Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Ezera Ezra

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10
1 Awo abalabe ba Yuda ne Benyamini bwe baawulira ng'abaana b'obusibe bazimbira yeekaalu Mukama Katonda wa Isiraeri;
2 ne balyoka basemberera Zerubbaberi, n'emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe ne babagamba nti Ka tuzimbire wamu nammwe: kubanga tunoonya Katonda wammwe era nga nammwe; era tuwaayo ssaddaaka eri ye okuva ku mirembe gya Esaludaddoni kabaka w'e Bwasuli eyatulinnyisa wano.
3 Naye Zerubbaberi ne Yesuwa n'emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe eza Isiraeri abalala ne babagamba nti Temulina kigambo naffe okuzimba ennyumba eri Katonda waffe; naye ffe fekka wamu tulizimba eri Mukama Katonda wa Isiraeri nga kabaka Kuulo Kabaka w'e Buperusi bwe yatulagira.
4 Awo abantu ab'omu nsi ne banafuya emikono gy'abantu ba Yuda ne babateganya mu kuzimba,
5 ne bagulirira ab'okusala amagezi okubaziyiza okutta okuteesa kwabwe emirembe gyonna egya Kuulo kabaka w'e Buperusi okutuusa Daliyo kabaka w'e Buperusi lwe yalya obwakabaka. 6 Ne ku mirembe gya Akaswero nga kyajje alye obwakabaka ne bawandiika okuloopa abaali mu Yuda ne Yerusaalemi.
7 Ku mirembe gya Alutagizerugizi Bisulamu n'awandiika ne Misuledasi ne Tabeeri ne banne abalala eri Alutagizerugizi kabaka w'e Buperusi: era ebbaluwa yawandiikirwa mu nnukuta ez'e Kisuuli, ne mu lulimi Olusuuli.
8 Lekumu ow’essaza ne Simusaayi omuwandiisi ne bawandiika ebbaluwa eri Alutagizerugizi kabaka okuloopa Yetvsaalemi bwe bati:
9 awo Lekumu owessaza ne Simusaayi omuwandiisi ne bannaabwe abalala ne bawandiika; Abadinayi n'Abafalasasuki n'Abataluperi n'Abafalusi n'Abalukevi n'Abababulooni n'Abasusanuki n'Abadekayi n'Abaweramu,
10 n’amawanga gonna amalala Osunappali omukulu ow'ekitiibwa ge yasomosa n'ateeka mu kibuga ky'e Samaliya ne mu nsi endala eri emitala w'omugga, n'ebirala bwe bityo.
11 Ebbaluwa eno eggiddwa mu bbaluwa gye baaweereza Alutagizerugizi kabaka; Abaddu bo abasajja abali emitala w'omugga n'ebirala bwe bityo.
12 Kabaka ategeere nga Abayudaaya abaava gy'oli ne bambuka batuuse gye tuli e Yerusaalemi; bazimba ekibuga ekyo ekijeemu ekibi, era bamaze bbugwe, era bamaze okuddaabiriza emisingi.
13 Kabaka nno ategeere ekibuga ekyo bwe kirizimbibwa ne bbugwe bw'aliggwa okukola, nga tebaliwa musolo, ebisalibwa, newakubadde empooza, kale enkomerero bakabaka balifiirwa.
14 Kale kubanga tulya omunnyo ogw'omu lubiri, so tetuigwana kulaba kabaka ng'anyoomebwa, kyetwava tutuma ne tutegeeza kabaka;
15 banoonye mu kitabo eky'okujjukiza ekya bajjajjaabo: bw'otyo bw'olisanga mu lutabo eky'okujjuluza, n'otegeera ng'ekibuga ekyo kibuga kijeemu, era nga kyonoona bakabaka n'amasaza era nga baajeemyanga abantu mu ekyo mu biro eby'edda: ekibuga ekyo kyekyava kizikirizibwa.
16 Tutegeeza kabaka, ekibuga ekyo bwe kirizimbibwa ne bbugwe bw'aliggwa okukola, nga olw'ekyo toliba na kitundu emitala w'omugga.
17 Awo kabaka n'atumira Lekumu owessaza ne Simusaayi omuwandiisi ne bannaabwe abalala abaali mu Samaliya ne mu nsi endala eri emitala w'omugga n'addamu nti Emirembe n'ebirala bwe bityo.
18 Ebbaluwa gye mwatuweereza esomeddwa mu maaso gange ne ngitegeera.
19 Ne nteeka etteeka, ne banoonya, era balabye ng'ekibuga ekyo okuva mu biro eby'edda kyasaliranga bakabaka enkwe, n'obujeemu n'ekyejo byakolerwanga omwo.
20 Era waabangawo bakabaka ab'amaanyi abaakulira Yerusaalemi abaafuganga ensi yonna eri emitala w'omugga: era baaweebwanga omusolo, ebisalibwa, n'empooza.
21 Muteeke nno etteeka abasajja bano balekere awo, ekibuga ekyo kireme okuzimbibwa okutuusa Iwe nditeeka etteeka eddala.
22 Era mwekuume muleme okutenguwa mu kino: akabi kandikulidde Id bakabaka ne bafiirwa?
22 Era mwekuume muleme okutenguwa mu kino: akabi kandikulidde ki bakabaka ne bafiirwa?
23 Awo ebbaluwa eggiddwa mu bbaluwa ya kabaka Alutagizerugizi bwe yasomerwa mu maaso ga Lekumu ne Simusaayi omuwandiisi ne bannaabwe, ne balyoka banguwa ne bagenda e Yerusaalemi eri Abayudaaya, ne babalekesaayo n'amaanyi n'amawaggali.
24 Awo omulimu ogw'omu nnyumba ya Katonda eri mu Yerusaalemi ne gulekebwayo; gwalekebwayo okutuusa omwaka ogw'okubiri ogw'okufuga kwa Daliyo kabaka We Buperusi.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]