1 Tutanula nate okwetendereza fekka? oba twetaaga ebbaluwa, ng'abalala, ez'okutendereza eri jnmwe, oba eziva gye muli?
2 Mmwe muli bbaluwa yaffe, ewandiikiddwa mu mitima gyaffe abantu bonna gye bategeera, basoma; .
3 nga mulabisibwa okuba ebbaluwa ya Kristo, ffe gye twamuweererezaamu, etaawandiikibwa na bwino, wabula Omwoyo gwa Katonda omulamu; si ku bipande eby'amayinja, wabula ku bipande mitima egy'omubiri
4 Era bwe tutyo bwe twesiga Katonda ku bwa Kristo:
5 si kubanga fekka tulina obuyinza, okulowoona ekigambo kulowooza ekigambo kyonna nga ekiva gye tuli; naye obuyinza bwaffe buva eri Katonda
6 era eyatuyinzisa ng'abaweereza b'endagaano empya; si baweereza ba nnukuta, wabula ab’omwoyo: kubanga nnukuta etta; naye omwoyo guleeta obulamu.
7 Naye oba okuweereza okw’okufa okwali mu nnukuta, okwasalibwa ku mayinja, kwajjira mu kitiibwa, amayinja, kwajjira mu kitiibwa, abaana ba Isiraeri n'okuyinza ne batayinza kwekaliriza maaso ga Musa olw'ekitiibwa ky’amaaso ge; ekyali kigenda akuggwaawo:
8 okuweereza okw'omwoyo tekulisinga kuba na kitiibwa?
9 Kuba oba kitiibwa eereza okw'omusango kye ng’okuweereza okw'obutuukirivu kweyongera nnyo okusukkiriza kitiibwa.
10 Kubanga ekyaweebwa ekitiibwa tekyakiwebwa mu kigambo kino, olw'ekitiibwa ekisinga ekyo.
11 Kuba oba ng'ekyaggwaawo kyalina ekitiibwa, eky'olubeerera kisinga ennyo okuba n’ekitiibwa.
12 Kale nga bwe tulina essuubi eryenkana awo, twogera n'obuvumu bungi
13 so si nga Musa eyeebi kkanga ku maaso ge, abaana ba Isiraeri balemenga okwekaliriza enkomerero y'ekyo ekyali kiggwaawo:
14 naye amagezi gaabwe gaakakanyazibwa: kubanga n'okutuusa leero eky'okubikkako kiri kikyaliwo mu kusomebwa kw'endagaano ey'edda nga tekinnaggibwawo; ekyo kivaawo mu Kristo.
15 Naye n'okutuusa leero, ebya Musa bwe bisomebwa, eky'okubikkako kiri ku mutima gwabwe.
16 Naye bwe gukyukira Mukama waffe, eky'okubikkako kiggibwawo.
17 Naye Mukama waffe gwe Mwoyo: era awaba Omwoyo gwa Mukama waffe we waba eddembe.
18 Naye ffe fenna, bwe tumasamasa ng'endabirwamu ekitiibwa kya Mukama waffe amaaso, gaffe nga gaggiddwako eky'okubikkako, tufaananyizibwa engeri eri' okuva mu kitiibwa okutuuka mu kitiibwa, nga ku bwa Mukama waffe Omwoyo.