Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Koseya Hosea

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14
1 Teeka ekkondeere ku mumwa gwo. Ng'empungu bw'atyo bw'ajja okulumba ennyumba ya Mukama: kubanga basobezza endagaano ne boonoona amateeka gange.
2 Balinkaabira nti Katonda wange, ffe Isiraeri tukumanyi.
3 Isiraeri asudde ekirungi: omulabe alibayigganya.
4 Bataddewo bakabaka naye si ku bwange; balonze abakungu nange nga sikimanyi; beekoledde ebifaananyi ne ffeeza yaabwe ne zaabu yaabwe balyoke bamalibwewo.
5 Asudde ennyana yo, ai Samaliya; obusungu bwange bubaakiddeko: ebiro biryenkana wa okutuusa lwe baliba n'obutayonoona?
6 Kubanga n'ekyo kivudde mu Isiraeri; omukozi ye yakikola, so si Katonda n'akztono: weewaawo, ennyana ya Samaliya erimenyekamenyeka.
7 Kubanga basiga embuyaga, era balikungula embuyaga ez'akazimu: talina ŋŋaano emera; ekiti tekiribala mmere; n'okubala bwe kiriba kibaze, bannaggwanga baligiriira ddala.
8 Isiraeri aliiriddwa ddala: kaakano bali mu mawanga ng'ekibya ekitaliiko bwe kisanyusa.
9 Kubanga bambuse eri Obwasuli ng'entulege eri emu yokka: Efulayimu aguliridde abaganzi.
10 Weewaawo, newakubadde nga bagulirira mu mawanga, kaakano naabakuŋŋaanya; era batanudde okukendeera olw'omugugu gwa kabaka w'abalangira.
11 Kubanga Efulayimu ayongedde ebyoto okuleeta okwonoona, ebyoto kyebivudde bibeera gy'ali eky'okuleeta okwonoona.
12 Newakubadde nga muwandiikira amateeka gange mu biragiro kakumi, biyitibwa kintu kinnaggwanga.
13 Ssaddaaka ez'ebyange ebiweebwayo, bawaayo ennyama okuba ssaddaaka ne bagirya; naye Mukama tabakkiriza: kaakano anajjukira obutali butuukirivu bwabwe n'abonereza olw'ebibi byabwe; balidda mu Misiri.
14 Kubanga Isiraeri yeerabidde Omukozi we, n'azimba amayumba; era Yuda ayongedde ebibuga ebiriko enkomera: naye ndiweereza omuliro ku bibuga bye, era gulyokya ebigo byabyo.

Top | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]