganda be, Kadumyeri ne batabani be, batabani ba Yuda, wamu okulabirira abakozi mu nnyumba ya Katonda: batabani ba Kenadadi ne batabani baabwe ne baganda baabwe Abaleevi.
10 Awo abazimbi bwe bassaawo emisingi gya yeekaalu ya Mukama, ne bateeka bakabona nga bambadde ebyambalo byabwe nga balina amakondeere, n'Abaleevi batabani ba Asafu nga balina ebitaasa, okutendereza Mukama, nga Dawudi Ikabaka wa Isiraeri bwe yateekateeka.
11 Ne bayimbiragana nga batendereza nga beebaza Mukama nga boogera nti Kubanga mulungi, n'okusaasira kwe kubeerera emi rembe gyonna eri Isiraeri. Abantu bonna ne boogerera waggulu n'eddoboozi ddene bwe baatendereza Mukama, kubanga emisingi gy'ennyumba ya Mukama gissibbwawo.
12 Naye bangi ku bakabona n'Abaleevi n'emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe, abakadde abaalaba ennyumba eyasooka, emisingi gy'ennyumba eno bwe gyassibwayo mu maaso gaabwe, ne bakaaba amaziga n'eddoboozi ddene; bangi ne boogerera waggulu n'essanyu:
13 abantu n'okuyinza ne batayinza kwawula ddoboozi lya kwogerera waggulu n'essanyu n'eddoboozi ery'okukaaba kw'abantu: kubanga abantu baayogerera waggulu n'eddoboozi ddene, oluyoogaano ne luwulirirwa wala.