1 Mu biro ebyo abantu b'ekibiina obukumi n'obukumi bwe baali bakuŋŋaanye n'okulinnyagana nga balinnyagana, n'asookera ku bayigirizwa be okubagamba nti Mwekuumenga ekizimbulukusa eky'Abafalisaayo, bwe bunnanfuusi.
2 Naye tewali ekyabikkibwa ekitalibikkulwa; newakubadde ekyakisibwa ekitalitegeerwa.
3 Kale byonna bye mwali mwogeredde mu kizikiza biriwulirirwa mu musana; n'ekyo kye mwali mwogeredde mu kutu mu bisenge kiribuulirirwa ku kasolya k'ennyumba.
4 Era mbagamba mmwe, mikwano gyange, nti Temutyanga abo abatta omubiri, oluyannyuma abatalina kigambo kya kukola ekisingawo.
5 Naye nnaabalabula gwe munaatyanga: Mutyenga oyo, bw'amala okutta alina obuyinza okusuula mu Ggeyeena, weewaawo, mbagamba nti Oyo gwe muba mutyanga.
6 Enkazaluggya ettaano tebazitundamu mapeesa abiri? naye tewali n'emu ku zo eyeerabirwa mu maaso ga Katonda.
7 Naye n'enviiri ez'oku mitwe gyammwe zibaliddwa zonna. Temutyanga: mmwe musinga enkazaluggya ennyingi.
8 Era mbagamba nti Buli alinjatulira mu maaso g'abantu, oyo Omwana w'omuntu naye alimwatulira mu maaso ga bamalayika ba Katonda;
9 naye anneegaanira mu maaso g'abantu alyegaanirwa mu maaso ga bamalayika ba Katonda.
10 Na buli muntu ayogera ekigambo ku Mwana w'omuntu kirimusonyiyibwa: naye oyo awoola Omwoyo Omutukuvu talisonyiyibwa.
11 Era bwe babaleetanga mu makuŋŋaaniro n'eri abaamasaza, n'abalina obuyinza, temweraliikiriranga bwe munaddamu oba kye munaddamu oba kye munaayogera;
12 kubanga Omwoyo Omutukuvu anaabayigirizanga mu kiseera ekyo ebibagwanidde okwogera.
13 Awo omuntu ow'omu kibiina n'amugamba nti Omuyigiriza, gamba muganda wange agabane nange eby'obusika bwaffe.
14 Naye ye n'amugamba nti Omuntu, ani eyanzisaawo okuba omulamuzi oba omugabi wammwe?
15 N'abagamba nti Mutunule, mwekuumenga okwegomba kwonna; kubanga obulamu bw'omuntu si by'ebintu ebingi by'aba nabyo.
16 N'abagerera olugero ng'agamba nti Waaliwo omuntu omugagga, ennimiro ye n'eyeza:
17 n'alowooza munda mu ye ng'agamba nti Nnaakola ntya, kubanga sirina we nnaakuŋŋaanyiza bibala byange?
18 N'agamba nti Nnaakola bwe nti: nnaamenya amawanika gange ne nzimba amalala agasinga obunene; ne nkuijijaanyiza omwo emmere yange enkalu yonna n'ebintu byange.
19 Ndigamba emmeeme yange nti Emmeeme, olina ebintu bingi ebiterekeddwa eby'emyaka emingi; wummula, olye, onywe, osanyuke.
20 Naye Katonda n'amugamba ati Musiru ggwe, mu kiro kino emmeeme yo banaagikuggyako; kale ebintu by'otegese binaaba by'ani?
21 Bw'atyo bw'ali eyeeterekera obugagga, so nga si mugagga eri Katonda.
22 N'agamba abayigirizwa be nti Kyenva mbagamba nti Temweraliikiriranga bulamu bwammwe, kye munaalya; newakubadde emibiri gyammwe, kye munaayambala.
23 Kubanga obulamu businga emmere, n'omubiri gusinga ebyokwambala.
24 Mulowooze bannamuŋŋoona, bwe batasiga so tebakungula; abatalina tterekero, newakubadde eggwanika; era Katonda abaliisa; mmwe temusinga nnyonyi mirundi mingi?
25 Ani ku mmwe bwe yeeraliikirira ayinza okwongera ku bukulu bwe omukono ogumu?
26 Kale bwe mutayinza ekisinga obutono, kiki ekibeeraliikiriza ebirala?
27 Mulabe amalanga bwe gamera: tegakola mulimu so tegalanga lugoye; naye mbagamba nti Ne Sulemaani mu kitiibwa kye kyonna teyayambalanga ng'erimu ku go.
28 Naye Katonda bw'ayambaza bw'atyo omuddo ogw'oku ttale, ogubaawo leero, enkya nga bagusuula ku kikoomi; talisinga nnyo okwambaza mmwe, abalina okukkiriza okutono?
