1 Muwulire kino, mmwe bakabona, era muwulirize, mmwe myumba ya Isiraeri, era mutege matu, mmwe ennyumba ya kabaka, kubanga omusango guno gwammwe; kubanga mwabanga ekyambika e Mizupa, era ekitimba ekyasuulibwa ku Taboli.
2 Era abajeemu bagenze nnyo wansi nga batta; naye nze ndi munenya w'abo bonna.
3 Mmanyi Efulayimu, so ne Isiraeri tankisibwa: kubanga kaakano, ai Efulayimu, okoze eby'obwenzi, Isiaeri ayonoonese.
4 Ebikolwa byabwe tebibagaanye kukyukira Katonda waabwe: kubanga omwoyo ogw'obwenzi guli mu bo, so tebamanyi Mukama.
5 Era amalala ga Isiraeri gaba mujulirwa gy'ali mu maaso ge: Isiraeri ne Efulayimu kyebaliva beesittala mu butali butuukirivu bwabwe: era ne Yuda alyesittalira wamu nabo.
6 Baligenda n'embuzi zaabwe n'ente zaabwe okunoonya Mukama; naye tebalimulaba: abeeyawuddeko.
7 Bakuusizza Mukama; kubanga bazadde abaana ab'amakiro: kaakano omwezi ogwakaboneka gulibalya wamu n'ennimiro zaabwe.
8 Mufuuwe eŋŋombe mu Gibeya n'ekkondeere mu Laama: mulaye eŋŋoma e Besaveni; nti Ennyuma wo, ai Benyamini.
9 Efulayimu alifuuka matongo ku lunaku olw'okunenyezebwako: mmanyisizza mu bika bya Isiraeri ebyo ebitalirema kubaawo.
10 Abakungu ba Yuda bali ng'abo abajjulula akabonero k'ensalo: ndifuka obusungu bwange ku bo ng'amazzi.
11 Efulayimu ajoogeddwa, abetenteddwa mu kusalirwa omusango; kubanga yakkiriza okutambula okugoberera ekiragiro.
12 Kyenvudde mbeera eri Efulayimu ng'ennyenje, n'eri ennyumba ya Yuda ng'okuvunda.
13 Efulayimu bwe yalaba endwadde ye, ne Yuda n'alaba ekiwundu kye, kale Efulayimu n'agenda eri Obwasuli n'atumira kabaka Yalebu: naye tayinza kubawonya, so talibavumula ekiwundu kyammwe.
14 Kubanga ndiba eri Efulayimu ng'empologoma, era ng'empologoma ento eri ennyumba ya Yuda: nze, nze mwene, nditaagula ne nvaawo; nditwalira ddala so tewaliba wa kuwonya.
15 Ndigenda ne nzirayo mu kifo kyange okutuusa lwe balikkiriza okusobya kwabwe, ne banoonya amaaso gange: mu kubonyaabonyezebwa kwabwe mwe balinyiikiriza okunnoonya.