1 Mukama n'ayogera ne Musa, batabani ba Alooni bombi nga bamaze okufa, bwe baasembera mu maaso ga Mukama ne bafa;
2 Mukama n'agamba Musa nti Gamba Alooni muganda wo obutamalanga gajja mu watukuvu munda w'eggigi buli biro, mu maaso g'entebe ey'okusaasira eri ku sanduuko; aleme okufa: kubanga naalabikiranga mu kire ku ntebe ey'okusaasira.
3 Bino Alooni by'anajjanga nabyo mu watukuvu: ng'alina ente ennume envubuka okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga enaume okuba ekiweebwayo ekyokebwa.
4 Anaayambalanga ekizibawo ekyo ekya bafuta ekitukuvu, era anaabanga ne seruwale eyo eya bafuta ku mubiri gwe, era nga yeesibye olukoba olwo olwa bafuta, era ng'atikkidde enkufbira eyo eya bafuta; ebyo bye byambalo ebitukuvu; era anaanaabanga omubiri gwe mu mazzi, n'abyambala.
5 Awo anaatwalanga ku kibiina ky'abaana ba Isiraeri embuzi ennu 'me bbiri okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume emu okuba ekiweebwayo ekyokebwa.
6 Awo Alooni anaayanjulanga ente ennume ey'ekiweebwayo olw'ekibi, eyiye ku bubwe, ne yeetangirira ye n'ennyu mba ye.
7 Awo anaatwalanga embuzi zombi, n'aziteeka mu maaso ga Mukama ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu.
8 Awo Alooni anaazikubiranga obululu embuzi zombi; akalulu akamu ka Mukama, n'akalulu ak'okubiri ka Azazeri.
9 Awo Alooni anaayanjulanga embuzi egwiriddwako akalulu ka Mukama, n'agiwaayo okuba ekiweebwayo olw'ekibi.
10 Naye embuzi egwiriddwako akalulu ka Azazeri, eneetekebwanga mu maaso ga Mukama nga nnamu, okumutangirira, okugisindiikiriza eri Azazeri mu ddungu:
11 Awo Alooni anaayanjulanga ente ennume ey'ekiweebwayo o1w'ekibi, eyiye ku bubwe, ne yeetangirira ye n'ennyumba ye, n'atta ente ennume ey'ekiweebwayo olw'ekibi, eyiye ku bubwe:
12 awo anaddiranga ekyoterezo ekijjudde amanda ag'omuliro ng'agaggya ku kyoto mu maaso ga Mukama, n'embatu ze nga zijjudde obubaane obw'akaloosa obusekuddwa ennyo, n'abuleeta munda w'eggigi:
13 awo anaateekaaga obubaane ku muliro mu maaso ga Mukama, omukka ogw'obubaane 'gubikke ku atebe ey'okusaasira eri ku bujulirwa, aleme okufa:
14 awo anaatoolanga ku musaayi gw'ente ennume, n'agumansira n'engalo ye ku ntebe ey'okusaasira ebuvanjuba; era anaamansiranga ku musaayi mu maaso g'entebe ey'okusaasira n'eIngalo ye emirundi musanvu.
15 Awo anattanga embuzi ey'ekiweebwayo olw'ekibi, ey'abantu, n'aleeta omusaayi gwayo munda w'eggigi, n'akola omusaayi gwayo nga bw'akoze omusaayi gw'ente ennume, n'agumansira ku ntebe ey'okusaasira, ne mu maaso g'entebe ey'okusaasira:
16 era anaatangiriranga awatukuvu, olw'obutali bulongoofu bw'abaana ba Isiraeri, n'olw'ebyonoono byabwe, ebibi byabwe byonna: era bw'atyo bw'anaakolanga eweema ey'okusisinkanirangamu, ebeera nabo wakati mu butali bulongoofu bwabwe.
17 So temubanga muntu mu eveema ey'okusisinkanirangamu, bw'anaayingiranga okutangirira mu watukuvu, okutuusa lw'anaafulumanga, ng'amaze okwetangirira ye n'ennyumba ye n'eki biina kyonna ekya Isiraeri.
