1 Era Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti
2 Omuntu bw'anaabAnga n'ekizimba oba kikuta oba mbalabe etvngudde ku ddiba ly'omubiri gwe, ne kifuuka endwadde y'ebigenge ku ddiba ly'omubiri gwe, kale anaaleetebwanga eri Alooni kabona, oba eri omu ku baana be bakabona:
3 kale kabona anaakeberanga endwadde eri ku ddiba ly'omubiri: era obwoya obuli awali endwadde bwe buba nga bufuuse obweru, ne kifaananyi ky'endwadde nga kifulumye wansi w'eddiba ly'omubiri gwe, nga ye ndwadde y'ebigenge: awo kabona anaamukeberanga, n'amwatulira nga si mulongoofu.
4 Era embalabe erungudde bw'ebanga enjeru ku ddiba ly'omubiri gwe, n'ekifaananyi kyayo nga tekifulumye wansi w'eddiba, n'obwoya bwawo nga tebufuuse bweru, kale kabona snaasibiranga ow'endwadde ennaku musanvu:
5 awo kabona alimukebera ku lunaku olw'omusanvu: kale, laba, bw'anaalabanga ng'endwadde ekomye awo; n'endwadde nga tebunye ku ddiba, awo kabona anaamusibiranga ennaku musanvu endala:
6 awo kabona alimukebera nate ku lunaku olw'omusanvu: kale, laba, endwadde bw'eba nga tekyalabika nnyo, n'endwadde nga tebunye ku ddiba, kale kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu: nga kye kikuta: kale anaayozanga engoye ze, n'aba mulongoofu
7 Naye ekikuta bwe kinaabunanga ku ddiba, ag'amaze okweraga eri kabona olw'okulongoosebwa kwe, aneeraganga nate eri kabona:
8 kale kabona anaakeberanga, era, laba, ekikuta bwe kinaabanga kibunye ku ddiba, awo kabona anaamwatuliranga nga si mulongaofu: nga bye bigenge.
9 Endwadde y'ebigenge bw'ebanga ekutte omuntu, awo anaaleetebwanga eri kabona;
10 kabona n'akebera, kale, laba, ekizimba ekyeru bwe kinaabanga ku ddiba, era nga kifudde obwoya okuba obweru, era ennyama enjere ennamu ng'eri awali ekizimba,
11 nga bye bigenge eby'edda ku ddiba ly'omubiri gwe, era kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu: tamusibanga; kubanga oyo si mulongoofu.
12 Era ebigenge bwe bifuutuukanga ku ddiba, ebigenge ne bibuna eddiba lyonna ery'omulwadde okuva ku mutwe okutuusa ku bigere, okulaba kwonna kabona kw'anaalabanga;
13 kale kabona anaakeberanga: awo, laba, ebigenge bwe binaabanga bibunye omubiri gwe gwonaa, anaamwatuliranga omulwadde nga mulongoofu: byonna bifuuse okuba ebyeru: oyo mulongoofu.
14 Naye ennyama enjere bw'eneerabikanga ku yc, anaabanga atali mulongoofu.
15 Awo kabona anaakebeianga ennyama enjere, n'amwatulira nga si mulongoofu: ennyama enjere si nnongoofu: bye bigenge.
16 Oba ennyama enjere bw'ekyukanga nata n'efuuka okuba enjeru, kale anajjanga eri kabona,
17 kabona n'amukebera: era, laba, endwadde bw'ebanga efuuse okuba onjeru, kale kabona anaamwatulirangs onnulwadde nga mulongoofu: oyo mulongoofu.
18 Era omubiri bwe gunaabangako ejjute ku ddiba lyagwo, nalyo nga lyawona,
19 n'awaali ejjute ne wabaawo ekizimba ekyeru, oba mbalabe erungudde, enjeruyeru era emmyufumyufu, kale kinaalagibwanga kabona;
20 awo kabona anaakeberanga, era, laba, ekifaananyi kyakyo bwe kinaabanga nga kifulumye wansi w'eddiba, a'obwoya bwawo nga bufuuse okuba obweru, hale kabona anamwatuliranga nga si mulongoofu: ye ndwadde y'ebigenge, efulumye mu jjute.
21 Naye kabona bw'anaakikeberanga, era, laba, nga temuli bwoya bweru, so nga tekifulumye wansi w'eddiba, naye nga tekirabika bulungi, awo kabona anaamusibiranga ennaku musanvu:
22 awo bwe kinaabunanga ku ddiba, awo kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu: eyo ye ndwadde:
23 Naye embalabe erungudde bw'eneekomanga 'awo, era nga tebunye, eyo nga ye enkovu ey'ejjute; awo kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu.
