Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

2 Abakkolinso 2 Corinthians

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13
1 Era tubategeeza, ab'oluganda, ekisa kya Katonda ekyaweebwa mu kkanisa ez'e Makedoni;
2 mu kubonaabona okwabakema etmyo essanyu lyabwe eryasukkirira, n'obwavu bwabwe obwayinga obungi byasukkirira mu bugagga obw'obugabi bwabwe.
3 Kubanga, ntegeeza bo, baagaba bokka nga bwe baayinza era n'okusinga obuyinza bwabwa,
4 nga batusaba n'okwegayirira okungi olw'ekisa ekyo n'okussa ekimu okwo mu kuweereza abatukuvu;
5 so si nga bwe nnali ndowooza, naye baasooka okwewaayo bokka eri Mukama waffe, n'eri ffe mu kwagala kwa Katonda.
6 Kyetwava tubuulirira Tito, nga bwe yatanula edda, era bw'atyo alyoke akituukirize era n'ekisa ekyo gye muli.
7 Naye nga bwe musukkirira mu byonna, mu kukkiriza, ne mu kwogera, ne mu kutegeera, ne mu kufuba kwonna, ne mu kwagala kwammwe eri ffe, era musukkirirenga ne mu kisa ekyo.
8 Soogera nga mbalagira bulagizi, wabula olw'okufuba kw'abalala nga nkema okwagala kwammwe nga kwa mazima.
9 Kubanga mutegeera ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo, nti bwe yali omugagga, naye n'afuuka omwavu ku lwammwe, obwavu bwe bulyoke bubagaggawaze mmwe.
10 Era mbagambye kye ndowooza olw'ekyo: kubanga kibasaanira mmwe, abaasooka okutanula, si kukola kwokka, era naye n'okwagala, nga mwakamala omwaka gumu.
11 Naye kaakano mutuukirize n'okukola; nga bwe waaliwo okwagala amangu, era n'okutuukiriza bwe kutyo kulyoke kubeerewo, nga hwe muyinza;
12 Kuba oba nga waliwo okwagala amangu, kukkirizibwa ng'omuntu bw'alina, si nga bw'atalina.
13 Kubanga soogedde bwe ntyo, abalala bawummuzibwe, na mmwe muteganyizibwe:
14 wabula olw'okwenkanankana, okusukkirira kwammwe kuweereze okwetaaga kwabwe kaakano mu biro bino, era n'okusukkirira kwabwe kulyoke kuweereze okwetaaga kwammwe; okwenkanankana kubeerewo:
15 nga bwe kyawandiikibwa nti Eyakuŋŋanyanga ennyingi, teyasigazangawo; naye eyakuŋŋaanyanga akatono, teyeetaaganga.
16 Naye Katonda yeebazibwe, eyassa mu mutima gwe Tito okufuba okwo ku lwammwe.
17 Kubanga okukktnza akkirizza okubuulirira kwaffe; kubanga naye yennyini alina okufuba okungi, asitula okugenda gye muli nga yeetuma.
18 Era tutuma wamu naye ow'oluganda, atenderezebwa mu njiri mu kkanisa zonna;
19 so si ekyo kyokka, era so naye oyo ye yalondebwa ekkanisa okutambula naffe olw'ekisa ekyo, kye tuweereza ffe Mukama waffe aweebwe ekitiibwa, era tulage okwa,gala kwaffe amangu:
20 nga twetwala ekyo, omuntu obutatunenya olw'ekirabo kino kye tuweereza:
21 kubanga tuteekateeka ebirungi, si mu maaso ga Mukama waffe mwokka, era naye ne mu maaso g'abantu.
22 Era tutuma wamu nabo muganda waffe, gwe twakemanga emirundi emingi mu bigambo ebingi nga munyiikivu, naye kaakano muayiikivu nnyo. okusingawo, olw'okwesiga okungi kw'alina eri mmwe.
23 Omuntu bw'anaabuuzanga ebya Tito, ye assa ekimu nange era ye mukozi munnange eri mmwe; oba bya baganda baffe, be babaka ab'ekkanisa, abo kye kitiibwa kya Kristo:
24 Kale mubalage mu maaso g'ekkanisa ekiraga okwagala kwammwe n'okwenyumiriza kwaffe ku lwammwe.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]