1 Paulo, omutume wa Kristo Yesu olw'okwagala kwa Katonda, ne Timoseewo ow'oluganda, eri ekkariisa ya Katonda eri mu Kkolinso, awamu n'abatukuvu bonna abali mu Akaya yonna:
2 ekisa kibeerenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo.
3 Yeebazibwe Katonda era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo, Kitaffe ow'okusaasira era Katonda ow'okusanyusa kwonna;
4 atusanyusa mu buli kibonoobono kyaffe, ffe tulyoke tuyinzenga okusanyusanga abali mu kubonaabona kwonna, n'okusanyusa ffe kwe tusanyusibwa Katonda.
5 Kuba ebibonyoobonyo bya Kristo aga bwe byeyongera ennyo gye tuli, era bwe kutyo n'okusanyusibwa kwaffe kweyongera nnyo ku bwa Kristo.
6 Naye bwe tubonaabona, tubonaabona olw'okusanyusibwa n'okulokoka kwammwe; era bwe tusanyusibwa, tusaayusibwa olw'okusanyusibwa kwammwe, okuleeta okugumiikiriza ebiboayoobonyo ebyo naffe bye tubonyaabonyezebwa:
7 era okusuubira kwaffe kunywera eri mmwe; nga tamanyi nti nga bwe mussa ekimu mu bibonyoobonyo, era bwe mutyo musse ekimu ne mu kusanyusibwa.
8 Kubanga tetwagala mmwe obutategeera, ab'oluganda eby'okubonaabona kwaffe okwatubaako mu Asiya, bwe twazitoowererwa ennyo nnyini okusinga amaanyi gaffe, era n'okusuubira ne tutasuubira kuba balamu:
9 era ffe bennyini twalimu okuddamu okw'okufa munda mu ffe, tuleme obwesige okubuteeka mu ffe fekka, wabula Katonda azuukiza abafu:
10 eyatuwonya mu kufa okunene okwenkana awo, era anaatuwonyanga: era gwe tusuubira edda alituwonya;
11 era mmwe bwe mubeera awamu ku lwaffe mu kusaba; bwe tulimala okuweebwa ekirabo olw'abantu abangi, abangi balyoke beebaze ku lwaffe.
12 Kubanga okwenyumiriza kwaffe kwe kuno, okutegeeza okw'omwoyo gwaffe, nga mu butukuvu ne mu mazima ga Katonda, si mu magezi ag'omubiri wabula mu kisa kya Katonda, bwe twatambulanga mu nsi era okusinga ennyo eri mmwe.
13 Kubanga tetubawandiikira birala wabula ebyo bye musoma era n'okwatula bye mwatula, era nsuubira nga munaabyatulanga okutuusa enkomerero:
14 nga n'okwatula bwe mwatwatulako akatono, nti ffe tuli kwenyumiriza kwammwe, era nga nammwe bwe muli gye tuli, ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu.
15 Ne mu kusuubira kuno nnali njagala okujja gye muli edda, mulyoke muweebwe ekisa olw'okubiri;
16 n'okuyita gye muli okugenda e Makedoni, n'okuva nate e Makedoni okujja gye muli, n'okusibirirwa mmwe okugenda e Buyudaaya.
17 Kale bwe nnali njagala bwe ntyo, nnalagaalaganya? oba bye ateesa, mbiteesa kugoberera mubiri, nze okuba n'ebyo nti weewaawo, weewaawo, ate nti si weewaawo, si weewaawo?
18 Naye nga Katonda bw'ali omwesigwa, ekigambo kyaffe ekiri eri mmwe si bwe kiti nti weewaawo ate nti si weewaawo.
19 Kubanga Omwana wa Katonda, Yesu Kristo, ffe gwe twabuulira mu mmwe, nze ne Sirwano ne Timoseewo, teyali nti weewaawo ate nti si weewaawo, naye mu ye mwe muli weewaawo.
20 Kubanga mu byonna byonna Katonda bye yasuubiza, mu oyo mwe muli weewaawo: era oyo kyava aleeta Amiina, Katonda atenderezebwe ku bwaffe.
21 Naye. atunyweza ffe awamu nammwe mu Kristo, era eyatufukako amafuta, ye Katonda;
22 era eyatussaako akabonero, n'atuwa omusingo ogw'Omwoyo mu mitima gyaffe.
23 Naye nze mpita Katonda okuba omujulirwa w'emmeeme yange, nga kyennava nnema okujja mu Kkolinso, kubanga nnabasaasira.
24 Si kubanga tufuga okukkiriza kwammwe, naye tuli bakozi bannammwe ab'essanyu lyammwe: kubanga okukkiriza kwe kubayimiriza.