1 Mujje tudde eri Mukama: kubanga ye yataagula, era ye alituwonya; ye yafumita; era ye alitunyiga.
2 Ennaku bbiri nga ziyiseewo alitulamya: alitugolokosa ku lunaku olw'okusatu, naffe tuliba balamu mu maaso ge.
3 Era tumanye, tunyiikire okumanya Mukama; okufuluma kwe kwa nkalakkalira ng'enkya: era alijja gye tuli ng'enkuba, ng'enkuba eya ddumbi efukirira ettaka.
4 Ai Efulayimu, naakukola ntya? ai Yuda, naakukola ntya? kubanga obulungi bwammwe buliŋŋanga ekire eky'enkya era ng'omusulo oguggwaako nga bukyali.
5 Kyennavanga mbatemya bannabbi; nnabassanga ebigambo eby'omu kamwa kange: n'emisango gyo giriŋŋanga omusana ogufuluma.
6 Kubanga njagala ekisa so si ssaddaaka; n'okumanya Katonda okusinga ebiweebwayo ebyokebwa.
7 Naye bo nga Adamu basobezza endagaano: eyo bankuusizza.
8 Gireyaadi kibuga ky'abo abakola obutali butuukirivu, kisiigiddwako omusaayi.
9 Era ng'ebibiina eby'abatemu bwe balindirira omusajja, ekibiina ekya bakabona bwe battira bwe batyo mu kkubo erigenda e Sekemu; weewaawo, bakoze eby'obukaba.
10 Mu nnyumba ya Isiraeri mwe ndabidde ekigambo eky'ekiwe: obwenzi bulabikidde eyo mu Efulayimu, Isiraeri ayonoonese.
11 Era naawe, ai Yuda, ebikungulwa byakuteekerwawo, bwe ndikomyawo obusibe obw'abantu bange.