24 Oba omubiri bwe gunaabangako okwokebwa n'omuliro ku ddiba lyagwo, ennyama ennamu eyokeddwa n'efuuka okuba embalabe erungudde, enjeruyeru era lemmyufumyufu, oba njeru;
25 awo kabona anaagikeberanga: era, laba, obwoya obw'omu mbalabe erungudde bwe bunaabanga bufuuse okuba obweru, n'ekifaananyi kyayo nga kifulumye wansi w'eddiba; bino bye bigenge, byafuluma awaayokebwa: kale kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu: nga ye ndwadde y'ebigenge.
26 Naye kabona bw'anaagikeberanga, era, laba, nga tewali bwoya bweru awali embalabe erungudde, so nga tefulumye wansi w'eddiba, naye nga terabika bulungi; kale kabona anaamusibiranga ennaku musanvu:
27 kale kabona alimukebera ku lunaku olw'omusaavu: bw'eneebunanga ku ddiba, kale kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu: nga ye ndwadde y'ebigenge.
28 Era embalabe erungudde bw'eneekomanga awo, nga tebunye ku ddiba, era nga terabika bulungi; nga kye kizimba eky'okwo kebwa, era kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu: kubanga eyo ye nkovu ey'okwokebwa.
29 Era omusajja oba mukazi bw'anaabanga n'endwadde ku mutwe oba ku kirevu,
30 kale kabona anaakeberanga endwadde: awo, laba, ekifaananyi kyayo bwe kinaabanga nga kifulumye wansi w'eddiba, era nga mulimu enviiri eza kyenvu ez'entalaaga, kale kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu: ekyo kye kikakampa, bye bigenge eby'oku mutwe oba eby'oku kirevu.
31 Era kabona bw'anaakeberanga endwadde ey'ekikakampa, era, laba, ekifaananyi kyayo nga tekifulumye wansi w'eddiba, so nga tewali nviiri nzirugavu, kale kabona anaamusibiranga omulwadde w'ekikakampa ennaku musanvu:
32 awo ku lunaku olw'omusanvu kabona alikebera endwadde: era laba, ekikakampa bwe kinaabanga nga tekibunye, so nga tewali nviiri za kyenvu, n'ekifaananyi ky'ekikakampa nga tekifulumye wansi w'eddiba,
33 kale anaamwebwanga, naye ekikakampa takimwanga; era kabona anaasibiranga omulwadde w'ekikakampa ennaku musanvu endala:
34 awo ku lunaku olw'omusanvu kabona alikebera ekikakampa: kale, laba, ekikakampa bwe kinaabanga nga tekibunye ku ddiba, n'ekifaananyi kyakyo nga tekifulumye wansi w'eddiba; awo kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu: kale anaayozanga engoye ze, n'aba mulongoofu.
35 Naye ekikakampa bwe kinaabunanga ku ddiba ng'amaze okulongoosebwa;
36 awo kabona anaamukeberanga: era, laba, ekikakampa bwe kinaabanga kibunye ku ddiba, kabona tanoonyanga nviiri za kyenvu; oyo si mulongoofu.
37 Naye bw'anaalabanga ng'ekikakampa kikomye awo, n'enviiri enzirugavu nga zimezeewo; ekikakampa nga kiwonye, oyo mulongoofu: kale kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu.
38 Era omusajja oba mukazi bw'anaabanga n'embalabe ezirungudde ku ddiba ly'omubiri gwabwe, ze mbalabe ezirungudde enjeru;
39 kale kabona anaakeberanga: awo, laba, embalabe ezi rungudde eziri ku ddiba ly'omubiri gwabwe bwe zinaabanga enjeruyeru; nga bwe butulututtu, nga bufulumye mu ddiba; oyo mulongoofu.
40 Era omusajja bw'anaabanga akuunyuuse enviiri ez'oku mutwe gwe, oyo nga wa kiwalaata; (naye) mulongoofu.
41 Era bw'anaabanga akuunyuuse enviiri ez'omu kawumpo, nga wa kiwalaata kya mu kawumpo; naye nga mulongoofu.
42 Naye endwadde enjeruyeru era emmyafumyufu bw'eneebanga ku mutwe ogw'ekiwalaata oba mu kawumpo ak'ekiwalaata; ebyo bye bigenge ebifuluma mu mutwe gwe ogw'ekiwalaata oba mu kawumpo ke ak'ekiwalaata.
