Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Ebyabaleevi Leviticus

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27
1 Mukama n'agamba Musa nti
2 Yogera ne Alooni ne batabani be n'abaana ba Isiraeri bonna, obagambe nti Ekigambo kino Mukama ky'alagidde, ag'ayogera nti
3 Bwe wabangawo omuntu yenna ow'omu nnyumba ya Isiraeri, anattiranga ente, oba omwana gw'endiga, oba embuzi, mu lusiisira, oba anaagittiranga ebweru w'olusiisira,
4 n'atagiretta ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, okugiwaayo okuba ekitone eri Mukama mu maaso g'ennyumba ya Mukama: omusaayi gunaamubalirwanga omuntu oyo; ng'ayiye omusaayi; era omuntu oyo anaazikirizibwanga mu bantu be:
5 abaana ba Isiraeri balyoke baleetenga ssaddaaka zaabwe, ze baweerayo mu ttale mu bbanga bazireetenga eri Mukama, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, eri kabona, ne baziwaayo okuba ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama.
6 Awo kabona anaamansiranga omusaayi ku kyoto kya Mukama ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ayokya amasavu okuba evvumbe eddungi eri Mukama.
7 So tebakyawangayo ssaddaaka zaabwe eri embuzi ennume, ze bagoberera okwenda nazo. Eryo linaabanga tteeka gye ball ennaku zonna mu mirembe gyabwe gyonna.
8 Era onoobagamba nti Bwe wanaabangawo omuntu yenna ow'omu nnyumba ya Isiraeri oba ku bagenyi abanaatuulanga mu bo, anaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa oba ssaddaaka,
9 n'atakireeta ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, okukiwaayo eri Mukama; omuntu oyo anaazikirizibwanga mu bantu be.
10 Era bwe wanaabangawo omuntu yenna ow'omu nnyumba ya Isiraeri, oba ku bagenyi abanaatuulanga mu bo, anaalyanga ku musaayi gwonna gwonna; n'ateekanga amaaso gange okwolekera omuntu oyo alya ku musaayi, ne mmuzikiriza mu bantu be.
11 Kubanga obulamu bw'ennyama buba mu musaayi: era ngubawadde ku kyoto okutangiriranga obulamu bwammwe: kubanga omusaayi gwe gutangirira olw'obulamu.
12 Kyennava nnamba abaana ba Isiraeri nti Tewabanga ku mmwe muntu anaalyanga ku musaayi, so n'omugenyi yenna anaatuulanga mu mmwe talyanga ku musaayi:
13 Era bwe wanaabangawo omuntu yenna ku baana ba Isiraeri, oba ku bagenyi abanaatuulanga mu bo, anaakwatanga ensolo yonna oba nnyonyi yonna eriika ng'ayigga; anaayiwanga omusaayi gwayo, n'agubikkako n'enfuufu.
14 Kubanga obulamu bw'ennyama yonna, omusaayi gwayo guba gumu n'obulamu bwayo: kyennava ŋŋamba abaana ba Isiraeri nti Temulyanga ku musaayi gwa nnyama yonna yonna: kubanga obulamu bw'ennyama yonna gwe musaayi gwayo: buli anaagulyangako anaazikirizibwanga.
15 Era buli muntu anaalyanga ku eyo efa yokka, oba etaaguddwa ensolo, oba nzaalwa oba mugenyi, anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi: n'alyoka aba mulo ngoofu.
16 Naye bw'ataabyozenga, n'atanaaba mubiri gwe, kale anaabangako obutali butuukizivu bwe.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]