1 Naye aze kennyini Pawulo mbeegayirira olw'obukkakkamu n'obuwombeefu bwa Kristo, nze gwe mutoowaza bwe mba ssiriiwo mpitibwa muzlra;
2 kale mbeegayirira bwegayirizi, lwe ndibaawo nneme okubalaga obuzira obwo bwe ndowooza okuba nabwo eri abalala abalowooza nga ffe tutambuIa okugobereranga omubiri.
3 Kuba newakubadde nga tutambulira mu mubiri, tetulwana kugobereranga mubiri
4 (kubanga ebyokulwanyisa eby'entalo zaffe si bya mubiri, naye bya maanyi eri Katonda olw'okumenya ebigo);
5 nga tumenya empaka na buli kintu ekigulumivu ekikulumbazibwa okulwana n'okutegeera kwa Katonda, era nga tujeemula buli kirowoozo okuwulira Kristo;
6 era nga tweteeseteese okuwalana eggwanga ku butagonda bwonna, okugonda kwammwe bwe kulituukirira.
7 Mutunuulire ebintu nga bwe biri. Omuntu yenna bwe yeewulira muli nga wa Kristo yeerowonze kino nate yekka nti nga ye bw'ali owa Kristo, era na$e bwe tutyo,
8 Kubanga ne bwe ndisukkirira okwenyumiriza olw'obuyinza bwaffe (Mukama waffe bwe yatuwa olw'okubazimba, so si lwa kubasuula), ssirikwatibwa nsonyi:
9 nneme okufaanana ng'abatiisa n'ebbaluwa zange:
10 Kubanga boogera nti Ebbaluwa ze nzibu, za maanyi; aaye bw'abaawo omubiri gwe munafu, n'okwogera kwe si kintu:
11 Ali bw'atyo alowooze kino nti nga bwe tuli mu bigambo mu bbaluwa nga tetuliiyo, era bwe tutyo: bwe tuli mu bikolwa nga tuli eyo.
12 Kubanga tetwanijanga kwerowooza nga tuli ku muweado gw'abalala ku bo abeetendereza bokka newakubadde okwegeraageranya nabo: naye bo bokka nga beegeza bokka na bokka, era nga beegeraageranya bokka na bokka, tebalina magezi.
13 Naffe ffe tetulyenyumiriza okusinga ekigera kyaffe, wabula mu kigera eky'ensalo Katonda gye yatugabira okuba ekigera, era n'okutuuka ne gye muli:
14 Kubanga tetukununkiriza kusinga kigera ng'abatatuuka gye muli: kubanga era twajja n'okutuuka gye muli mu njiri ya Kristo:
15 nga tetwenyumiriza kusinga kigera kyaffe mu mirimu egy'abalala: naye nga tusuubira, okukkiriza kwammvee bwa kukula okuguiumizibwa mu mmwe ng'ensalo yaffe bw'eri okusukkirira,
16 era n'okubuulira enjiri mu bifo ebiri ewala okusinga mmwe, era obuteenyumiiiza mu nsalo ey'abalala olw'ebyeteeseteese.
17 Naye eyeenyumiriza yeenyumirizenga mu Mukama waffe.
18 Kubanga eyeetendereza yekka si ye asiimibwa, wabula Mukama waffe gw'atendereza.