1 Mukama n'agambira Musa ku lusozi Sinaayi nti
2 Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Bwe muliyingira mu nsi gye mbawa, ensi n'eryokanga yeekuuma ssabbiiti eri Mukama.
3 Ennimiro yo onoogisigiranga emyaka mukaaga, n'olusuku lwo olw'emizabbibu onoolusaliriranga emyaka mukaaga, n'okungula ebibala byalwo;
4 naye mu mwaka ogw'omusanvu wanaabangawo ssabbiiti ey'okuwummula ey'okwewombeekerako eri ensi, ssabbiiti eri Mukama: tosiganga nnimiro yo, so tosaliranga lusu ku lwo.
5 Ekyo ekimera kyokka ku bikungulwa byo tokikungulanga, ne zabbibu ez'oku muzabbibu gwo ogutali musalire tozinoganga: gunaabanga mwaka gwa kuwummula okw'okwewombeeka eri ensi.
6 Era ssabbiiti ey'ensi eneebanga kya kulya gye muli; eri ggwe n'eri omuddu wo n'omuzaana wo, n'omusenze wo akolera empeera n'omugenyi wo atuula naawe;
7 n'eri ebisibo byo n'ensolo eziri mu nsi yo, ekyengera kyayo kyonna kinaabanga kya kulya.
8 Era oneebaliranga ssabbiiti musanvu ez'emyaka, emyaka musanvui emirundi musanvu; era wanaabangawo gy'oli ennaku eza ssabbiiti musanvu ez'emyaka, gye myaka ana mu mwenda.
9 Awo n'olyokanga otambuza ekkondeere ery'eddoboozi eddene ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogw'omusanvu ku lunaku olw'okutangiririrako kwe munaatambulizanga ekkondeere okubunya ensi yammwe yonna.
10 Era munaatukuzanga omwaka ogw'ataano, ne mulangira eddembe mu nsi yonna eri abo banna abagituulamu: gunaabanga jjubiri gye muli; era munaakomangawo buli muntu mu butaka bwe, era munaakomangawo buli muntu mu nda ze.
11 Omwaka ogwo ogw'ataano gunaabanga jjuhiri gye muli: temusigaaga, so temukungulanga ekyo ekimera kyokka mu gwo so temunoganga mu gwo ku mizabbibu egitali misalire.
12 Kubanga jjubiri; gunaabanga mutukuvu gye muli: munaalyanga ekyengera kyagwo nga mukiggya mu nnimiro
13 Mu mwaka ogwo ogwa jjubiri mwe munaakomerangawo buIi muntu mu butaka bwe.
14 Era bw'onooguzanga muliraanwa wo ekintu kyonna, oba by'onoogulanga mu mukono gwa muliraanwa wo, temulyazaamaanyagananga:
15 ng'omuwendo gw'emyaka bwe guli egiddiridde jjubiri, bw'onoogulaananga ne muliraanwa wo, era ng'omuwendo gw'emyaka egy'ebikungulwa bwe guli bw'anaakuguzanga.
16 Ng'emyaka bwe ginenkananga obungi bw'onooyongera bw'otyo ku muwendo gwakyo, era ng'emyaka bwe ginenkananga obutono bw'onoosalanga bw'otyo ku muwendo gwakyo; kubanga omuwendo gw'ebikungulwa gw'akuguza.
17 So temulyazaamaanyagananga; naye otyanga Katonda wo: kubanga nze Mukama Katonda wammwe.
18 Kye munaavanga mukola ama teeka gange, ne mwekuumanga emisango gyange ne mugikola; era munaatuulanga mu nsi mirembe.
19 Era ensi eneebalanga ebibala byayo, nammwe munaalyanga okukkuta, ne mutuula omwo mirembe.
20 Era bwe munaayogeranga nti Tulirya ki mu mwaka ogw'omusanvu? laba, tetulisiga, so tetulikungula kyeagera kyaffe:
21 kale naalagiranga omukisa gwange okubeera ku mmwe mu mwaka ogw'omukaaga, era gunaabalanga ebibala eby'emyaka gyonsatule.
22 Era munaasiganga mu mwaka gw'omunaana, ne mulya ku bibala ebyaterekebwa edda; okutuusa ku mwaka ogw'omwenda, ebibala byayo lwe birituuka, munaalyanga ku byaterekebwa edda.
23 So ensi tetundibwanga okugiviiramu ddala ennaku zonna; kubanga ensi yange: kubanga muli bagenyi era abayise gye ndi.
24 Ne mu nsi yonna ey'obutaka bwammwe munakkirizanga ensi okununulibwa.
25 Muganda wo bw'aba ng'ayavuwadde, n'atunda ku butaka bwe, kale muganda we asinga okumuba okumpi mu luganda anajjanga, n'anunula ekyo muganda we ky'atunze.
26 Era omuntu bw'atabangako anaakinunula, era ng'agaggawadde n'alaba ebinaamala okukinunula;
27 awo abalenga emyaka gye kyatundi rwamu n'addiza ebisukkiriddemu amuntu gwe yakiguza; naye anaddanga mu butaka bwe.
28 Naye bw'aba nga tayinza kukyeddiza, kale ekyo kye yatunda kinaabeeranga mu mukono gw'oyo eyakigula bkutuusa ku mwaka gwa jjubiri: awo kinaagenderanga mu jjubiri, naye anaddanga mu butaka bwe.
