1 Awo ebigambo ebyo bwe byakolebwa, abakulu ne bansemberera nga boogera nti Abantu ba Isiraeri ne bakabona n'Abaleevi tebeeyaiwudde na mawanga ag'omu nsi nga bakola okugoberera emizizo gyabwe, egy'Abakanani n'Abakiiti n'Abaperizi n'Abayebusi n'Abamoni n'Abamowaabu n'Abamisiri n'Abamoli.
2 Kubanga beewasirizza ku bawala baabwe, ne batabani baabwe babawasirizzaako; bwe kityo ezzadde ettukuvu ne lyetabula n'amawanga ag'omu nsi: weewaawo, omukono gw'abakulu n'abafuga gwe gusinze okwonoona bwe gutyo.
3 Awo bwe nnawulira ekigambo ekyo, ne njuza ekyambalo kyange n'omunagiro gwange, ne nkuunyuula enviiri ez'oku mutwe gwange n'ez'omu kirevu kyange, ne ntuula nga nsamaaliridde.
4 Awo ne wakuŋŋaanira gye ndi bonna abaakankanira ebigambo bya Katonda wa Isiraeri olw'okusobya ku abo ab'obusibe; ne ntuula nga nsamaaliridde ne ntuusa ekitone eky'akawungeezi.
5 Awo ekitone eky'akawungeezi bwe kyaweebwayo ne ngolokoka ne nva mu kutoowazibwa kwange, ekyambalo kyange n'omunagiro gwange nga biyulise; ne nfukamira ku maviivi gange ne nnyanjuluza engalo zange eri Mukama Katonda wange;
6 ne njogera nti Ai Katonda wange, nkwatiddwa ensonyi, amaaso gange ne gamyuka okuyimusa amaaso gange gy'oli, Katonda wange: kubanga obutali butuukirivu bwaffe bweyongedde okukira omutwe gwaffe, n'omusango gwaffe gukuze gutuuse mu ggulu.
7 Okuva ku nnaku za bajjajjaffe nga tuzza musango munene nnyo ne leero; era olw'obutali butuukirivu bwaffe kyetwava tugabulwa, ffe, bakabaka baffe ne bakabona baffe, mu mukono gwa bakabaka b'ensi, eri ekitala, eri obusibe n'eri okunyagibwa n'amaaso gaffe okukwatibwa ensonyi nga leero.
8 Ne kaakano akaseera katono ekisa kiragiddwa ekiva eri Mukama Katonda waffe, okutulekera ekitundu eky'okuwona n'okutuwa enninga mu kifo kye ekitukuvu, Katonda waffe ayakire amaaso gaffe n'okutuwa okuweeraweerako akatono mu busibe bwaffe.
9 Kubanga tuli basibe; naye Katonda waffe tatwabulidde mu buddu bwaffe, naye atwongeddeko okusaasirwa mu maaso ga bakabaka b'e Buperusi, okutuwa okuweeraweera, okusimba ennyumba ya Katonda waffe n'okuddaabiriza ebyayo ebyagwa n'okutuwa bbugwe mu Yuda ne mu Ycrusaalemi.
10 Kale nno, ai Katonda waffe, tunaayogera ki oluvannyuma lwa bino? kubanga twaleka ebiragiro byo,
11 bye walagirira mu baddu bo bannabbi ng'oyogera nti Ensi gye muyingira okugirya nsi eteri nnongoofu olw'obutali bulongoofu bw'amawanga ag'omu nsi, olw'emizizo gyabwe, abaagijjuzizza obugwagwa bwabwe eruuyi n'eruuyi.
12 Kale nno temuwanga bawala bammwe batabani baabwe, so temutwaliranga batabani bammwe bawala baabwe, so temunoonyanga mirembe gyabwe newakubadde omukisa gwabwe emirembe gyonna: mulyoke mube maanyi mulye obulungi bw'ensi, mugirekere abaana bammwe okuba obusika emirembe gyonna.
13 Era ebyo byonna nga bimaze okututuukako olw'ebikolwa byaffe ebibi n'olw'okuzza omusango omunene, kubanga ggwe, Katonda waffe, watubonerezaako katono so si ng'obutali butuukirivu bwaffe bwe bwasaanira, n'otuwa ekitundu ekyenkana awo,
14 tulisobya nate amateeka go ne tuba bakoddomi b'amawanga agakola eby'emizizo? tewanditusunguwalidde okutuusa lwe wandituzikirizza, obutabaawo kitundu ekifisseewo newakubadde ow'okuwona?
15 Ai Mukama Katonda wa Isiraeri, ggwe mutuukirivu; kubanga ffe tusjgadde ekitundu ekifisseewo ekiwonye nga bwe kiri leero: laba, tuli mu maaso go nga tuzzizza omusango; kubanga tewali ayinza okuyimirira mu maaso go olw'ekyo.