18 Awo anaafulumanga eri ekyoto ekiri mu maaso ga Mukama, n'akitangirira: n'atoola ku musaayi gw'ente ennume, ne ku musaayi gw'embuzi, n'agusiiga ku mayembe g'ekyoto enjuyi zonna.
19 N'akimansirako omusaayi n'engalo ye emirundi musanvu, n'akirongoosa, n'akitukuza okukiggyako obutali bulongoofu bw'abaana ba Isiraeri.
20 Awo bw'anaamaliranga ddala okutangirira awatukuw, n'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ekyoto, anaayanjulanga embuzi ennamu:
21 awo Alooni anaateekanga emikono gye gyombi ku mutwe gw'embuzi ennamu, n'ayatulira ku yo obutali buruukirivu bwonna obw'abaana ba Isiraeri, n'ebyonoono byabwe byonna, ebibi byabwe byonna; n'abiteeka ku mutwe gw'embuzi, n'agisindiikiriza mu ddungu mu mukono gw'omuntu eyeeteeseteese:
22 era embuzi eneesituliranga ku yo obutali butuukirivu bwabwe bwonna n'ebutwala mu nsi eteriimu bantu: kale embuzi anaagiteeranga mu ddungu.
23 Awo Aiooni anaayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu, n'ayambula ebyambalo ebya bafuta, by'abadde ayambadde ng'ayingidde mu watukuvu, n'abireka eyo:
24 awo anaanaabiranga omubiri gwe n'amazzi mu kifo ekitukuvu, n'ayambala ebyambalo bye, n'afuluma, n'awaayo ekiweebwayo ekyokebwa ekikye n'ekiweebwayo ekyokebwa eky'abantu, ne yeetangirira ye n'abantu.
25 N'amasanvu ag'ekiweebwayo olw'ekibi anaagookeranga ku kyoto.
26 N'oyo ateera embuzi eri Azazeri anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba omubiri gwe mu mazzi, oluvannyuma n'alyoka ayingira mu lusiisira.
27 N'ente ennume ey'ekiweebwayo olw'ekibi, n'embuzi ey'ekiweebwayo olw'ekibi, omusaayi gwayo oguyingizibwa okutangirira mu watukuw, zinaafulumizibwanga ebweru w'olusiisira; ne bookera mu muliro amaliba gaazo, n'ennyama yaazo, n'obusa bwazo.
28 N'oyo abyokya amaayozanga ebyambalo bye n'anaaba omubiri gwe mu mazzi, oluvannyuma n'alyoka ayingira mulusiisira.
29 Era lino linaabanga tteeka gye muli emirembe gyonna: mu mwezi ogw'omusanvu, ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi, munaabonerezanga emmeeme zammwe, so temukolanga mulimu gwonna, enzaalwa I newakubadde omugenyi atuula mu mmwe:
30 kubanga ku lunaku olwo kwe banaabatangiririranga, okubalongoosa; munaabanga balongoofu mu bibi byammwe byonna mu maaso ga Mukama.
31 Olwo ye ssabbiiti ey'okuwummula ey'okwewombeekerako gye muli, era munaabonerezanga emmeeme zammwe: lye tteeka ery'emirembe gyonna.
32 Era kabona, anaafukibwangako amafuta era anaayawulibwanga okuba kabona mu lufo kya kitaawe, anaatangiriranga era anaayambalanga ebyambalo ebya bafuta, ebyambalo ebitukuvu:
33 era anaatangiriranga awatukuvu awaayawulibwa, era anaatangiriranga eweema ey'okusisinkanirangamu n'ekyoto; era anaatangiriranga bakabona n'abantu bonna ab'ekibiina.
34 Era lino linaabanga tteeka gye muli eritajjulukuka emirembe gyonna, okutangiriranga abaana ba Isiraeri olw'ebibi byabwe byonna omulundi gumu buli mwaka. N'akola nga Mukama bwe yalagira Musa.