Home |  | Audio |  | Index |  | Verses

Lukka Luke

Chapter : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24
1 Nayingiza mu Yeriko naba ng'agiyitamu.
2 Kale, laba, waaliwo omuntu eyali ayitibwa erinnya lye Zaakayo, naye yali mukulu w'ebawooza, era nga mugagga.
3 N'asala amagezi oktilaba Yesu bw'ali; n'atayinza olw'ekibiina, kubanga ekigera kye yali mumpi.
4 N'adduka n'akulembera, n'alinnya ku muti omusukomooli amulabe: kubanga yali agenda kuyita mu kkubo eryo.
5 Awo Yesu bwe yatuuka mu kifo w'ali, n'atunula waggulu, n'amugamba nti Zaakayo, kka mangu; kubaaga leero kinnwaaidde okutuula mu nnyumba yo.
6 N'akka mangu, n'amwaniriza ng'asanyuka.
7 Bwe baalaba, ne bamwemulugunyiza bonna, nga bagamba nti Ayiagidde okusula omw'omuntu alina ebibi.
8 Zaakayo n'ayimirira n'agamba Mukama waffe nti Laba, Mukama wange, ekitundu ky'ebintu byange mbawa abaavu; oba nga nnalyazaamsanya omuatu yenna ekintu kye, mmuliyira ena.
9 Yesu n'amugamba nti Leero okulokolebwa kuzze mu nnyumba muno, kubaaga naye mwana wa Ibulayimu.
10 Kubanga Omwana w'omuntu yajja okunoonya n'okulokola ekyo ekyabula.
11 Awo bwe baawulira ebyo ne yeeyongera n'agera olugero, kubanga yali kumpi ne Yerusaalemi, era kubanga baali .balowooza ng'obwakabaka bwa Katonda bugenda kulabika mangu ago.
12 Kyeyava agamba nti Waaliwo omuntu omukulu eyagenda mu nsi y'ewala, okulya obwakabaka alyoke akomewo.
13 N'ayita abaddu be kkumi, n'abawa ensimbi ebikumi bibiri, n'abagamba nti Musuubuzenga okutuusa we ndijjira.
14 Naye basajja be ne bamukyawa, ne batuma ababaka eanyuma we, nga bagamba nti Tetwagala oyo kutufuga.
15 Awo olwatuuka bwe yakomawo ng'amaze okulya obwakabaka, nalagira okuyita abaddu abo be yawa effeeza, alyoke amanye amagoba ge baasuubula.
16 Ow'olubereberye n'ajja nagamba ati Mukama wange, ensimbi zo amakumi abiri gaagobamu ensimbi bibiri.
17 N'amugamba nti Weebale, omuddu omulungi: kubanga wali mwesigwa ku kintu ekitono ennyo, kale ba n'obuyinza ku bibuga kkumi.
18 N'ajja ow'okubiri ag'agamba nti Mukama wange, ensimbi zo abiri zaagobamu ensimbi kikumi.
19 N'oyo n'amugamba nti Naawe ba ku bibuga bitaaao.
20 N'omulala n'ajja nagamba nti Mukama waage, laba, ensimbi zo zino abiri nnazitereka nga zisibiddwa mu kiwero:
21 ku banga nnakutya kubanga oli munti mukakanyaw: olonda ky'otaateeka wo, okungula ky'otaasiga.
22 N'amugamba nti Akamwa ko kanaakunsaliza omusango, ggwe omuntu omubi. Wali omanyi nga nze ndi muntu mukakanyavu, nga nnonda kye ssaateekawo, nga nkungula kye ssaasiga;
23 kale kiki ekyakulobera okuwa ensimbi zange abasuubuzi nange bwe nnandizze nnandizitutte n'amagoba gaazo?
24 N'agamba abaali bayimiridde awo nti Mumuggyeeko ensimbi ze, muziwe oyo alina ensimbi ebikumi ebibiri
25 Ne bamugamba nti Mukama waffe, alina ensimbi ebikumi bibiri
26 Mbagamba nti Buli alina aliweebwa; naye oyo atalina, era ekyo ky'ali nakyo , kirimuggibwako.
27 Naye abo abalabe bange abata yagala nze kubafuga, mubaleett wano mubattire mu maaso gange.
28 Awo bwe yamala okwogera ebyo n'akulembera n'alinnya e Yerusaalemi.
29 Awo olwatuuka bwe yali ng'anaatera okutuuka e Besufaage n'e Bessaniya, ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni, n'atuma ku bayigirizwa be babiri,
30 ng'agamba nti Mugende mu mbuga eri mu maaso gammwe; bwe munaayingira omwo munaalaba omwana gw'endogoyi nga gusibiddwa oguteebagalwangako muntu: mugusumulule muguleete
31 Era omuntu bw'ababuuza nt Mugusumululira ki? mugambe bwe mutyo nti Mukama waffe ye agwetaaga.
32 N'abo abaatumibwa ne bagenda, ne balaba nga bw'abagambye.
33 Awo bwe baali nga basumulula omwana gw'endogoyi bannannyini gwo ne babagamba nti Musumululira ki omwana gw'endogoyi ogwo?
34 Ne bagamba nti Mukama waffe ye agwetaaga,
35 Ne baguleeta eri Yesu: ne baaliira engoye zaabwe ku mwana gw'endogoyi, ne beebagazaako Yesu,
36 Awo yali ng'agenda ne baaliira engoye zaabwe mu luguudo,
37 Awo bwe yali ng'anaatera okutuuka mu kikko ky'olusozi olwa Zeyituuni, ekibiina kyonna eky'abayigirizwa ne batanula okusanyuka n'okutendereza Katonda n'eddoboozi ddene olw'eby'amagero byonna bye baalaba;
38 nga bagamba nti Aweereddwa omukisa Kabaka ajjira mu linnya lya Mukama: emirembe mu ggulu, n'ekitiibwa waggulu ennyo.
39 Abafalisaayo abamu ab'omu kibiina ne bamugamba nti Omuyigiriza, koma ku bayigirizwa bo.
40 N'addamu n'abagamba nti Mbagamba nti Abo bwe banaasirika, amayinja ganaayogerera waggulu.
41 Awo bwe yasembera okumpi, n'alaba ekibuga n'akikaabira,
42 ng'agamba nti Singa omanyi ku lunaku luno, ggwe, ebigambo eby'emirembe! naye kaakano bikwekeddwa amaaso go.
43 Kubanga ennaku zirikujjira, abalabe bo lwe balikuzimbako ekigo, balikwetooloola, balikuzingiza enjuyi zonna,
44 balikusuula wansi, n'abaana bo abali mu nda yo; so tebalikulekamu jjinja eriri kungulu ku jjinja; kubanga tewamanya biro bya kukyalirwa kwo.
45 N'ayingira mu yeekaalu, n'asooka okugobamu abaali batunda
46 ng'abagamba nti Kyawandiikibwa nti Era ennyumba yange eneebanga nnyumba ya kusabirangamu: naye mmwe mugifudde mpuku ya banyazi.
47 Awo n'ayigirizanga mu yeekaalu buli lunaku. Naye bakabona abakulu n'abawandiisi n'abakulu b'abantu ne basala amagezi okumuzikiriza:
48 ne batalaba kye banaakola; kubanga abantu bonna baamussaako nnyo omwoyo nga bamuwulira.

Top |  | Next Page  |  | Index |  | Home
Full online version here [with search engine, multilingual display and audio Bible]