1 Mukama n'agamba Musa nti
2 Lagira abaana ba Isiraeri, bakuleetere amafuta amalungi aga zeyituuni amakube olw'ettabaaza, okwasanga ettabaaza olutata.
3 Ebweru w'eggigi ery'obujulirwa, mu weema ey'okusisinkanirangamu, Alooni w'anaagirongooserezanga okusooka akawungeezi okutuusa enkya mu maaso ga Mukama olutata: linaabanga tteeka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna.
4 Ettabaaza anaazirongooserezanga ku kikondo ekirongoofu mu maaso ga Mukama olutata.
5 Era onoddiranga obutta obulungi, n'oggyamu emigaati lzkumi n'ebiri emyokye: ebitundu bibiri eby'ekkumi ebya efa binaabanga mu mugaati gumu.
6 Era onoogitegekanga embu bbiri, buli lubu mukaaga, ku mmeeza ennongoofu mu maaso ga Mukama.
7 Era onooteekanga omugavu omulongoofu ku bull lubu, gubeerenga ekijjukizo eri emigaati, ekiweebwayo ekikolebwa a'omuliro eri Mukama.
8 Buli ssabbiiti anaagitegekanga mu maaso ga Mukama olutata; ye ndagaano eteriggwaawo ku lw'abaana ba Isiraeri.
9 Era ginaabanga gya Alooni ne batabani be; era banaagiriiranga mu kifo ekitukuvu: kubanga mitukuvu nnyo gyali ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro olw'etteeka eritaliggwaawo.
10 Awo mutabani w'omukazi Omuisiraeri, kitaawe Mumisiri, n'afuluma n'agenda mu baana ba Isiraeri: mutabani w'omukazi Omuisiraeri n'omusajja wa Isiraeri ne bawakanira mu lusiisira;
11 mutabani w'omukazi Omuisiraeri n'awoola Erinnya n'akolima; ne bamuleetera Musa. Ne nnyina erinnya lye Seromisi, muwala wa Dibuli, ow'omu kika kya Ddaani.
12 Ne bamusiba belyoke babuulirwe mu kamwa ka Mukama.
13 Mukama n'agamba Musa nti
14 Oyo akolimye mumufulumye ebweru w'olusiisira; n'abo bonna abamuwulidde bateeke emikono gyabwe ku mutwe gwe, ekibiina kyonna kimukube amayinja.
15 Era onoogamba abaana ba Isiraeri nti Buli anaakolimiranga Katonda we anaabangako ekibi kye.
16 N'oyo anawoolanga erinnya lya Mukama talemanga kuttibwa; ekibiina kyonna tekiremanga kumukuba mayinja: omugeayi naye era n'enzaalwa, bw'anawoolanga erinnya lya Mukama, anattibwanga.
17 N'oyo anaakubanga omuntu yenna n'amutta talemanga kuttibwa;
18 n'oyo anaakubanga ensolo n'agitta anaagiriwanga: obulamu olw'obulamu.
19 Era omuntu bw'anaalemazanga muliraanwa we; nga bw'akoze, bw'anaakolebwanga bw'atyo;
20 ekinuubule olw'ekinuubule, eriiso olw'eriiso, erinnyo olw'erinnyo: nga bw'alemazizza omuntu, bw'anaasasulibwanga bw'atyo.
21 N'oyo anattanga ensolo anaagiriwanga: n'oyo anattanga omuntu anattibwanga.
22 Munaabanga n'etteeka limu eri omugenyi era n'enzaalwa: kubanga nze Mukama Katonda wammwe.
23 Awo Musa n'agamba abaana ba Isiraeri, oyo eyakolima ne bamufulumya ebweru w'olusiisira; ne bamukuba amayinja. Abaana ba Isiraeri ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa.