Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Koseya Hosea

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14
1 Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abaana ba Isiraeri: kubanga Mukama alina empaka n'abo abali mu nsi, kubanga tewali mazima newakubadde okusaasira newakubadde okumanya Katonda mu nsi.
2 Tewali kintu wabula okulayira n'okumenya endagaano n'okutta n'okubba n'okwenda; bawaguza, n'omusaayi gukoma ku musaayi.
3 Ensi kyeriva ewuubaala, na buli muntu agituulamu aliyongobera, wamu n'ensolo ez'omu nsiko n'ennyonyi ez'omu bbanga; weewaawo, n'ebyennyanja ebiri mu nnyanja biriggibwawo.
4 Era naye waleme okubaawo omuntu awakana so waleme okubaawo anenya: kubanga abantu bo bali ng'abo abawakanya kabona.
5 Era olyesittala emisana, era ne nnabb: alyesittalira wamu naawe ekiro; era ndizikiriza nnyoko.
6 Abantu bange bazikiridde olw'okubulwa okumanya: kubanga ogaanyi okumanya nange ndikugaana ggwe, olemenga okubeera kabona gye ndi: kubanga weerabidde amateeka ga Katonda wo, nange adyerabira abaana bo.
7 Nga bwe baayala, bwe batyo bwe bannyonoona: ndiwaanyisa ekitii bwa kyabwe okuba ensonyi.
8 Ekibi ky'abantu bange ye mmere yaabwe, ne beegomba obutali butuukirivu bwabwe.
9 Awo olulituuk; ng'abantu bwe bali ne kabona bw'atyo: era ndibabonereza olw'ama kubo gaabwe, era ndibasasula ebikolwa byabwe.
10 Awo balirya ne batakkuta; balyenda so tebalyala: kubanga baleseeyo okussaayo omwoo eri Mukama.
11 Obwenzi n'onwenge n'omwenge omusu bimaawo okutegeera
12 Abantu bange beebuuza ku kikonge kyabwe, n’omuggo gwabwe gwe gubabuuira: kubanga omwoyo ogw'obwenzi gubakyamizza, era bagenze nga benda okuva wansi wa Katonda waabwe.
13 Basalira ssaddaaka ku ntikko z'ensozi, ne bootereza obubaane ku busozi, wansi w'emyalooni n'emiribine n'emyera, kubanga ekisiikirize kyagyo kirungi: bawala bammwe kyebava beefuula benzi, n'abagole bammwe benda.
14 Siribonereza bawala bammwe bwe beefuula abenzi, newakubadde bagole bammwe bwe bakabawala; kubanga bo bennyini beeyawula n'abakazi abatambuzi: n'abantu abaategeera balisuulibwa.
15 Ggwe, Isiraeri, newakubadde nga weefuula omwenzi, naye Yuda aleme okusoiya; so temujjanga e Girugaali, so emwambukanga e Besaveni, so emulayiranga nti Nga Mukama vw'ali omulamu.
16 Kubanga Isiraeri akoze eby'obukakanyavu ng'ente enduusi enkakanyavu: kaakano Aukama alibaliisa ng'omwana gw'eAiga mu kifo ekigazi.
17 Efulaimu yeegasse n'ebifaananyi; muleke.
18 Bye banywa bikaatuuse: benda olutata; abakulu be baagala inyo ensonyi.
19 Empewo emuaanikidde mu biwaawaatiro byayo; era balikwatibwa ensonyi olwa ssaldaaka zaabwe.

Top | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]