29 Nammwe temunoonyanga kye munaalya oba kye munaanywa, so temubanga na myoyo egibuusabuusa.
30 Kubanga ebintu ebyo byonna binoonyezebwa amawanga ag'ensi: naye Kitammwe amanyi nga mwetaaga ebyo.
31 Naye munoonye obwakabaka bwe, n'ebintu ebyo mulibyongerwako.
32 Totyanga, ggwe ekisibo ekitono; kubanga Kitammwe asiima okubawa mmwe obwakabaka.
33 Mutundenga bye muli nabyo, muwengayo eby'okusaasira; mwetungirenga ensawo ezitakaddiwa, obugagga obutaggwaawo mu ggulu; omubbi gy'atasembera, n'ennyenje gye zitayonoonera.
34 Kubanga obugagga bwammwe gye buli, n'emitima gyammwe gye giribeera.
35 Mwesibenga ebimyu mu biwato byammwe, n'ettabaaza zammwe nga zaaka;
36 nammwe bennyini mubeerenga ng'abantu abalindirira mukama waabwe, w'aliddira ng'ava ku mbaga ey'obugole; bw'alijja n'akoona ku luggi, bamuggulirewo amangu ago.
37 Balina omukisa abaddu abo, mukama waabwe bw'alijja b'alisanga nga batunula; mazima mbagamba ng'alyesiba n'abatuuza ku mmere, n'ajja n'abaweereza.
38 Awo bw'alijja mu kisisimuka eky'okubiri, oba mu ky'okusatu, n'abasanga bw'atyo, balina omukisa abaddu abo.
39 Naye mutegeere kino, nga nnannyini nnyumba singa amanya ekiseera omubbi w'anajjira, yanditunudde, teyandirese nnyumba ye kusimibwa.
40 Nammwe mweteeketeekenga: kubanga Omwana w'omuntu ajjira mu kiseera mwe mutalowooleza.
41 Peetero n'agamba nti Mukama waffe, olugero luno olugeredde ffe nantiki bonna?
42 Mukama waffe n'agamba nti Kale ani oyo omuwanika omwesigwa ow'amagezi, mukama we gw'alisigira ab'omu nnyumba ye, okubagabiranga omugabo gwabwe ogw'emmere mu kiseera kyayo?
43 Alina omukisa omuddu oyo mukama we bw'alijja gw'alisanga ng'akola bw'atyo.
44 Mazima mbagamba ng'alimusigira byonna by'ali nabyo.
45 Naye omuddu oyo bw'alyogera mu mutima gwe nti Mukama wange aludde okujja; n'atanula okukuba abaddu n'abazaana, n'okulya n'okunywa n'okutamiira;
46 kale mukama w'omuddu oyo alijja ku lunaku lw'atamulowoolezaako, ne mu kiseera ky'atamanyi, alimutemaatema alimuwa omugabo gwe wamu n'abatakkiriza.
47 N'omuddu oyo eyamanya mukama we kye yayagala, n'atategeka n'atatuusa kye yayagala, alikubwa mingi;
48 naye ataamanya n'akola ebisaanidde okumukubya, alikubwa mitono; na buli eyaweebwa ebingi, alinoonyezebwako bingi; n'oyo gwe baateresa ebingi, gwe balisinga okubuuza ebingi.
49 Najja kusuula muliro ku nsi; nagwo oba nga kaakano gwaka, njagala ki?
50 Naye nnina okubatizibwa kwe ndibatizibwa; nange nga mbonaabona okutuusa lwe kulituukirizibwa!
51 Mulowooza nti najja kuleeta mirembe ku nsi? Mbagamba nti Nedda; wabula okwawukana obwawukanyi;
52 kubanga okutanula kaakano walibaawo bataano mu nnyumba emu nga baawvkanye, abasatu n'ababiri, era ababiri n'abasatu.
53 Balyawukana, kitaawe n'omwana we, era omwana ne kitaawe; nnyina ne muwala we, era omuwala ne nnyina; era nnyazaala ne muka mwana we, era muka mwana we ne nnyazaala we.
54 N'agamba ebibiina nabyo nti Bwe mulaba ekire nga kyekuluu mulula ebugwanjuba, amangu ago mugamba nti Enkuba eneetonnya; era bwe kiba bwe kityo.
55 Bwe mulaba empewo ng'efuluma bukiika obwa ddyo mugamba nti Linaaba bbugumu; era bwe kiba.
56 Bannanfuusi, mumanyi okukebera ekifaananyi ky'ensi n'eggulu; naye kiki ekibalobera okumanya okukebera obudde buno?
57 Era nammwe mwekka ekibalobera kiki okusala eby'ensonga?
58 Kubanga bw'oba ogenda n'akuloopa eri omulamuzi, onyiikiriranga mu kkubo okutabagana n'akuvunaana; aleme okukuwalulira ewa katikkiro, ne katikkiro n'akuwa omumbowa, n'omumbowa n'akusuula mu kkomera.
59 Nkugamba nti Toliva omwo n'akatono, okutuusa lw'olisasulirira ddala buli ssente.