43 Awo kabona anaamukeberanga: kale, laba, ekizimba eky'endwadde bwe kinaabanga ekyeruyeru era ekimyufumyufu ku mutwe gwe ogw'ekiwalaata, oba mu kawumpo ke ak'ekiwalaata, ng'ekifaananyi ky'ebigenge bwe kiri ku ddiba ly'omubiri;
44 oyo nga wa bigenge, si mulongoofu: kabona talemanga kumwatulira nga si mulongoofu; endwadde ng'eri ku mutwe gwe.
45 Era omugenge alina endwadde, engoye ze zinaabanga enjulifuyulifu, n'enviiri ez'oku mutwe gwe tazisibangako, era anaabikkanga ku mumwa gwe ogw'engulu, era anaayagereranga waggulu nti Siri mulongoofu, siri mulongoofu.
46 Ennaku zonna eadwadde ng'ekyali ku ye anaabanga atali mulongoofu; si mulongoofu: anaabeeranga yekka; ennyumba ye eneebanga bweru wa lusiisira.
47 Era n'ekyambalo ekiriko endwadde y'ebigenge, oba kyambalo kya byoya bya ndiga oba kyambalo kya bafuta;
48 bwe bibanga ku wuuzi ez'obusimba oba ku z'obukiika; oba kya bafuta oba kya byoya; bwe bibanga ku ddiba oba ku kintu ekikolebwa n'eddiba;
48 endwadde bw'eneebanga eya nnawandagala oba emmyufumyufu ku kyambalo, oba ku ddiba, oba ku wuuzi ez'obusimba, oba ku z'obukiika, oba ku kintu kyonna eky'eddiba; eyo nga ndwai dde ya bigenge, era eneeragibwanga kabona:
49 awo kabona anaakeiberanga endwadde, n'asibira eki kyambalo, oba ku wuuzi ez'obusimba, oba ku z'obukiika, oba ku ddiba, omulimu gwonna eddiba gwe likola; endwadde nga bigenge ebirya; nga si kirongoofu.
50 Awo anaayokyanga ekyambalo, oba wuuzi za busimba, oba za bukiika, oba ng'eri mu byoya oba mu bafuta, oba mu kintu kyonna eky'eddiba, omuli endwadde: kubanga ebyo bye bigenge ebirya; kinaayokebwanga mu muliro.
51 Era kabona bw'anaakeberanga, kale, laba, endwadde nga tebunye mu kyambalo, newakubadde mu wuuzi ez'obusimba, newakubadde mu z'obukiika, newakubadde mu kintu kyonna eky'eddiba;
52 kale kabona anaalagiranga booze ekintu ekirimu endwadde, n'akisibira ennaku musanvu endala:
53 awo kabona anaakeberanga, endwadde ng'emaze okwozebwa: kale, laba, endwadde bw'eneebanga tekyusizza bbala lyayo, era endwadde nga tebunye, ekyo nga si kirongoofu; onookyokyanga mu muliro: eyo ye ndwadde erya, okukuubuuka bwe kunaabanga munda oba kungulu.
54 kale kabona anaalagiranga booze ekintu ekirimu endwadde, n'akisibira ennaku musanvu endala:
55 awo kabona anaakeberanga, endwadde ng'emaze okwozebwa: kale, laba, endwadde bw'eneebanga tekyusizza bbala lyayo, era endwadde nga tebunye, ekyo nga si kirongoofu; onookyokyanga mu muliro: eyo ye ndwadde erya, okukuubuuka bwe kunaabanga munda oba kungulu.
56 Era kabona bw'anaakeberanga, era, laba, endwadde nga terabika bulungi ng'emaze okwozebwa, kale anaagiyuzanga okugiggya mu kyambalo oba mu ddiba, oba mu wuuzi ez'obusimba, oba mu z'obukiika:
57 era bw'eneebanga ekyalabika mu kyambalo, oba mu wuuzi ez'obusimba, oba mu z'obukiika, oba mu kintu kyonna eky'eddiba, ng'efuutuuka: onooyokyanga n'omuliro ekyo ekirimu endwadde.
58 N'ekyambalo oba wuuzi ez'obusimba, obali ez'obukiika, oba kintu kyonna eky'eddiba nga bwe kinaabanga, ky'onooyozanga, endwadde bw'eneebanga, ebivuddemu, kale ne kiryoka kyozebwanga omulundi ogw'okubiri, ne kiba kirongoofu.
59 Eryo lye tteeka ery'endwadde y'ebigenge mu kyambalo eky'ebyoya oba mu kyall bafuta, oba muwuuzi ez'obusimba, oba mu z'obuliika, oba mu kintu kyonna eky'eddiba, okukyatuliranga nga kirongoofu, oba okukyatuliranga nga si kirongoofu.