1 Mukama n'agamba Musa nti
2 Omuntu yenna bw'ayonoonanga, n'asobya ku Mukama, n'alyazaamaanya muliraanwa we mu higambo eby'okuteresa, oba mu by'okulamulagana, oba mu by'okunyaga, oba bw'abanga ajooze muliraanwa we;
3 oba bw'aba ng'azudde ekyazaawa, n'akiryazaamaanya, n'alayira eby'obulimba; mu kigambo kyonna ku ebyo byonna omuntu ky'akola ng'ayonoona bw'atyo;
4 kale olunaatuukanga bw'aba ng'ayonoonye era ng'aliko omusango, anazzangayo ekyo kye yanyaga, oba kye yafuna olw'okujooga, oba ekyateresebwa kye baamukwasa, oba ekyazaawa kye yazuula
5 oba ekintu kyonna kye yalayirira ng'alimba; anaakizzangayo kyonna, era anaakyongerangako ekitundu kyakyo eky'okutaano: nannyini kyo gw'alikiwa ku lunaku lw'alirabika ng'aliko omusango.
6 Era anaaleetanga ekyo ky'awaayo olw'omusango eri Mukama, endiga ennume eteriiko bulema ey'omu kisibo, aga bw'onoosalanga okuba ekiweebwayo olw'omusaago, eri kabona:
7 ne kabona anaamutaagiriranga mu maaso ga Mukama, naye anaasonyiyibwanga; mu bigambo byonna bye yali akoze ebimuleetako omusango.
8 Mukama n'agamba Musa nti
9 Lagira Alooni a'abaana be ati Lino lye tteeka ery'ekiweebwayo ekyokebwa: ekiweebwayo ekyokebwa kinaabanga ku nktl zaakyo kyoto, kinaasulangako okukeesa obudde; era omuiiro ogw'omu kyoto gunaakumibwanga omwo obutazikiranga.
10 Era kabona anaaya mbalaaga ekyambalo kye ekya ba futa, ne seruwale ye eya bafu anaagyambalanga ku mubiri gwe; kale anaasitulanga ewu erivudde mu kiweebwayo ekyokebwa omuliro kye gwokezza ku kyoto, era anaaliteekanga ku mabbali g'ekyoto.
11 Awo anaayambulanga ebyambalo bye, n'ayambala ebyambalo ebirala, n'atwala, ewu ebweru w'olusiisira eri ekifo ekirongoofu.
12 Era omuliro oguli ku kyoto gunaakumibwanga omwo obutazikiranga; era kabona anaayokerangako enku buli nkya: era anaakiteekerateekerangako ekiweebwayo ekyokebwa, era anaakyokerangako amasavu ag'ebiweebwayo olw'emirembe.
13 Omuliro gunaakumibwanga mu kyoto lutata; teguzikiranga.
14 Era lino lye tteeka ery'ekiwee bwayo eky'obutta: abaana ba Alooni banaakiwecrangayo mu maaso ga Mukama mu maaso g'ekyoto.
15 Era anaakitoolangako olubatu, lwe, ku butta obulungi obw'ekiweebwayo eky'obutta, ne ku mafuta gaakyo, n'omugavu gwonna oguli ku kiweebwayo eky'obutta, n'akyokera ku kyoto okuba ewumbe eddungi, okuba ekijjukizo kyakyo eri Mukama.
16 N'ekyo ekinaafikkangawo Alooni n'abaana be banaakiryanga: kinaaliirwanga awatali kizimbulukusa mu kifo ekitukuw; mu luggya lw'eweema ey'okusisinkaniraagamu mwe banaakiriiranga.
17 Tekyokebwanga n'ekibulukusa. Nkibawadde okuba ugabo gwabwe ku byange ebieebwayo ebikolebwa n'omuliro; kye kitukuvu ennyo, ng'ekiweebwayo olw'ekibi, era ng'ekiweebwayo olw'omusango.
18 Buli musajja ku baana ba Alooni banaakiryangako, okuba ebbanja ennaku zonna mu mirembe gyammwe gyonna, ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro; buli anaabikomangako anaabanga mutukuvu.
19 Mukama n'agamba Musa nti
20 Kino kye kitone kya Alooni n'abaana be, kye banaawangayo eri Mukama ku lunaku lw'alifukirwako amafuta; ekitundu eky'ekkumi ekya efa y'obutta obulungi okuba ekiweebwayo eky'obutta ennaku zonna, ekitundu kyabwo enkya, n'ekituadu kyabwo akawungeezi.
21 Ku kikalango kwe bunaafumbirwanga n'amafuta; bwe bumalaaga okunnyikira, n'olyoka obuyingiza: onoowangayo ekiweebwayo eky'obutta mu bitole ebyokye okuba ewumbe eddungi eri Mukama.
22 Era kabona eyafukibwako amafuta anaabanga mu kifo kye ow'oku baana be ye anaakiwangayo: kinaayokebwanga kyonaa eri Mukama olw'etteeka eritalijjulukuka ennaku zonna.
23 Era buli ekiweebwayo eky'obutta ekya kabona kinaayokebwanga kyonna: tekiriibwanga.
24 Mukama n'agamba Musa nti
25 Gamba Alooni n'abaana be nti Lino lye tteeka ery'ekiweebwayo olw'ekibi: mu kifo ekiweebwayo ekyokebwa mwe kittirwa n'ekiweebwayo olw'ekibi mwe kinattirwanga mu maaso ga Mukama: kye kitukuvu ennyo.
26 Kabona akiwaayo olw'ekibi y'aaaakiryanga: kinaaliirwanga mu kifo ekitukuvu, mu luggya lw'eweema ey'okusisinkanirangamu.
27 Buli ekinaakomanga ku nnyama yaakyo kinaabanga kitukuvu: era bwe kunaamansirwanga ku musaayi gwakyo ku kyambalo kyonna, onooyolezanga ekyo ekimansiddwako mu kifo ekitukuvu.
28 Naye ekintu ekibumbe mwe kifumbirwa kinaayasibwanga: era oba nga kifumbiddwa mu kintu eky'ekikomo, kinaasiimuulwanga era kinaayozebwanga n'amazzi.
29 Buli musajja ku bakabona anaakiryangako: kye kitukuvu ennyo.
30 So tewabanga kiweebwayo lwa kibi, kye batoolako ku musaayi gwakyo ne baguyingiza mu weema ec'okusisinkanirangamu okutangirira mu watukuvu, kye balyako; kinaayokebwanga n'omuliro.