1 Awo bannabbi, Kaggayi nnabbi ne Zekkaliya mutabani wa Iddo, ne balagulira Abayudaaya abaali mu Yuda ne Yerusaalemi; mu linnya lya Katonda wa Isiraeri mwe baabalagulirira.
2 Awo Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri n'agolokoka ne Yesuwa mutabani wa Yozadaki, ne batanula okuzimba ennyumba ya Katonda eri mu Yerusaalemi: era wamu nabo waaliwo bannabbi ba Katonda nga babayamba.
3 Mu biro ebyo ne wajja gye bali Tattenayi owessaza ly'emitala w'omugga ne Sesalubozenayi ne bannaabwe ne babagamba bwe batyo nu Ani eyabawa etteeka okuzimba ennyumba eno n'okumala bbugwe ono?
4 Awo ne tubagamba bwe tutyo nti Abasajja abakola ennyumba eno amannya gaabwe b'ani?
5 Naye amaaso ga Katonda waabwe gaalij ku bakadde b'Abayudaaya, ne batabalekesaayo okutuusa ekigambo lwe kirituuka eri Daliyo eby'okuddamu ne bizzibwa mu bbaluwa olw'ekigambo ekyo.
6 Ebbaluwa eggiddwa mu bbaluwa Tattenayi owessaza ly'emitala w'omugga ne Sesalubozenayi ne banne, Abafalusaki, abaali emitala w'omugga, gye baaweereza Daliyo kabaka:
7 ne bamuweereza ebbaluwa eyawandiikibwa eti nti Eri Daliyo kabaka mirembe myereere.
8 Kabaka ategeere nga twajja mu ssaza lya Yuda mu nnyumba ya Katonda omukulu ezimbibwa n'amayinja amanene, era emiti giteekebwa mu bisenge, n'omulimu guno gugenda nga gweyongera n'okunyiikira mu mikono gyabwe.
9 Awo ne tubuuza abakadde abo ne tubagamba bwe tutyo nti Ani eyabawa etteeka okuzimba ennyumba eno n'okumala bbugwe ono?
10 Era ne tubabuuza n'amannya gaabwe; okukutegeeza, tuwandiike amannya g'abasajja ababakulira.
11 Kale ne baddamu bwe batyo nti Tuli baddu ba Katonda w'eggulu n'ensi, era tuzimba ennyumba eyazimbibwa edda emyaka giri emingi kabaka wa Isiraeri omukulu gye Yazimba n'amala.
12 Naye oluvannyuma bajjajjaffe bwe baali basunguwazizza Katonda w'eggulu, n'abagabula mu mukono gwa Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni Omukaludaaya, eyazikiriza ennyumba eno n'atwala abaatu e Babulooni.
13 Naye mu mwaka ogw'olubereberye ogwa Kuulo kabaka We Babulooni, Kuulo kabaka n'ateeka etteeka okuzimba ennyumba eno eya Katonda.
14 Era n'ebintu eby'omu nnyumba ya Katonda ebya zaabu n'ebya ffeeza, Nebukadduneeza bye yaggya mu yeekaalu eyali mu Yerusaalemi n'abireeta mu yeekaalu ey'e Babulooni, ebyo Kuulo kabaka n’abiggya mu yeekaalu ey'e Babulooni, ne babiwa omuntu erinnya lye Sesubazzali gwe yali afudde owessaza;
15 n'amugamba nti Twala ebintu bino, ogende obiteeke mu yeekaalu eri mu Yerusaalemi, ennyumba ya Katonda ezimbibwe mu kifo kyayo.
16 Awo Sesubazzali oyo n'ajja n'assaawo emisingi gy'ennyumba ya Katonda eri mu Yerusaalemi: kale okuva ku biro ebyo na buli kati nga bagizimba, era naye tennaba kuggwa.
17 Kale nno oba nga kabaka asiima banoonye mu ggwanika lya kabaka eriri eyo e Babulooni, oba nga bwe biri bwe bityo, ng'etteeka lyateekebwa erya Kuulo kabaka okuzimba ennyumba eno eya Katonda e Yerusaalemi, kabaka atutumire atutegeeze bw'anaasiima mu kigambo kino.