Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

2 Abakkolinso 2 Corinthians

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13
1 Kubanga eby'okuweereza abatukuvu tekinneetaagisa kubibawandiikira:
2 kubanga mmanyi okwagala kwammwe, kwe nneenyumiririzaamu eri ab'e Makedoni ku lwammwe, nga Akaya yaakamala omwaka gumu okweteekateeka; n'okunyiikira kwammwe kwakubiriza bangi mu bo:
3 Naye nttama ab'oluganda, okwenyumiriza kwaffe ku lwammwe kuleme okuba okw'obwereere mu kigambo ekyo; nga bwe njogedde, mulyoke mweteeketeeke:
4 mpozzi ab'e Makedoni abalala bwe balijja nange, bwe.balibasanga nga temweteeseteese, ffe (obutoogera mmwe) tuleme okukwatibwa ensonyi mu kusuubira okwo.
5 Kyenvudde ndowooza nga kiŋŋwanidde okwegayirira ab'oluganda, bankulembere: okujja gye muli, basooke balongoose omukisa gwammwe gwe mwasuubiza edda, gulyoke gweteeketeeke, ng'omukisa, so si ng'ekisoloozebwa.
6 Naye kye njogedde kino nti Asiga entono, alikungula ntono; era asiga ennyingi, alikungula nnyingi.
7 Buli muntu akolenga nga bw'amaliridde mu mutima gwe; si lwa nnaku, newakubadde olw'okuwalirizibwa: kubanga Katonda ayagala oyo agaba n'essanyu.
8 Era Katonda ayinza okwaza ekisa kyonna gye muli mmwe nga mulina ebibamala byonna ennaku zonna mu bigambo byonna mulyoke musukkirirenga mu bikolwa byonna ebirungi:
9 aga bwe kyawandiikibwa nti Ye asasaanya, yagabira abaavu Obutuukirivu bwe bwa lubeerera emirembe gyonna,
10 Era oyo awa ensigo omusizi n'emmere ey'okulya, anaabawanga anaabongerangako ensigo zammwe; era anaayazanga ebibala eby'obutuukirivu bwammwe:
11 nga mugaggawazibwa mu byonna mukolenga obugabi bwonna, obwebazisa Katonda mu ffe.
12 Kubanga okugaba okw'okuweereza okwo ekujjula bujjuzi ekigera ky'ebyo abatukuvu bye beetaaga, era naye kusukkirira olw'okwebaza okungi eri Katonda;
13 kubanga olw'okukemebwa kwammwe mu kuweereza kuno batendereza Katonda olw'okugonda oka okwatula kwammwe eri enjiri ya Kristo, n'olw'obugabi bw'okugabana kwammwe eri bo n'eri bonna;
14 era bo bokka nga balumirwa mmwe emyoyo mu kubasabira olw'ekisa kya Katonda ekitasingika mu mmwe:
15 Katonda yeebazibwe olw'ekirabo kye ekitayogerekeka.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]