Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Koseya Hosea

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14
1 Bwe njagala okuwonya Isiraeri, obutali butuukirivu bwa Efulayimu ne bulyoka bulabika, n'obubi bwa Samaliya; kubanga bakola eby'obulimba: n'omubbi ayingira munda, n'ekibiina eky'abatemu banyagira ebweru.
2 So tebalowooza mu mitima gyabwe nga nze njijukira obubi bwabwe bwonna: kaakano ebikolwa byabwe bo bibazingizizza; biri mu maaso gange.
3 Basanyusa kabaka n'obubi bwabwe, n'abakungu n'eby'obulimba byabwe.
4 Bonna benzi; baliŋŋanga akabiga akakumibwa omwoki w'emigaati; alekera awo okuseesa omuliro ng'amaze okugoya obutta okutuusa lwe bunaamala okuzimbulukuka.
5 Ku lunaku lwa kabaka waffe abakungu beerwaza n'eddalu ery'omwenge: yagolola omukono gwe wamu n'abanyoomi.
6 Kubanga bategese omutima gwabwe ng'akabiga, nga bateega: obusungu bwabwe bwebaka ne bukeesa obudde; enkya bwaka ng'omuliro ogwaka.
7 Bonna babugumye ng'akabiga, ne balya abalamuzi baabwe; bakabaka baabwe bonna bagudde: tewali ku bo ankaabira.
8 Efulayimu yeetabula mu mawanga; Efulayimu mugaati ogutakyusibwa.
9 Bannaggwanga balidde amaanyi ge, so tamanyi: weewaawo, atobese envi, so tamanyi.
10 mu maaso ge: era naye tebaddanga eri 1flukama Katonda waabwe so tebamunoonyanga, ebyo byonna newakubadde nga bimaze okubaawo.
11 Era Efulayimu alinnanga ejjiba essirusiru eritalina magezi: bakaabira Misiri, bagenda eri Obwasuli.
12 Bwe baligenda, ndibasuulira ekitimba kyange; ndibassa wansi ng'ennyonyi ez'omu bbanga: ndibakangavvula ng'ekkuŋŋaaniro lyabwe bwe baawuliranga.
13 Zibasanze kubanga bawabye okunvaako; okuzikirira kubatuukeko! kubanga bansobezza: newakubadde nga njagala okubanunula, era naye banjogeddeko eby'obulimba.
14 So tebankaabidde n'omutima gwabwe, naye bawowogganira ku bitanda byabwe: bakuŋŋaanira eŋŋaano n'omwenge, banjeemera.
15 Newakubadde nga nayigiriza ne nnyweza emikono gyabwe, era naye banteesezzaako obubi.
16 Bakomawo naye si eri oyo ali waggulu; bali ng'omutego ogulimba: abakungu baabwe baligwa n'ekitala olw'okulaluka kw'olulimi lwabwe: kuno kwe kuliba okusekererwa kwabwe mu nsi y'e Misiri.

Top | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]