29 Era omuntu bw'atundanga ennyumba ey'okutuulamu mu kibuga ekiriko bbugwe, kale anaayinzanga okuginunula omwaka omulamba nga tegunnaggwaako kasookedde etundibwa; anaamalanga omwaka omulamba ng'alina obuyinza obw'okununula.
30 Era bw'eteenunulirwenga mu bbanga ery'omwaka omulamba, kale ennyumba eri mu kibuga ekiriko bbugwe eneefuukiranga ddala y'oyo eyagigula okuba eyiye ennaku zonna, mu mirembe gye gyonna: tegenderanga mu jjubiri.
31 Naye ennyumba ez'omu byalo ebitaliiko bbugwe okubyetooloola zinaabalirwanga wamu n'ennimiro ez'omu byalo: zinaayinzikanga okununulibwa, era zinaagenderanga mu jjubiri.
32 Naye ebibuga eby'Abaleevi, ennyumba ez'omu bibuga eby'obutaka bwabwe, Abaleevi banaayinzanga okuzinunula mu biro byonna.
33 Era omu ku Baleevi bw'anaanunulanga, kale ennyumba eyatundibwa, n'ekibuga eky'obutaka bwe, binaagenderanga mu jjubiri: kubanga ennyumba ez'omu bibuga eby'Abaleevi bwe butaka bwabwe mu baana ba Isiraeri.
34 Naye ennimiro ey'omu byalo ebiriraanye ebibuga byabwe tetundibwanga; kubanga bwe butaka bwabwe olw'ennaku zonna.
35 Era muganda wo bw'aba ng'ayavuwadde, omukono gwe ne guggwaamu amaanyi gy'oli; kale onoomuyambanga: anaatuulanga naawe ng'omugenyi era ng'omuwaŋŋanguse.
36 Tomutwalangako magoba newakubadde ebisukkirira; naye otyanga Katonda wo: muganda wo alyoke atuulenga naawe.
37 Tomuwolanga bintu byo lwa magoba, so tomuwanga byakulya byo olw'ebisukkirira.
38 Nze Mukama Katonda wammwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, okubawa ensi ya Kanani, okuba Katonda wammwe.
39 Era muganda wo bw'aba ng'ayavuwalidde gy'oli, ne yeetunda gy'oli; tomufuulanga muddu okukuweerezanga:
40 anaabeeranga name ng'omusenze akolera empeera era ng'omuwaŋŋanguse; anaakuweerezanga okutuusa ku mwaka gwa jjubiri:
41 n'alyokanga akuvaako, ye n'abaana be awamu naye, n'adda mu nda ze ye, ne mu butaka bwa bakitaawe mw'anaddiranga.
42 Kubanga baddu barige, be nnaggya mu nsi y'e Misiri: tebatundibwanga okuba abaddu.
43 Tomufuganga lwa maanyi; naye otyanga Katonda wo.
44 N'abaddu bo, n'abazaana bo, b'onoobanga nabo; ku mawanga agabeetoolodde, ku abo kwe munaagulanga abaddu n'abazaana.
45 Era ku baana b'abagenyi abatuula mu mmwe, ku abo kwe munaagulanga ne ku ŋŋanda zaabwe eziri nammwe, be baazaalira mu asi yammwe: nabo banaabanga nwma zammwe.
46 Era munaabafuulanga obusika eri abaana bammwe abanaabaddiriranga okuba nabo okuba envuma; ku abo kwe munaatwalanga abaddu bammwe ennaku zonna: naye baganda bammwe abaana ba Isiraeri temubafuganga mwekka na mwekka lwa maanyi.
47 Era omugenyi oba muwaŋŋanguse ali naawe bw'aba ng'agaggawadde, ne muganda wo ng'ayavuwalidde gy'ali, ne yeetunda eri omugenyi oba muwagganguse ali naawe, oba eri olukolo lw'enda z'omuwaŋŋanguse:
48 bw'anaamalanga okutundibwa anaayinzanga okununulibwa; omu ku baganda be anaayinzanga okumununula:
49 oba kojja we, oba mutabani wa kojja we, anaayinzanga okumununula; oba muntu yenna ku nda ze amuli okumpi mu luganda anaayinzanga okumununula oba bw'aba ng'agaggawadde, anaayinzanga okwenunula yekka.
50 Era anaabaliranga oyo eyamugula okuva ku mwaka mwe yeetundira gy'ali okutuusa ku mwaka gwa jjubiri: n'omuwendo ogw'okutundibwa kwe gunaabanga ng'omuwendo gw'emyaka bwe gunaabanga; ng'ebiro eby'omusenze akolera empeera bwe biri bw'atyo bw'anaabanga naye.
51 Oba ng'ekyasigaddeyo emyaka mingi, ng'egyo bwe giri bw'anazzanga bw'atyo ku muwendo ogw'okununulibwa kwe ng'aguggya ku bintu ebyamugula.
52 Era oba ng'ekyasigaddeyo emyaka mitono okutuusa ku mwaka gwa jjubiri, kale anaamubaliranga; ng'emyaka gye bwe giri bw'anazzanga bw'atyo omuwendo ogw'okununulibwa kwe.
53 Anaabanga naye ng'omusenze akolera empeera buli mwaka: tamufuganga lwa maanyi mu maaso go.
54 Era bw'ataanunulibwenga bw'atyo, kale anaagenderanga mu mwaka gwa jjubiri, ye n'abaana be awamu naye.
55 Kubanga abaana ba Isiraeri baddu gye ndi; be baddu bange be nnaggya mu nsi y'e Misiri: nze Mukama Katonda wammwe.